Footnote
b Abayisirayiri bwe baali bagenda okulwanyisa Abakanani, tebaasooka kulangirira mirembe gye bali. Lwaki? Kubanga Abakanani baali baaweebwa emyaka 400 okuleka ebikolwa byabwe ebibi. Kyokka, ekiseera Abayisirayiri we baatandikira okubalwanyisa, Abakanani baali beeyongedde bweyongezi okuba ababi. (Olubereberye 15:13-16) N’olw’ensonga eyo, Abakanani baali baakusaanyizibwawo. Kyokka, Abakanani abaaleka ebikolwa byabwe ebibi tebaazikirizibwa.—Yoswa 6:25; 9:3-27.