Footnote
a Ebiseera ebimu owulira ekiwuubaalo? Bwe kiba kityo beera mukakafu nti Yakuwa ekyo akiraba era mwetegefu okukuwa obuyambi bwe weetaaga. Mu kitundu kino tugenda kulaba by’osobola okukola okusobola okwaŋŋanga ekizibu ekyo. Ate era tugenda kulaba engeri gy’oyinza okuzzaamu amaanyi bakkiriza banno abalina ekiwuubaalo.