Footnote
d Amateeka gaali geetaaza omukyala, oluvannyuma lw’okuzaala, aweeyo ssaddaaka olw’ekibi eri Katonda. (Eby’Abaleevi 12:1-8) Ekyo kyajjukizanga Abayisirayiri nti abaana ababa bazaaliddwa baasikiranga ekibi okuva ku bazadde baabwe era kyabayamba obutagulumiza mazaalibwa. Era kiyinza okuba nga kye kyabaleetera obutagoberera bulombolombo obw’ekikaafiiri obw’okukuza amazaalibwa.—Zabbuli 51:5.