Footnote
a Sitaani alinga omuyizzi omukugu. Agezaako okutukwasa, ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Sitaani gy’agezaako okukozesa amalala n’omululu okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda. Ate era tugenda kulabayo abantu abamu abaagwa mu mutego gw’amalala n’omululu era tulabe engeri gye tuyinza okwewalamu emitego egyo.