EKITUNDU EKY’OKUSOMA 39
OLUYIMBA 54 “Lino Lye Kkubo”
Tolonzalonza Kuyamba Abo ‘Abalina Endowooza Ennuŋŋamu’
“Abo bonna abaalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo ne bafuuka bakkiriza.”—BIK. 13:48.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ddi lwe tulina okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli n’okubayita okujja mu nkuŋŋaana.
1. Abantu bakwatibwako batya nga bawulidde obubaka bwe tubuulira? (Ebikolwa 13:47, 48; 16:14, 15)
ABANTU bangi mu kyasa ekyasooka bakkiriza amawulire amalungi amangu ddala nga baakagawulira. (Soma Ebikolwa 13:47, 48; 16:14, 15.) Ne leero, abantu abamu bakkiriza amawulire amalungi ku mulundi gwe baba basoose okugawulira. N’abo abatakkiriza bubaka bwaffe mu kusooka, oluvannyuma bayinza okubukkiriza. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tusanga abantu ‘abalina endowooza ennuŋŋamu’ nga tubuulira?
2. Lwaki omulimu gw’okubuulira gwe tukola tuyinza okugugeraageranya ku ekyo omulimi ky’akola?
2 Lowooza ku kyokulabirako kino. Omulimu gw’okubuulira gwe tukola tuyinza okugugeraageranya ku ekyo omulimi ky’akola. Ebimu ku bibala ebiba mu nnimiro biyinza okusooka ebirala okwengera. Omulimi akungula ebyo ebiba bisoose okwengera, naye era yeeyongera okulabirira ebyo ebiba bitannaba kukula bulungi. Mu ngeri y’emu, bwe tusanga omuntu akkiriza obubaka bwaffe twagala okumuyamba okufuuka omuyigirizwa wa Kristo amangu ddala nga bwe kisoboka. Naye era twetaaga okweyongera okuyamba abo abatannakkiriza bubaka bwaffe, okumanya ensonga lwaki kikulu okuyiga ebikwata ku Katonda. (Yok. 4:35, 36) Okutegeera kujja kutuyamba okumanya engeri gye tusaanidde okukwatamu abantu be tusanga nga tubuulira. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tusaanidde okukwatamu omuntu aba akiraze nti ayagala okumanya ebisingawo ku mulundi gwe tuba tusoose okumubuulira. Ate era tugenda kulaba engeri gye tusobola okuyambamu abantu abo okukulaakulana.
OKUYAMBA ABANTU ABAKKIRIZA OBUBAKA BWAFFE
3. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tusanga abantu abaagala okuwuliriza obubaka bwaffe? (1 Abakkolinso 9:26)
3 Bwe tuba tubuulira ne tusanga abantu abakkiriza obubaka bwaffe, twagala okubayamba mu bwangu ddala batandike okutambulira mu kkubo eritwala mu bulamu. Tusaanidde okutandikirawo okubayigiriza Bayibuli n’okubayita mu nkuŋŋaana ku mulundi gwe tuba tusoose okwogera nabo.—Soma 1 Abakkolinso 9:26.
4. Waayo ekyokulabirako ky’omuntu eyali omwetegefu okutandikirawo okuyigirizibwa Bayibuli.
4 Tandika okubayigiriza Bayibuli. Abamu ku abo be tubuulira baba beetegefu okutandika okuyigirizibwa Bayibuli amangu ddala. Ng’ekyokulabirako, lumu ku Lwokuna omukyala omu mu Canada yajja ku kagaali awagabirwa ebitabo n’afuna brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Mwannyinaffe eyali ku kagaali yannyonnyola omukyala oyo nti omuntu bw’atwala akatabo ako, aba asobola okusaba okuyigirizibwa Bayibuli ku bwereere. Omukyala oyo yakiraga nti ayagala okuyigirizibwa Bayibuli era ye ne mwannyinaffe baawaanyisiganya ennamba z’essimu. Ku lunaku olwo lwennyini omukyala oyo yasindikira mwannyinaffe mesegi ng’amubuuza ddi lwe baba batandika okusoma. Mwannyinaffe bwe yamugamba nti bajja kutandika okusoma ku wiikendi, omukyala oyo yamubuuza nti: “Kiri kitya bwe tutandika okusoma enkya?” Enkeera ku Lwokutaano baatandika okusoma. Ku Ssande eyo omukyala oyo yajja mu lukuŋŋaana era yeeyongera okukulaakulana.
5. Biki bye tusaanidde okukola nga twagala okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli? (Laba n’ebifaananyi.)
5 Kya lwatu abantu bonna bayinza obutaagalirawo kuyigirizibwa Bayibuli ng’omukyala oyo bwe yali. Kiyinza okwetaagisa ekiseera ekiwerako okwagazisa abamu okuyiga. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwetaaga okusooka okunyumya nabo ku nsonga ejja okubakwatako. Kyokka bwe tubeera n’endowooza ennuŋŋamu era ne tukiraga nti tufaayo ku bantu, wayinza okuyitawo ekiseera kitono ne tutandika okubayigiriza. Kati olwo kiki kye tusaanidde okwogera nga tubabuulira ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli? Ekibuuzo ekyo kyabuuzibwa bannyinaffe ne baganda baffe bangi abalina obumanyirivu mu kutandika okuyigiriza abantu Bayibuli.
Biki by’osobola okwogera n’abantu ebisobola okubasikiriza okuyiga Bayibuli? (Laba akatundu 5)a
6. Tuyinza tutya okwogera n’abantu ne tubaleetera okwagala okuyiga Bayibuli?
6 Ababuulizi ne bapayoniya abaabuuzibwa baagamba nti mu nsi ezimu bwe tuba tunnyonnyola abantu ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza Bayibuli, si kirungi kukozesa bigambo nga “okuyigirizibwa Bayibuli” oba “okukusomesa Bayibuli.” Baagamba nti kiba kirungi okukozesa ebigambo gamba nga “okunyumya ku ebyo ebiri mu Bayibuli” oba “okukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Bayibuli.” Okusobola okuleetera omuntu okwagala okweyongera okunyumya naawe, oyinza okumugamba nti, “Kyewuunyisa nti Bayibuli eddamu ebibuuzo ebikulu bye twebuuza” oba “Bayibuli si kitabo butabo eky’eddiini, naye erimu amagezi agasobola okutuyamba mu bulamu.” Oyinza n’okumugamba nti: “Tekitwala budde bungi; mu ddakiika 10 oba 15 obaako ky’oyiga ekisobola okukuyamba mu bulamu.” Nga twogera naye kiba kirungi okwewala okwogera ebigambo gamba nga “nja kukuyigirizanga buli wiiki” oba “tolina kwosa” ekiyinza okumuleetera okulowooza nti alina okukuwa obudde bungi.
7. Ddi abamu lwe bategeera nti bazudde amazima agali mu Bayibuli? (1 Abakkolinso 14:23-25)
7 Bayite okubaawo mu nkuŋŋaana. Mu kiseera ky’omutume Pawulo, kirabika abantu abamu baakitegeera nti baali bazudde amazima ku mulundi gwe baasooka okujja mu nkuŋŋaana. (Soma 1 Abakkolinso 14:23-25.) Ne leero bwe kityo bwe kiri. Bangi ku abo be tuyigiriza Bayibuli bakulaakulana mangu bwe batandika okujja mu nkuŋŋaana. Ddi lw’osaanidde okubayita? Mu ssomo 10 ery’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! tukubirizibwa okuyita abayizi baffe okujja mu nkuŋŋaana. Naye tosaanidde kulinda kutuuka ku ssomo eryo olyoke obayite. Okuviira ddala ku mulundi gw’osoose okunyumya n’omuntu, osobola okumuyita okujja mu nkuŋŋaana oboolyawo ng’omubuulira ku mutwe gw’okwogera kwa bonna, oba ku ebyo ebiri mu kitundu ky’Omunaala gw’Omukuumi.
8. Biki bye tusobola okugamba omuntu nga tumuyita okujja mu nkuŋŋaana? (Isaaya 54:13)
8 Bw’oyita omuntu mu nkuŋŋaana muyambe okukimanya nti enkuŋŋaana zaffe za njawulo ku nkuŋŋaana z’amadiini amalala. Omuyizi wa Bayibuli omu bwe yajja mu nkuŋŋaana zaffe omulundi gwe ogwasooka era n’abeera mu kitundu eky’okusoma Omunaala gw’Omukuumi, yabuuza oyo amuyigiriza nti, “Oyo akubiriza amanyi amannya ga buli muntu?” Mwannyinaffe amuyigiriza yamugamba nti ffenna tufuba okumanya amannya g’abo abali mu kibiina, nga bwe tufuba okumanya amannya g’ab’omu maka gaffe. Omukyala oyo kyamwewuunyisa era yagamba nti abantu abasinga obungi mu kkanisa ye tebamanyi mannya ga bannaabwe. Okufaananako omukyala oyo, abantu bangi bakiraba nti enkuŋŋaana zaffe za njawulo ku z’amadiini amalala. (Soma Isaaya 54:13.) Mu nkuŋŋaana zaffe tuba tuzze okusinza Yakuwa, okuyiga ebimukwatako, n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Beb. 2:12; 10:24, 25) Eyo ye nsonga lwaki enkuŋŋaana zaffe ziba ntegeke bulungi ne kitusobozesa okuyiga, era tewali bulombolombo bwa ddiini bwe tugoberera. (1 Kol. 14:40) Ate era engeri ebizimbe byaffe gye bizimbibwamu, etusobozesa okuyiga obulungi. Olw’okuba tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, mu nkuŋŋaana zaffe tetwogera ku bya bufuzi. Ate era tetutumbula ndowooza z’abantu kinnoomu, wadde okwogera ku nsonga ezitalina kakwate na kusinza. Kiyinza okuba ekirungi okulaga omuyizi wo vidiyo erina omutwe Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? nga tannajja mu nkuŋŋaana. Mu ngeri eyo ajja kuba amanyi by’anaasanga mu nkuŋŋaana.
9-10. Bwe tuba tuyita omuntu okujja mu nkuŋŋaana, biki bye tusobola okumugamba ne kimuyamba obutatya kujja? (Laba n’ekifaananyi.)
9 Abamu balonzalonza okujja mu nkuŋŋaana zaffe nga batya nti bajja kukakibwa okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Omuntu gw’oba oyise mugambe nti twaniriza abantu bonna, era tetubawaliriza kufuuka Bajulirwa ba Yakuwa wadde okubakaka okwenyigira mu ebyo ebiba bigenda mu maaso. Ab’omu maka bonna baanirizibwa nga mw’otwalidde n’abaana. Mu nkuŋŋaana zaffe abaana tebayigirizibwa bokka. Mu kifo ky’ekyo, abazadde n’abaana batuula wamu era bayigirizibwa ebintu bye bimu. Mu ngeri eyo abazadde baba bamanyi baani abali n’abaana baabwe era na biki bye bayigirizibwa. (Ma. 31:12) Tetusolooza ssente era tetuwa bantu bbaasa kuteekamu ssente. Tukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Mat. 10:8) Ate era tuyinza okugamba omuntu nti tekimwetaagisa kwambala ngoye za bbeeyi okujja mu nkuŋŋaana zaffe. Katonda atunuulira mutima, so si ndabika ya muntu.—1 Sam. 16:7.
10 Omuntu gw’oyise bw’ajja, mwanirize n’essanyu era mufeeko. Mwanjulire abakadde n’ababuulizi abalala. Bw’akiraba nti ab’oluganda bamufuddeko, kiyinza okumusikiriza okukomawo. Olukuŋŋaana bwe luba lugenda mu maaso n’okiraba nti talina Bayibuli, kozesa Bayibuli yo okusomera awamu naye Ebyawandiikibwa asobole okugoberera ebyo omwogezi by’ayogera oba ebikubaganyizibwako ebirowoozo.
Omuntu bw’atandikirawo okujja mu nkuŋŋaana aganyulwa nnyo (Laba akatundu 9-10)
OMUNTU BW’ATANDIKA OKUYIGA BAYIBULI
11. Oyinza otya okukiraga nti ofaayo ku biseera omuntu by’aba akuwadde okumuyigiririzaamu Bayibuli?
11 Biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tuyiga n’omuntu Bayibuli? Kimanye nti oyo gw’oyigiriza ayinza okuba n’eby’okukola, n’olwekyo bw’oba omusomesa tokozesa biseera bingi. Bwe muba mulina ekiseera kye mwalagaana okusomeramu, kuuma obudde ka kibe nti abantu b’omu kitundu kyammwe tebakuuma budde. Ate era kiyinza okuba ekirungi ku mulundi ogusooka okukozesa ekiseera kitono ddala. Ababuulizi abamu abalina obumanyirivu bagamba nti kirungi obutakozesa budde bungi nga tuyiga n’omuntu, ne bwe kiba nti akyayagala okuyiga. Weewale okwogera ennyo kisobozese omuyizi okukubuulira ky’alowooza n’engeri gy’awuliramu.—Nge. 10:19.
12. Okuva lwe tutandika okuyiga n’omuntu Bayibuli tusaanidde kuba na kiruubirirwa ki?
12 Okuva lwe tutandika okusoma n’omuntu, tusaanidde okuba n’ekiruubirirwa eky’okumuyamba okumanya Yakuwa ne Yesu era n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere nabo. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, bulijjo bwe tuba tubasomesa twetaaga okubalaga ekyo Bayibuli ky’egamba, so si ekyo ffe kye tulowooza oba ebyo bye tumanyi. (Bik. 10:25, 26) Emirundi mingi omutume Pawulo bwe yabanga ayigiriza essira yalissanga ku Yesu Kristo, oyo Yakuwa gwe yasindika okutuyamba okumumanya n’okumwagala. (1 Kol. 2:1, 2) Pawulo era yalaga nti kikulu nnyo okuyamba abayigirizwa abapya okukulaakulanya engeri ennungi, ezigeraageranyizibwa ku zzaabu, ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo. (1 Kol. 3:11-15) Engeri ezo zizingiramu okukkiriza, amagezi, okutegeera, n’okutya Yakuwa. (Zab. 19:9, 10; Nge. 3:13-15; 1 Peet. 1:7) Bw’oba oyigiriza omuyizi wo, koppa Pawulo ng’oyamba omuyizi wo okukulaakulanya okukkiriza okw’amaanyi era muyambe okufuna enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu.—2 Kol. 1:24.
13. Bwe tuba tuyamba abayizi ba Bayibuli tuyinza tutya okwoleka obugumiikiriza n’okukiraga nti tetuli bakakanyavu? (2 Abakkolinso 10:4, 5) (Laba n’ekifaananyi.)
13 Koppa engeri Yesu gye yayigirizangamu ng’obeera mugumiikiriza era nga toba mukakanyavu. Weewale okubuuza omuyizi ebibuuzo ebimuswaza. Omuyizi bw’azibuwalirwa okutegeera ensonga emu, togikalambirako. Mweyongere okuyiga, ensonga eyo musobola okugyogerako omulundi omulala. Mu kifo ky’okumukaka okukkiriza enjigiriza ya Bayibuli emu, muwe ekiseera okulowooza ku nsonga eyo asobole okukyusa endowooza ye. (Yok. 16:12; Bak. 2:6, 7) Bayibuli egamba nti enjigiriza ez’obulimba ziringa “ebintu ebyasimba amakanda” bye twetaaga “okusiguukulula.” (Soma 2 Abakkolinso 10:4, 5) Ebigambo by’Oluyonaani Pawulo bye yakozesa mu nnyiriri ezo biwa amakulu ag’okumenyaamenya omunaala omuwanvu. Si kyangu okumenyaamenya omunaala. Mu ngeri y’emu kiyinza obutaba kyangu omuyizi okulekera awo okukkiririza mu bintu by’amaze ekiseera ekiwanvu ng’akkiririzaamu. N’olwekyo twetaaga okuyamba omuyizi okusooka okuzimba omunaala omupya, kwe kugamba okuyiga okwesiga Yakuwa. Oluvannyuma kijja kumubeerera kyangu okulekayo enjigiriza ez’obulimba z’abadde ayagala ennyo.—Zab. 91:9.
Omuyizi muwe ekiseera okulowooza ku ebyo by’ayiga asobole okukyusa endowooza ye (Laba akatundu 13)
OMUNTU BW’AJJA MU NKUŊŊAANA
14. Tusaanidde kuyisa tutya abapya ababa bazze mu nkuŋŋaana?
14 Yakuwa ayagala abantu bonna abazze mu nkuŋŋaana tubayise mu ngeri ey’ekisa, era tayagala tusosole muntu yenna olw’obuwangwa bwe, ensi mw’ava, oba olw’embeera ye ey’eby’enfuna. (Yak. 2:1-4, 9) Tuyinza tutya okukiraga nti tufaayo ku bapya ababa bazze mu nkuŋŋaana zaffe?
15-16. Biki bye tusaanidde okukola okwaniriza abo ababa bazze mu nkuŋŋaana?
15 Abantu abamu bayinza okujja mu nkuŋŋaana zaffe nga baagala okumanya ebigenda mu maaso, oba wayinza okubaawo omuntu mu kitundu ekirala eyabagambye okujja. N’olwekyo tusaanidde okubatuukirira ne twogera nabo. Baanirize n’essanyu naye tokola bintu bibamalako mirembe. Tuula nabo, kozesa Bayibuli yo oba ebitabo byo okubalaga ebigenda mu maaso, oba bafunire kopi ezaabwe ku bwabwe. Ate era lowooza ku bintu ebirala by’osobola okukola okubaleetera okukkakkana. Omusajja omu eyajja mu nkuŋŋaana yagamba ow’oluganda eyamwaniriza nti yali atidde kubanga yali tayambadde bulungi ng’abalala. Ow’oluganda yamuyamba okukkakkana ng’amugamba nti, Abajulirwa ba Yakuwa bantu ba bulijjo. Omusajja oyo, oluvannyuma eyakulaakulana n’abatizibwa, teyeerabiranga ngeri wa luganda oyo gye yamukwatamu. Naye waliwo kye tusaanidde okwegendereza: Wadde nga kirungi okulaga abapya nti tubafaako nga tunyumya nabo ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, tetusaanidde kubabuuza bitatukwatako.—1 Peet. 4:15.
16 Engeri endala gye tusobola okukiraga nti tufaayo ku bapya, kwe kubeera abeegendereza nga twogera ku bantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa oba bye bakkiririzaamu, okuyitira mu ebyo bye tuddamu mu nkuŋŋaana oba mu bitundu bye tuba tukubiriza. Weewale okukozesa ebigambo ebiyinza okubeesittaza oba okubaleetera obutayagala kukomawo. (Tit. 2:8; 3:2) Ng’ekyokulabirako, tetwogera ku ebyo bye bakkiririzaamu mu ngeri eraga nti tetubawa kitiibwa. (2 Kol. 6:3) Ensonga eno ab’oluganda abawa okwogera kwa bonna balina okugitwala nga nkulu nnyo. Basaanidde okukijjukira nti mw’abo abawuliriza mulimu abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa, era basaanidde okunnyonnyola ebigambo abantu abo bye bayinza okuba nga tebategeera.
17. Bwe tuba tubuulira ne tusanga abantu ‘abalina endowooza ennuŋŋamu,’ kiruubirirwa ki kye tusaanidde okuba nakyo?
17 Omulimu gwaffe ogw’okubuulira mukulu nnyo okusinga bwe kyali kibadde, era tukyeyongera okuzuula abantu abalina “endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.” (Bik. 13:48) Bwe tubazuula tusaanidde okutandikirawo okubayigiriza Bayibuli oba okubayita mu nkuŋŋaana. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kubayamba okutandika okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu.—Mat. 7:14.
OLUYIMBA 64 Okwenyigira mu Makungula n’Essanyu
a EBIFAANANYI: Ab’oluganda babiri boogera n’omusajja eyawummula amagye gwe basanze awaka we; bannyinaffe babuulira omukyala alina abaana babiri.