Footnote
a ‘Ekiseera eky’okuzza obuggya ebintu byonna’ kyatandika Obwakabaka bwa Masiya bwe bwateekebwawo era muzzukulu wa Kabaka Dawudi n’atuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka. Yakuwa yali yasuubiza Dawudi nti muzzukulu we ajja kufuga emirembe gyonna. (Zabbuli 89:35-37) Naye oluvannyuma lwa Babulooni okuzikiriza Yerusaalemi mu 607 E.E.T., tewaaliwo muzzukulu wa Dawudi eyaddamu okutuula ku ntebe y’obwakabaka. Yesu, eyazaalibwa ku nsi mu lunyiriri lwa Dawudi, ye yafuuka Kabaka oyo eyasuubizibwa, bwe yatuuzibwa ku ntebe mu ggulu.