Footnote
a Mu bbaluwa eyaweerezebwa ekkolero ly’essente mu Amerika, nga Noovemba 20, 1861, Salmon P. Chase, Omuwandiisi w’Omuwanika yagamba: “Tewali ggwanga lisobola kuba lya maanyi nga teryesiga Katonda, oba okuba n’obukuumi nga Katonda talikuumye. Obwesige abantu baffe bwe balina mu Katonda bulina okulagibwa ku ssente ez’ekyuma.” Ekyavaamu, ebigambo “Mu Katonda mwe Tutadde Obwesige Bwaffe,” byasooka okufulumira ku ssente z’Amerika ez’ekyuma mu 1864.