Footnote
d Okuzikirizibwa kwa Babulooni kyakulabirako kimu kyokka eky’obunnabbi bwa Baibuli obwatuukirizibwa. Okuzikirizibwa kwa Ttuulo ne Nineeve bye bimu ku byokulabirako ebirala. (Ezeekyeri 26:1-5; Zeffaniya 2:13-15) N’obunnabbi bwa Danyeri bwalagula ku bufuzi kirimaanyi obwandizze buddiriŋŋana oluvannyuma lw’okugwa kwa Babulooni. Obumu ku bwo ye Bumeedi ne Buperusi era ne Buyonaani. (Danyeri 8:5-7, 20-22) Laba ebiri ku mpapula 199-201 otegeere ebikwata ku bunnabbi bwa Masiya obwatuukirizibwa mu Yesu Kristo.