Footnote
b Oluusi abakadde mu kibiina baba balina okusalawo ku nsonga ezikwata ku kukola ekibi eky’amaanyi n’okwenenya. (1 Kol. 5:11; 6:5; Yak. 5:14, 15) Kyokka bwe baba basalawo ku nsonga ng’ezo, bafuba okuba abeetoowaze nga bakijjukira nti tebasobola kumanya biri mu mutima gw’omuntu era nti balamula ku lwa Yakuwa. (Geraageranya 2 Ebyomumirembe 19:6.) Bakoppa Yakuwa nga bafuba okwoleka obusaasizi, okuba abenkanya, n’obutaba bakakanyavu.