Footnote
a Abantu bukadde na bukadde, omuli abasajja, abakazi, n’abaana, babuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi. Oli omu ku bo? Bwe kiba kityo, okolera wansi w’obukulembeze bwa Mukama waffe Yesu Kristo. Mu kitundu kino tugenda kulaba obukakafu obulaga nti Yesu alabirira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa leero. Okufumiitiriza ku nsonga eyo kijja kutuyamba okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa nga tukolera wansi w’obukulembeze bwa Kristo.