EKITUNDU EKY’OKUSOMA 25
OLUYIMBA 96 Ekitabo kya Katonda—Kya Bugagga
Bye Tuyigira ku Bunnabbi Yakobo Bwe Yayogera ng’Anaatera Okufa—Ekitundu 2
“Buli omu yamuwa omukisa ogumugwanira.”—LUB. 49:28.
EKIGENDERERWA
Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo bye tuyigira ku bunnabbi Yakobo bwe yayogera ng’anaatera okufa obukwata ku batabani be abalala omunaana.
1. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
BATABANI ba Yakobo bakuŋŋaanidde w’ali nga bawuliriza n’obwegendereza ebyo by’ayogera ebikwata ku buli omu ku bo. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, ebyo Yakobo bye yagamba Lewubeeni, Simiyoni, Leevi, ne Yuda biyinza okuba nga byewuunyisa nnyo batabani be. N’olwekyo bateekwa okuba nga baagala okumanya ebyo by’agenda okugamba batabani be abalala omunaana. Ka tulabe ebyo bye tusobola okuyigira ku ebyo bye yagamba Zebbulooni, Isakaali, Ddaani, Gaadi, Aseri, Nafutaali, Yusufu, ne Benyamini.a
ZEBBULOONI
2. Kiki Yakobo kye yagamba Zebbulooni, era kyatuukirira kitya? (Olubereberye 49:13) (Laba n’akasanduuko.)
2 Soma Olubereberye 49:13. Yakobo yakyoleka nti bazzukulu ba Zebbulooni bandibadde babeera kumpi n’ennyanja mu bukiikaddyo bw’Ensi Ensuubize. Nga wayise emyaka egisukka mu 200, bazzukulu ba Zebbulooni baafuna ekitundu eky’obusika bwabwe. Kyali wakati w’ennyanja y’e Ggaliraaya n’ennyanja Meditereniyani. Mu bunnabbi Musa bwe yawa yagamba nti: “Sanyukira eŋŋendo zo ggwe Zebbulooni.” (Ma. 33:18) Ekyo kiyinza okuba nga kyali kitegeeza nti abantu b’omu kika kya Zebbulooni kyandibadde kibanguyira okugula n’okutunda ebintu okuva ku bantu abalala, olw’okuba ekitundu kyabwe kyali kisangibwa wakati w’ennyanja bbiri. Ka kibe ki Musa kye yali ategeeza, bazzukulu ba Zebbulooni baalina ensonga gye baali basinziirako okuba abasanyufu.
3. Kiki ekisobola okutuyamba okuba abamativu?
3 Biki bye tuyiga? Ka wabe wa we tubeera oba ka tube nga tuli mu mbeera ki, tusobola okuba abasanyufu. Okusobola okusigala nga tuli basanyufu, tulina okuba abamativu n’ebyo bye tulina. (Zab. 16:6; 24:5) Ebiseera ebimu kyangu okussa ebirowoozo ku bintu bye tutalina mu kifo ky’okubissa ku birungi bye tulina, era ekyo kisobola okutumalako essanyu. N’olwekyo, ebirowoozo byo bisse ku bintu ebirungi by’olina kikuyambe okuba omusanyufu.—Bag. 6:4.
ISAKAALI
4. Kiki Yakobo kye yagamba Isakaali, era kyatuukirira kitya? (Olubereberye 49:14, 15) (Laba n’akasanduuko.)
4 Soma Olubereberye 49:14, 15. Yakobo yasiima Isakaali olw’okuba omukozi omunyiikivu era yamugeraageranya ku ndogoyi, ensolo eyeetikka emigugu emizito. Yakobo era yagamba nti ekitundu kya Isakaali kyandibadde kirungi. Ebigambo bya Yakobo ebyo byatuukirira kubanga bazzukulu ba Isakaali baafuna ekitundu ekigimu ekyali okumpi n’Omugga Yoludaani. (Yos. 19:22) Tewali kubuusabuusa nti bazzukulu ba Isakaali baakola n’obunyiikivu okulabirira ekitundu ky’obusika bwabwe, ate era baafubanga n’okuyamba abalala. (1 Bassek. 4:7, 17) Ng’ekyokulabirako, ab’ekika kya Isakaali baabanga beetegefu okwenyigira mu ntalo Abayisirayiri ze baalwananga, nga bwe kyali mu kiseera ky’Omulamuzi Balaka ne nnabbi Debola.—Balam. 5:15
5. Lwaki twandifubye okubeera abakozi abanyiikivu?
5 Biki bye tuyiga? Yakuwa asiima nnyo bwe tuba abakozi abanyiikivu, nga bwe yasiima ab’ekika kya Isakaali. (Mub. 2:24) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku b’oluganda abakola ennyo okulabirira ekibiina. (1 Tim. 3:1) Ab’oluganda abo tebalwana ntalo za ddala, naye balina okufuba ennyo okukuuma abantu aba Katonda obutatuukibwako kabi mu by’omwoyo. (1 Kol. 5:1, 5; Yud. 17-23) Ate era bafuba nnyo okuteekateeka emboozi n’okuziwa, okusobola okuzzaamu ab’oluganda bonna mu kibiina amaanyi.—1 Tim. 5:17.
DDAANI
6. Ab’ekika kya Ddaani baawebwa buvunaanyizibwa ki? (Olubereberye 49:17, 18) (Laba n’akasanduuko.)
6 Soma Olubereberye 49:17, 18. Yakobo yagamba nti Ddaani alinga omusota ogubojja ensolo egusinga obunene gamba ng’endogoyi ezirwana mu lutalo. Ab’ekika kya Ddaani baali bavumu era baali beetegefu okulwanyisa abalabe b’eggwanga lya Isirayiri. Abayisirayiri bwe baali bagenda mu Nsi Ensuubize, ab’ekika kya Ddaani be baakuumanga “ensiisira zonna ku luuyi olw’emabega.” (Kubal. 10:25) Olw’okuba ab’ekika kya Ddaani be baasembangayo emabega, Abayisirayiri ab’ebika ebirala baali tebaasobola kulaba ebyo bye baakolanga. Wadde kyali kityo obuvunaanyizibwa bwabwe bwali bukulu nnyo.
7. Twanditutte tutya emirimu gyonna gye tukola nga tuweereza Yakuwa?
7 Biki bye tuyiga? Wali okozeeko omulimu naye ne watabaawo amanya nti ggwe wagukoze? Oboolyawo weenyigira mu kulongoosa oba okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka, wakola nga nnakyewa ku lukuŋŋaana olunene, oba wakola omulimu omulala. Bwe kiba kityo, ekyo kye wakola kirungi nnyo! Bulijjo kijjukirenga nti Yakuwa alaba era asiima ebyo by’okola. Asanyuka nnyo bw’akiraba nti omuweereza si lwa kuba nti oyagala abalala okukutendereza, naye olw’okuba oyagala okumulaga nti omwagala nnyo.—Mat. 6:1-4.
GAADI
8. Lwaki kyali kyangu abalabe ba Isirayiri okulumba ab’ekika kya Gaadi? (Olubereberye 49:19) (Laba n’akasanduuko.)
8 Soma Olubereberye 49:19. Yakobo yagamba nti ekibinja ky’abazigu kyandirumbye ab’ekika kya Gaadi. Nga wayiseewo emyaka egisukka mu 200, ab’ekika kya Gaadi baafuna ekitundu eky’obusika bwabwe ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani, era ekitundu ekyo kyali ku nsalo y’abalabe ba Isirayiri. Ekitundu ekyo kyabanga kisobola okulumbibwa abalabe ba Isirayiri. Naye ab’ekika kya Gaadi baali bamalirivu okubeera mu kitundu ekyo kubanga kyalimu omuddo omulungi gwe baali basobola okuliisa ebisolo byabwe. (Kubal. 32:1, 5) Awatali kubuusabuusa ab’ekika kya Gaadi baali bavumu nnyo. Ng’oggyeeko ekyo, baali beesiga Yakuwa nti yandibayambye okulwanyisa abalabe baabwe basobole okukuuma ekitundu eky’obusika bwabwe. Baasindika abalwanyi baabwe okuyamba ebika bya lsirayiri ebirala nga biwamba ekitundu ky’Ensi Ensuubize ekyali kisigaddeyo ku luuyi olw’ebugwanjuba bw’Omugga Yoludaani. (Kubal. 32:16-19) Ekyo baakikola kubanga baali bakakafu nti Yakuwa yandikuumye bakyala baabwe n’abaana baabwe ng’abasajja bagenze okulwana. Yakuwa yabawa emikisa olw’okwoleka obuvumu n’okwefiiriza.—Yos. 22:1-4.
9. Bwe tuba nga twesiga Yakuwa tunaasalawo tutya?
9 Biki bye tuyiga? Okusobola okuweereza Yakuwa ne mu mbeera enzibu, tulina okweyongera okumwesiga. (Zab. 37:3) Abaweereza ba Yakuwa bangi leero bakiraga nti bamwesiga nga babaako bye beefiiriza okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. Beenyigira mu kuzimba ebizimbe ebikozesebwa ekibiina kya Yakuwa, baweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, era bakola emirimu emirala egyetaagibwa ekibiina kya Yakuwa. Bakola ebintu ebyo kubanga bakakafu nti Yakuwa ajja kubalabirira.—Zab. 23:1.
ASERI
10. Kiki eb’ekika kya Aseri kye baalemererwa okukola? (Olubereberye 49:20) (Laba n’akasanduuko.)
10 Soma Olubereberye 49:20. Yakobo yagamba nti ekika kya Aseri kyandibadde kigagga, era ekyo kyennyini kye kyaliwo. Ebimu ku bitundu by’obusika bwa Aseri bye bimu ku ebyo ebyali bisingayo obugimu mu nsi ya Isirayiri yonna. (Ma. 33:24) Ekitundu kya Aseri kyali kiriraanye ennyanja Meditereniyani era kyali kizingiramu omwalo gw’e Sidoni ogwabangako eby’obusuubuzi bingi. Naye ab’ekika kya Aseri baalemererwa okugoba Abakanani mu kitundu kyabwe. (Balam. 1:31, 32) Enneeyisa y’Abakanani embi n’eby’obugagga ab’ekika kya Aseri bye baalina, byabaviirako obutafaayo kukola Yakuwa by’ayagala. Omulamuzi Balaka bwe yali anoonya abalwanyi abandyewaddeyo okulwanyisa Abakanani, ab’ekika kya Aseri tebeewaayo kulwana. N’ekyavaamu, baasubwa okulaba ebintu ebyewuunyisa Yakuwa bye yakola ng’ayamba Abayisirayiri okuwangula olutalo ku ‘mazzi g’e Megiddo.’ (Balam. 5:19-21) Ab’ekika kya Aseri baateekwa okuba nga baawulira obuswavu bwe baawulira ebigambo ebyali mu luyimba olw’obuwanguzi Balaka ne Debola lwe baayimba, ebyali bigamba nti: “Aseri yatuula butuuzi ku lubalama lw’ennyanja.”—Balam. 5:17.
11. Lwaki tusaanidde okuba n’endowooza etagudde lubege ku by’obugagga ne ssente?
11 Biki bye tuyiga? Twagala okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi. Ekyo okusobola okukikola, tusaanidde okwewala endowooza ensi gy’erina ku by’obugagga. (Nge. 18:11) Ate era tusaanidde okuba n’endowooza etagudde lubege bwe kituuka ku ssente. (Mub. 7:12; Beb. 13:5) Tetusaanidde kwonoona biseera byaffe na maanyi gaffe nga tugezaako okufuna ebintu bye tuteetaaga. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okuweereza Yakuwa nga tukimanyi nti bwe tusigala nga tuli beesigwa, ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.—Zab. 4:8.
NAFUTAALI
12. Ebigambo Yakobo bye yagamba Nafutaali biyinza okuba nga byatuukirira bitya? (Olubereberye 49:21) (Laba n’akasanduuko.)
12 Soma Olubereberye 49:21. Yakobo yagamba nti Nafutaali yandyogedde “ebigambo ebirungi.” Ekyo kiyinza okuba nga kikwata ku bigambo Yesu bye yayogera mu buweereza bwe ku nsi. Yesu yamala ebiseera bingi mu kibuga ky’e Kaperunawumu ekyali mu kitundu ky’ekika kya Nafutaali. Eyo y’ensonga lwaki Kaperunawumu kyali kiyitibwa ‘ekibuga ky’ewaabwe.’ (Mat. 4:13; 9:1; Yok. 7:46) Ng’ayogera ku Yesu, Isaaya yagamba nti abantu b’e Zebbulooni ne Nafutaali bandirabye “ekitangaala eky’amaanyi.” (Is. 9:1, 2) Okuyitira mu ebyo bye yayigiriza, Yesu ye yali “ekitangaala eky’amazima ekyakira abantu aba buli kika.”—Yok. 1:9.
13. Tuyinza tutya okukakasa nti ebyo bye twogera bisanyusa Yakuwa?
13 Biki bye tuyiga? Yakuwa afaayo ku ebyo bye twogera n’engeri gye tubyogeramu. Tuyinza tutya okwogera “ebigambo ebirungi” ebisanyusa Yakuwa? Okusookera ddala tusaanidde okwogera amazima. (Zab. 15:1, 2) Ate era tusaanidde okuzzaamu abalala amaanyi okuyitira mu ebyo bye twogera, nga twanguwa okubasiima naye nga twewala okubavumiririra oba okwemulugunya. (Bef. 4:29) Ate era tusaanidde okuba n’ekiruubirirwa eky’okuyiga okunyumya n’abantu nga tulina ekigendererwa eky’okubabuulira amawulire amalungi.
YUSUFU
14. Obunnabbi Yakobo bwe yayogera ku Yusufu bwatuukirira butya? (Olubereberye 49:22, 26) (Laba n’akasanduuko.)
14 Soma Olubereberye 49:22, 26. Yakobo ateekwa okuba nga yali yeenyumiririza nnyo mu Yusufu, era yamwogerako ng’oyo “eyayawulibwa ku baganda be.” Ate era yamuyita “ttabi ly’omuti ogubala ebibala.” Yakobo kennyini ye yali omuti ate Yusufu yali ttabi lya muti ogwo. Yusufu ye yali omwana omubereberye owa Laakeeri, omukyala Yakobo gwe yali ayagala ennyo. Yakobo yagamba nti Yusufu ye yandiweereddwa omugabo gw’omwana omubereberye mu kifo kya Lewubeeni, mutabani wa Leeya omubereberye. (Lub. 48:5, 6; 1 Byom. 5:1, 2) Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo, batabani ba Yusufu, Efulayimu ne Manase, baafuna obusika ng’ebika bibiri ebyetongodde.—Lub. 49:25; Yos. 14:4.
15. Yusufu yeeyisa atya bwe yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya?
15 Yakobo era yagamba nti: “Abalasi b’obusaale [baalumbanga Yusufu] n’obukambwe ne bamulasa, era baamusibiranga ekiruyi.” (Lub. 49:23) Abalasi b’obusaale abo baali baganda be edda abaali baamukwatira obuggya, era abaali baamuviirako okuyisibwa mu ngeri etaali ya bwenkanya. Wadde kyali kityo, Yusufu teyakyawa baganda be era teyanenya Yakuwa olw’ebyo ebyamutuukako. Nga Yakobo bwe yagamba, “omutego [gwa Yusufu] tegwaava mu kifo, era emikono gye gyali gya maanyi era nga gikola na bwangu.” (Lub. 49:24) Mu bizibu byonna bye yayitamu, Yusufu yeesiga Yakuwa. Ate era yasonyiwa baganda be era n’abayisa mu ngeri ey’ekisa. (Lub. 47:11, 12) Yusufu yakkiriza ebizibu bye yayitamu okumuyamba okweyongera okuba omuntu omulungi. (Zab. 105:17-19) N’ekyavaamu, Yakuwa yamukozesa okukola ebintu bingi ebyewuunyisa.
16. Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, tuyinza tutya okukoppa Yusufu?
16 Biki bye tuyiga? Tetusaanidde kukkiriza bizibu bye tuyitamu kutuleetera kweyawula ku Yakuwa oba ku bakkiriza bannaffe. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ayinza okuleka ebizibu okututuukako tusobole okutendekebwa. (Beb. 12:7, obugambo obuli wansi) Okutendekebwa okwo kusobola okutuyamba okweyongera okukoppa engeri za Yakuwa, gamba ng’obusaasizi n’okusonyiwa abalala. (Beb. 12:11) Bwe tugumiikiriza, Yakuwa ajja kutuwa emikisa nga bwe yagiwa Yusufu.
BENYAMINI
17. Obunnabbi Yakobo bwe yayogera ku Benyamini bwatuukirira butya? (Olubereberye 49:27) (Laba n’akasanduuko.)
17 Soma Olubereberye 49:27. Yakobo yagamba nti Ababenyamini bandibadde balwanyi bazira ng’emisege. (Balam. 20:15, 16; 1 Byom. 12:2) Kabaka wa Isirayiri eyasooka yali Sawulo ow’omu kika kya Benyamini. Yakiraga nti mulwanyi muzira bwe yalwanyisa Abafirisuuti. (1 Sam. 9:15-17, 21) Nga wayise emyaka mingi, Nnaabakyala Eseza ne Katikkiro Moluddekaayi abaali ab’omu kika kya Benyamini, baayamba Abayisirayiri abaali mu bwakabaka bwa Buperusi obutasaanyizibwawo.—Es. 2:5-7; 8:3; 10:3.
18. Tuyinza tutya okubeera abeesigwa eri Yakuwa ng’ab’ekika kya Benyamini?
18 Biki bye tuyiga? Kirabika abantu b’omu kika kya Benyamini baasanyuka nnyo Sawulo eyali ow’omu kika kyabwe bwe yafuuka kabaka. Kyokka oluvannyuma Yakuwa yafuula Dawudi, eyali ow’omu kika kya Yuda, kabaka. Wadde kyali kityo, Ababenyamini oluvannyuma baawagira Dawudi. (2 Sam. 3:17-19) Nga wayiseewo emyaka mingi, ebika ekkumi bwe byewaggula ku kika kya Yuda, ab’ekika kya Benyamini baasigala beesigwa eri ekika kya Yuda ne kabaka eyali ava mu lunyiriri lwa Dawudi. (1 Bassek. 11:31, 32; 12:19, 21) Okufaananako ab’ekika kya Benyamini, naffe ka bulijjo tweyongere okuba abeesigwa eri Yakuwa nga tuwagira abo Yakuwa b’alonze okutukulembera leero.—1 Bas. 5:12.
19. Tuganyulwa tutya mu bunnabbi Yakobo bwe yayogera ng’anaatera okufa?
19 Waliwo bingi bye tuyigira ku bunnabbi Yakobo bwe yayogera ku batabani be ng’anaatera okufa. Okwekenneenya engeri obunnabbi obwo gye bwatuukirizibwamu, kituyamba okuba abakakafu nti n’obunnabbi obulala obuli mu Kigambo kya Katonda bujja kutuukirira. Ate era kituyamba okutegeera engeri gye tuyinza okweyongera okukola ebyo ebisanyusa Yakuwa.
OLUYIMBA 128 Okugumiikiriza Okutuusa ku Nkomerero
a Yakobo bwe yali awa batabani be abana abaasooka omukisa, yagubawa nga bwe baali baddiriŋŋana mu buzaale bwabwe. Naye bwe yali awa batabani be abalala omunaana omukisa, teyagubawa nga bwe baali baddiriŋŋana mu buzaale bwabwe.