Footnote
a Yakuwa Kitaffe alina okwagala, wa magezi, era mugumiikiriza. Engeri ezo tuzirabira mu bintu byonna bye yatonda ne mu kigendererwa kye eky’okuzuukiza abantu baddemu okuba abalamu. Ekitundu kino kigenda kuddamu ebimu ku bibuuzo bye tuyinza okwebuuza ku kuzuukira era kigenda kulaga ekyo okuzuukira kye kutuyigiriza ku kwagala kwa Yakuwa, amagezi ge, n’obugumiikiriza bwe, n’engeri ekyo gye kisaanidde okutukwatako.