Footnote
a Tacitus, eyazaalibwa awo nga mu mwaka gwa 55 E.E., yawandiika nti “Kristo, erinnya Abakristaayo mwe lyasibuka, yabonyaabonyezebwa nnyo mu kiseera ky’obufuzi bwa Tiberiyo nga Pontiyo Piraato ye gavana.” Ate era waliwo bannabyafaayo abalala abaayogera ku Yesu, gamba nga Suetonius (ow’omu kyasa ekyasooka); munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus (ow’omu kyasa ekyasooka); ne Pliny the Younger, gavana w’e Bisuniya (ku ntandikwa y’ekyasa eky’okubiri).