Footnote
b Tekiba kikyamu kusuubira nti abamu ku abo abanaawonawo ku Amagedoni bajja kubaako obulemu. Yesu bwe yali ku nsi yawonya abantu “endwadde eza buli kika,” bwe kityo n’alaga ekyo ky’ajja okukolera abo abanaawonawo ku Amagedoni, so si abo abanaazuukizibwa. (Mat. 9:35) Abantu abanaazuukizibwa, bajja kuzuukizibwa nga balamu bulungi.