LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 155
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Kugaba?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eyogera Ki ku Kugaba?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Ddi okugaba lwe kusanyusa Katonda?
  • Ddi okugaba lwe kutasanyusa Katonda?
  • “Katonda Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Funa Essanyu Eriva mu Kugaba
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Abantu Abagabi Baba Basanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okunoonya Ekirabo Ekisinga Obulungi
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 155
Omusajja akutte ekirabo

Bayibuli Eyogera Ki ku Kugaba?

Bayibuli ky’egamba

Bayibuli etukubiriza okugaba nga tetukakiddwa, era nga tulina ekigendererwa ekirungi. Eraga nti okugaba ng’okwo tekukoma ku kuganyula oyo yekka gwe bagabidde, wabula n’oyo agabye. (Engero 11:25; Lukka 6:38) Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.

  • Ddi okugaba lwe kusanyusa Katonda?

  • Ddi okugaba lwe kutasanyusa Katonda?

  • Ebyawandiikibwa ebyogera ku kugaba

Ddi okugaba lwe kusanyusa Katonda?

Okugaba kusanyusa Katonda singa omuntu akikola nga yeeyagalidde. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”—2 Abakkolinso 9:7.

Bwe tuba twagala okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima, tusaanidde okugaba nga tulina ekigendererwa ekirungi. (Yakobo 1:27) Omuntu agabira abali mu bwetaavu aba akolera wamu ne Katonda, era abeera ng’awoze Katonda. (Engero 19:17) Bayibuli eraga nti Katonda ajja kumusasula.—Lukka 14:12-14.

Ddi okugaba lwe kutasanyusa Katonda?

Omuntu bw’agaba ng’alina ekigendererwa ekikyamu. Ng’ekyokulabirako:

  • Ng’ayagala okweraga.—Matayo 6:2.

  • Nga naye ayagala bamugabire.—Lukka 14:12-14.

  • Ng’ayagala okugula obulokozi.—Zabbuli 49:6, 7.

Singa omuntu by’agaba bikozesebwa mu bintu ebitasanyusa Katonda. Ng’ekyokulabirako, kiba kikyamu okuwa omuntu ssente ez’okukuba zzaala oba okukozesa ebiragalalagala n’okunywa omwenge n’atamiira. (1 Abakkolinso 6:9, 10; 2 Abakkolinso 7:1) Ate era kiba kikyamu okugabira omuntu asobola okukola ne yeerabirira, kyokka nga tayagala bwagazi kukola.—2 Abassessalonika 3:10.

Omuntu bw’agabira ennyo abalala, n’alemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Bayibuli eyigiriza nti emitwe gy’amaka balina okulabirira ab’omu maka gaabwe. (1 Timoseewo 5:8) Tekiba kirungi omutwe gw’amaka okugabira ennyo abalala, n’alemwa okulabira ab’omu maka ge. Yesu yanenya abo abaagaana okulabirira bazadde baabwe nga beekwasa nti byonna bye baalina baali ‘babiwaddeyo eri Katonda.’—Makko 7:9-13.

Ebyawandiikibwa ebyogera ku kugaba

Engero 11:25: “Omugabi ajja kugaggawala, na buli azzaamu abalala amaanyi ajja kuzzibwamu amaanyi.”

Kye kitegeeza: Okugaba tekuganyula gwe bagabidde yekka, wabula n’oyo agabye.

Engero 19:17: “Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa, era ajja kumusasula olw’ekyo ky’akola.”

Kye kitegeeza: Katonda akitwala nti abo abayamba abali mu bwetaavu baba bamuwoze, era asuubiza okubasasula.

Matayo 6:2: “Bw’obangako by’owa abaavu, teweefuuyira kkondeere nga bannanfuusi bwe bakola . . . abantu basobole okubawa ekitiibwa.”

Kye kitegeeza: Tetusaanidde kugaba nga twagala abalala batulabe.

Ebikolwa 20:35: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”

Kye kitegeeza: Omuntu agaba n’omutima gwe gonna afuna essanyu.

2 Abakkolinso 9:7: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”

Kye kitegeeza: Omuntu agaba nga yeeyagalidde asanyusa Katonda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share