LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Okitobba lup. 18-23
  • Engeri gy’Oyinza Okulongoosa mu Ssaala Zo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri gy’Oyinza Okulongoosa mu Ssaala Zo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • TOTYA KUSABA YAKUWA
  • EBINAAKUYAMBA OKWONGERA OKUSABA ESSAALA EZ’AMAKULU
  • FUMIITIRIZA KU SSAALA EZIRI MU BAYIBULI
  • NYWEZA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA OKUYITIRA MU KUSABA
  • Teweerabira Kusabira Balala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Longoosa mu Ssaala Zo ng’Onyiikirira Okusoma Baibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Okitobba lup. 18-23

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 42

OLUYIMBA 44 Essaala y’Omunaku

Engeri gy’Oyinza Okulongoosa mu Ssaala Zo

“ Nkukoowoola n’omutima gwange gwonna. Nnyanukula, Ai Yakuwa.”—ZAB. 119:145.

EKIGENDERERWA

Bwe tufumiitiriza ku ssaala eziri mu Bayibuli kisobola okutuyamba okulongoosa mu ssaala zaffe.

1-2. (a) Bwe tuba tusaba, kiki ekiyinza okutulemesa okubuulira Yakuwa engeri gye twewuliramu? (b) Kiki ekitukakasa nti Yakuwa awuliriza essaala zaffe?

EBISEERA ebimu weesanga ng’osaba kutuukiriza butuukiriza mukolo era ng’okozesa ebigambo bye bimu? Bwe kiba kityo, toli wekka. Olw’okuba tuba n’eby’okukola bingi, tuyinza okusaba essaala nnyimpi zokka, ne tutafuna budde kusaba ssaala mpanvu. Oboolyawo tukisanga nga kizibu okubuulira Yakuwa ekyo ekituli ku mutima nga tulowooza nti tetugwanira kwogera naye.

2 Bayibuli eyigiriza nti Yakuwa ayagala tumusabe nga tuli beesimbu era ng’essaala zaffe ziviira ddala ku mutima. Ekyo akitwala nga kikulu nnyo. Mu butuufu, Yakuwa awulira “okwegayirira kw’abawombeefu.” (Zab. 10:17) Yakuwa awuliriza bulungi buli kimu kye tumusaba kubanga atufaako.—Zab. 139:​1-3.

3. Bibuuzo ki bye tugenda okuddamu mu kitundu kino?

3 Tuyinza okwebuuza nti: Lwaki tetusaanidde kutya kusaba Yakuwa? Biki ebiyinza okutuyamba okusaba essaala ez’amakulu? Okufumiitiriza ku ssaala eziri mu Bayibuli kiyinza kitya okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tusabamu? Kiki kye tusobola okukola bwe tuba nga tweraliikiridde nnyo ne kiba nti tetusobola kubuulira Yakuwa ngeri gye twewuliramu? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo.

TOTYA KUSABA YAKUWA

4. Kiki ekiyinza okutuyamba obutatya kusaba Yakuwa? (Zabbuli 119:145)

4 Bwe tukitegeera nti Yakuwa wa mukwano mwesigwa era nti atwagaliza birungi, tusobola okumubuulira kye tulowooza n’engeri gye twewuliramu. Omuwandiisi wa Zabbuli 119 bw’atyo bwe yali atwala Yakuwa kubanga yalina enkolagana ennungi naye. Yalina ebimusoomooza mu bulamu. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu baamwogerangako ebintu eby’obulimba. (Zab. 119:​23, 69, 78) Ate era oluusi yaggwangamu amaanyi olw’ensobi ze yakolanga. (Zab. 119:5) Wadde kyali kityo, omuwandiisi wa zabbuli oyo teyatya kubuulira Yakuwa ebyamuli ku mutima.—Soma Zabbuli 119:145.

5. Lwaki tetulina kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kusaba Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

5 Yakuwa ayagala n’abo ababa bakoze ebibi eby’amaanyi okumusaba. (Is. 55:​6, 7) N’olwekyo tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kusaba Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, omuvuzi w’ennyonyi aba akimanyi nti bw’aba yeetaaga obuyambi, asobola okuwuliziganya n’abo abakola ku by’entambula y’ennyonyi ku kisaawe. Naye omugoba w’ennyonyi oyo yanditidde okubategeeza nti yeetaaga obuyambi bw’aba ng’abuze oba ng’akoze ensobi? Nedda! Mu ngeri y’emu, ne bwe kiba nti tukoze ensobi oba nga tetuli bakakafu ku ekyo kye tugenda kusalawo, tetusaanidde kutya kusaba Yakuwa.—Zab. 119:​25, 176.

EBINAAKUYAMBA OKWONGERA OKUSABA ESSAALA EZ’AMAKULU

6-7. Okufumiitiriza ku ngeri za Yakuwa kinaatuyamba kitya okulongoosa mu ssaala zaffe? Waayo ekyokulabirako. (Laba obugambo obuli wansi.)

6 Bwe twogera ne Yakuwa awatali kutya, ne tumubuulira ekyo kyennyini kye tulowooza, n’engeri gye twewuliramu, essaala zaffe zeeyongera okuba ez’amakulu. Kati olwo biki bye tusobola okukola okulongoosa mu ssaala zaffe?

7 Fumiitiriza ku ngeri za Yakuwa.a Gye tukoma okufumiitiriza ku ngeri za Yakuwa, gye kijja okukoma okutwanguyira okumubuulira ekyo kyennyini ekituli ku mutima. (Zab. 145:​8, 9, 18) Lowooza ku mwannyinaffe Kristine eyalina taata omukambwe. Agamba nti: “Okwogera ne Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu tekyannyanguyira. Muli nnali mpulira nti Yakuwa tasobola kunjagala olw’obutali butuukirivu bwange.” Kiki ekyamuyamba? Agamba nti: “Okufumiitiriza ku kwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kyannyamba okukiraba nti Yakuwa anjagala. Nkimanyi nti bulijjo ajja kunnyamba. Ne bwe nkola ensobi, ndi mukakafu nti Yakuwa tajja kunjabulira. Ekyo kinnyamba okumubuulira ekyo kyennyini ekindi ku mutima nga mw’otwalidde ebinsanyusizza, n’ebinneeraliikiriza.”

8-9. Lwaki kirungi okulowooza ku ebyo by’oba ogenda okwogerako nga tonnasaba? Waayo ekyokulabirako.

8 Lowooza ku ebyo by’oba ogenda okwogerako ng’osaba. Nga tonnatandika kusaba, oyinza okubaako ebibuuzo bye weebuuza. Ng’ekyokulabirako oyinza okwebuuza: ‘Bizibu ki bye nnina mu kiseera kino? Waliwo omuntu yenna gwe nnina okusonyiwa? Waliwo enkyukakyuka ezzeewo mu bulamu bwange enneetaagisa okusaba Yakuwa okunnyamba?’ (2 Bassek. 19:​15-19) Ate era jjukira engeri Yesu gye yatuyigirizaamu okusaba, olowooze ku ebyo by’osobola okusaba Yakuwa ebikwata ku linnya lye, Obwakabaka bwe, n’ebyo by’ayagala.—Mat. 6:​9, 10.

9 Mwannyinaffe Aliska bwe yakitegeera nti omwami we yali azuuliddwamu kkansa w’obwongo, kyamubeerera kizibu okusaba. Agamba nti: “Nnabanga mweraliikirivu nnyo ne kiba nti kyanzibuwaliranga okulowooza ku ebyo bye nnabanga ŋŋenda okwogerako nga nsaba.” Kiki ekimuyambye? Agamba nti: “Bwe mba sinnasaba nsooka ne nfumiitiriza ku ebyo bye mba ŋŋenda okwogera era ekyo kinnyambye obutasaba ebyo ebikwata ku nze n’omwami wange byokka. Ate era kinnyambye okuba omukkakkamu ne mba nga nsobola okusaba Yakuwa ku bintu eby’enjawulo.”

10. Lwaki tusaanidde okumala ekiseera ekiwerako nga tusaba? (Laba n’ekifaananyi.)

10 Saba okumala ekiseera ekiwanvuko. Wadde ng’essaala ennyimpimpi zisobola okuba ez’amakulu, kiyinza okutwanguyira okubuulira Yakuwa ebituli ku mutima bwe tusaba essaala empanvuko.b Elijah, omwami wa Aliska, agamba nti: “Ntera okusaba Yakuwa emirundi egiwerako mu lunaku, naye bwe mmala ekiseera ekiwanvuko nga nsaba, mpulira ng’enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongera okunywera. Bwe mba nsaba sikitwala nti Yakuwa akooye okumpuliriza era nti ayagala mmalirize mangu. N’olwekyo nsaba okumala ekiseera ekiwanvuko.” Gezaako kino: Funayo ekiseera n’ekifo awatali bikuwugula w’osobola okusabira okumala ekiseera ekiwanvuko, oboolyawo ng’oyatula ebigambo. Weemanyiize okusaba essaala empanvuko.

Ebifaananyi: 1. Mu budde obw’okumakya ng’omusana tegunnavaayo, ow’oluganda atudde nga ku mmeeza ye kuliko Bayibuli embikkule ne kkaawa era afumiitiriza. 2. Oluvannyuma ng’omusana guvuddeyo, ow’oluganda oyo akyali mu kifo ekyo kye kimu era asaba Yakuwa okumala ekiseera kiwanvuko.

Funa ekiseera n’ekifo ebisobola okukuyamba okusaba essaala empanvuko (Laba akatundu 10)


FUMIITIRIZA KU SSAALA EZIRI MU BAYIBULI

11. Tuganyulwa tutya bwe tufumiitiriza ku ssaala z’abaweereza ba Yakuwa ezaawandiikibwa mu Bayibuli? (Laba n’akasanduuko “Owulira nga Bwe Baali Bawulira?”)

11 Ojja kuganyulwa bw’onoofumiitiriza ku ssaala abaweereza ba Yakuwa abaaliwo mu biseera eby’edda ze baasabanga, n’ennyimba ze baayimbanga nga batendereza Yakuwa. Bw’onoofumiitiriza ku ngeri abaweereza ba Katonda gye baayogerangamu ebyabali ku mutima, n’ebyo bye baabanga balowooza, naawe ojja kukola kye kimu. Osobola okuyigira ku ssaala zaabwe ne kikuyamba okufuna ebigambo ebipya by’osobola okukozesa ng’osaba. Ate era oyinza n’okufuna essaala ezirimu ebigambo ebikwatira ddala ku mbeera gy’olimu.

Owulira nga Bwe Baali Bawulira?

Abaweereza ba Katonda abeesigwa baamubuliranga engeri gye baabanga beewuliramu nga bali mu mbeera ez’enjawulo. Naawe owulira nga bo?

  • Yakobo bwe yali yeeraliikiridde yeebaza Yakuwa era n’akiraga nti amwesiga.—Lub. 32:​9-12.

  • Kabaka Sulemaani bwe yali omuto era ng’awulira nti obuvunaanyizibwa Yakuwa bw’amuwadde buzito, yeegayirira Yakuwa okumuyamba.—1 Bassek. 3:​7-9.

  • Dawudi bwe yamala okukola ekibi ne Basuseba, yeegayirira Yakuwa amuwe “omutima omulongoofu.”—Zab. 51:​9-12.

  • Maliyamu bwe yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo, yatendereza Yakuwa.—Luk. 1:​46-49.

Ky’oyinza okwesomesa: Weekenneenyeyo essaala omu ku baweereza ba Yakuwa gye yasaba. Oluvannyuma weetegereze engeri Yakuwa gye yaddamu essaala ye. Baako ky’omuyigirako ekisobola okukuyamba.

12. Bibuuzo ki bye tusobola okwebuuza nga tufumiitiriza ku ssaala eziri mu Bayibuli?

12 Bw’oba ofumiitiriza ku ssaala eri mu Bayibuli, weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Ani yayogera ebigambo bino, era yabyogera ali mu mbeera ki? Kyandiba nti embeera gye yali ayitamu nange gye mpitamu? Essaala eno enjigiriza ki?’ Oyinza okubaako by’onoonyereza okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, naye okufuba kwo tekujja kuba kwa bwereere. Ka twetegerezeeyo essaala za mirundi ena.

13. Kiki kye tuyigira ku ssaala Kaana gye yasaba? (1 Samwiri 1:​10, 11) (Laba ku ddiba.)

13 Soma 1 Samwiri 1:​10, 11. Kaana we yasabira essaala eyo yali ayolekagana n’ebizibu bibiri eby’amaanyi. Yali mugumba ate nga muggya we amuyigganya. (1 Sam. 1:​4-7) Bwe kiba nti oyolekagana n’embeera ekalubizza obulamu bwo, kiki ky’osobola okuyigira ku ssaala ya Kaana? Yamala ekiseera kiwanvuko ng’asaba Yakuwa era ekyo kyamuyamba okufuna obuweerero. (1 Sam. 1:​12, 18) Naffe tujja kufuna obuweerero omugugu gwaffe bwe tunaagutikka Yakuwa, kwe kugamba nga tumubuulira ebizibu byennyini ebitweraliikiriza.—Zab. 55:22.

Ebifaananyi: 1. Kaana atunudde ebbali nga munakuwavu ng’eno Erukaana bw’azannya n’abaana be babiri. 2. Penina asitudde omwana we omuwere, era ataddeko akamwenyumwenyu. 3. Kaana akaaba nga bwe yeegayirira Yakuwa. 4. Kabona Asinga Obukulu azinze emikono nga bw’atunuulira Kaana.

Kaana bwe yali ng’ayolekagana n’ekizibu ky’obutazaala era nga ne muggya we amuyigganya, yategeeza Yakuwa ekyamuli ku mutima (Laba akatundu 13)


14. (a) Kiki ekirala kye tuyigira ku Kaana? (b) Okufumiitiriza ku Byawandiikibwa kiyinza kitya okutuyamba okulongoosa mu ssaala zaffe? (Laba obugambo obuli wansi.)

14 Oluvannyuma lw’emyaka Kaana bwe yazaala mutabani we Samwiri, yamutwala eri Kabona Asinga Obukulu, Eli. (1 Sam. 1:​24-28) Mu ssaala gye yasaba ng’eviira ddala ku mutima, Kaana yakiraga nti yali mukakafu nti Yakuwa akuuma abaweereza be abeesigwa era abafaako.c (1 Sam. 2:​1, 8, 9) Ebizibu bye yali alina awaka biyinza okuba nga byali bikyaliwo, naye ebirowoozo yabissa ku mikisa Yakuwa gye yali amuwadde. Kiki kye tumuyigirako? Naffe tujja kusobola okugumira ebizibu bye tuba twolekagana nabyo singa ebirowoozo byaffe tubissa ku ngeri Yakuwa gy’atuyambamu.

15. Bwe wabaawo obutali bwenkanya, kiki kye tusobola okuyigira ku ssaala Yeremiya gye yasaba? (Yeremiya 12:1)

15 Soma Yeremiya 12:1. Waliwo ekiseera Yeremiya lwe yaggwaamu amaanyi bwe yalaba abantu ababi nga balabika ng’abali obulungi. Ate era yaggwaamu amaanyi kubanga Bayisirayiri banne baamuvumanga. (Yer. 20:​7, 8) Okufaananako Yeremiya, naffe bwe tulaba abantu ababi nga balabika ng’abali obulungi oba nga waliwo abatuvuma, tuyinza okuggwaamu amaanyi. Wadde nga Yeremiya yabuulira Yakuwa engeri gye yali awuliramu, teyabuusabuusa nti Yakuwa mwenkanya. Ate era Yeremiya yeeyongera okukiraba nti Yakuwa mwenkanya bwe yalaba engeri Yakuwa gye yanenyaamu abantu be. (Yer. 32:19) Naffe tusobola okutegeeza Yakuwa ku bintu ebitali bya bwenkanya bye tulaba nga tuli bakakafu nti ajja kumalawo obutali bwenkanya bwonna mu kiseera kye ekituufu.

16. Kiki kye tusobola okuyigira ku ssaala y’Omuleevi? (Zabbuli 42:​1-4) (Laba n’ebifaananyi.)

16 Soma Zabbuli 42:​1-4. Zabbuli eyo yawandiikibwa Omuleevi eyali atwaliddwa mu buwaŋŋanguse era nga yali tasobola kukuŋŋaana wamu ne bakkiriza banne. Zabbuli eyo eraga engeri gye yali yeewuliramu. Oboolyawo naffe tuwulira ng’omuwandiisi wa zabbuli oyo bwe tuba nga tetusobola kuva waka olw’obulwadde, oba nga tusibiddwa olw’okukkiriza kwaffe. Bwe twesanga mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi okubuulira Yakuwa engeri yennyini gye tuba twewuliramu. Ekyo kiyinza okutuyamba okutereeza endowooza yaffe, embeera gye tulimu ne tuba nga tugiraba mu ngeri entuufu. Ng’ekyokulabirako, Omuleevi oyo yali akimanyi nti yandizzeemu okutendereza Yakuwa. (Zab. 42:5) Ate era yalowooza ku ngeri Yakuwa gye yali amuyambamu. (Zab. 42:8) Bwe tusaba Yakuwa okuviira ddala ku mutima, kituyamba okutegeera obulungi engeri gye tuba tuwuliramu, okukkakkana, era n’okufuna amaanyi ge tuba twetaaga okusobola okugumiikiriza.

Ebifaananyi: 1. Omuleevi ali mu ddungu era asaba. 2. Ow’oluganda ali ku kitanda mu ddwaliro era asaba Yakuwa nga Bayibuli ye mbikkule.

Omuleevi eyawandiika Zabbuli 42 yabuulira Yakuwa ekyo ekyamuli ku mutima. Bwe tutegeeza Yakuwa engeri gye twewuliramu, tufuna obuweerero (Laba akatundu 16)


17. (a) Kiki kye tuyigira ku ssaala nnabbi Yona kye yasaba? (Yona 2:​1, 2) (b) Ennyiriri eziri mu kitabo kya Zabbuli ziyinza zitya okutuyamba bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu? (Laba obugambo obuli wansi.)

17 Soma Yona 2:​1, 2. Essaala eno nnabbi Yona yagisaba bwe yali mu lubuto lw’eky’ennyanja. Wadde nga Yona yali ajeemedde Yakuwa, yali mukakafu nti Yakuwa ajja kuwulira essaala ye. Bwe yali yeegayirira Yakuwa, Yona yakozesa ebigambo bingi ebiri mu ssaala ezisangibwa mu kitabo kya Zabbuli.d Kirabika Yona yali amanyi bulungi zabbuli ezo. N’olwekyo bwe yazifumiitirizaako, kyamuleetera okuba omukakafu nti Yakuwa yandimuyambye. Mu ngeri y’emu, naffe bwe tubaako ennyiriri za Bayibuli ze tukwata mu mutwe tusobola okuzijjukira ne zituyamba, era ne zitubudaabuda bwe tuba nga tusabye Yakuwa nga tuli mu biseera ebizibu.

NYWEZA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA OKUYITIRA MU KUSABA

18-19. Bwe kiba nti oluusi tuzibuwalirwa okutegeeza Yakuwa engeri gye tuba twewuliramu, ebigambo ebiri mu Abaruumi 8:​26, 27 bituzzaamu bitya amaanyi? Waayo ekyokulabirako.

18 Soma Abaruumi 8:​26, 27. Ebiseera ebimu tuyinza okweraliikirira ennyo ne kiba nti tetusobola kutegeeza Yakuwa ngeri gye twewuliramu. Naye Yakuwa atuyamba. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo, omwoyo gwa Yakuwa “gwegayirira” ku lwaffe. Gutya? Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okuwandiika essaala nnyingi mu Kigambo kye. Bwe tuba nga tetusobola kutegeeza Yakuwa ngeri gye twewuliramu, ebigambo ebiri mu ssaala ezo Yakuwa asobola okubitwala ng’ebyaffe era essaala ezo n’aziddamu.

19 Ekyo kyazzaamu nnyo amaanyi mwannyinaffe ayitibwa Yelena ali mu Russia. Yasibibwa mu kkomera ng’avuunaanibwa ogw’okusaba n’ogw’okusoma Bayibuli. Mwannyinaffe oyo yeeraliikirira nnyo n’aba ng’azibuwalirwa n’okusaba. Agamba nti: “Nnajjukira nti bwe mba nga nneeraliikiridde nnyo era nga simanyi ngeri ya kusabamu Yakuwa, Yakuwa ajja kutwala essaala z’abaweereza be abaaliwo mu biseera eby’edda ng’ezange. . . . Ekyo kyambudaabuda nnyo mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo.”

20. Bwe tuba n’ebitweraliikiriza, tuyinza tutya okweteekateeka nga tugenda okusaba?

20 Bwe tuba n’ebitweraliikiriza kiyinza okutuzibuwalira okussaayo omwoyo nga tusaba. Okusobola okuteekateeka ebirowoozo byaffe, tusobola okussaako amaloboozi g’ekitabo kya Zabbuli ne tuwuliriza nga kisomebwa. Ate era tusobola okuwandiika ebyo ebituli ku mutima nga Kabaka Dawudi bwe yakola. (Zab. 18, 34, 142; obugambo obuli waggulu.) Kya lwatu tewali tteeka ku ngeri gye tusaanidde kweteekateekamu nga tugenda okusaba. (Zab. 141:2) Kola ekyo ekisinga okukwanguyira.

21. Lwaki tusobola okubuulira Yakuwa byonna ebituli ku mutima?

21 Kitusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa amanyi engeri gye twewuliramu ne bwe tuba nga tetunnamugamba kintu kyonna. (Zab. 139:4) Kyokka kimusanyusa bwe tumubuulira engeri gye twewuliramu era ne tukiraga nti tumwesiga. N’olwekyo totya kusaba Kitaawo ow’omu ggulu. Baako by’oyigira ku ssaala eziri mu Kigambo kya Katonda. Mubuulire byonna ebikuli ku mutima nga mwe muli ebikusanyusizza n’ebikweraliikiriza. Olw’okuba Yakuwa mukwano gwo owa nnamaddala, bulijjo ajja kukuyamba!

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kiki ekisobola okukuyamba okubuulira Yakuwa ekyo kyennyini ekikuli ku mutima?

  • Biki by’osobola okukola okweyongera okulongoosa mu ssaala zo?

  • Onaaganyulwa otya bw’onoofumiitiriza ku ssaala eziri mu Bayibuli?

OLUYIMBA 45 Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange

a Soma ku “Ezimu ku ngeri za Yakuwa” eziri mu kitabo Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu wansi w’omutwe “Yakuwa.”

b Essaala ze tusaba nga tukiikiridde ekibiina tezirina kuba mpanvu.

c Kaana bwe yali asaba, yakozesa ebigambo ebifaananako ebyo Musa bye yali yawandiika. Ateekwa okuba nga yali afumiitiriza ku Byawandiikibwa. (Ma. 4:35; 8:18; 32:​4, 39; 1 Sam. 2:​2, 6, 7) Nga wayiseewo emyaka mingi, Maliyamu maama wa Yesu, bwe yali atendereza Yakuwa yakozesa ebigambo ebifaananako ebyo Kaana bye yakozesa.—Luk. 1:​46-55.

d Ng’ekyokulabirako, geraageranya Yona 2:​3-9 ne Zabbuli 69:1; 16:10; 30:3; 142:​2, 3; 143:​4, 5; 18:6; ne 3:​8, ennyiriri za Bayibuli ezo zisengekeddwa nga Yona bwe yayogera ebigambo ebizirimu ng’asaba.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share