Footnote
a Ekigambo “ab’oluganda” kisobola n’okuzingiramu abakazi mu kibiina. Pawulo yawandiikira “ab’oluganda” mu Rooma ebbaluwa. Mu b’oluganda abo mwali muzingiramu ne bannyinaffe era bangi ku bo yabamenya amannya. (Bar. 16:3, 6, 12) Okumala emyaka mingi magazini eno ezze ekozesa ebigambo ab’oluganda ne bannyinaffe, ng’eyogera ku Bakristaayo.