Footnote
b Kiyinzika okuba nti abafu bajja kuzuukira mulembe ku mulembe, era nga kirabika omulembe gw’abo abaafa nga beesigwa mu nnaku ez’enkomerero be bajja okusooka okuzuukira, oluvannyuma emirembe egy’emabega gigende nga giddako. Ekyo bwe kiba nti bwe kijja okuba, abantu aba buli mulembe bajja kuba n’akakisa okwaniriza abantu abanaazuukizibwa be bamanyi. Okuzuukira ka kube nga kunaabaawo kutya, Ebyawandiikibwa bwe biba byogera ku kuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu, biraga nti kuli mu ngeri entegeke obulungi. Awatali kubuusabuusa n’okw’oku nsi kujja kubaawo mu ngeri entegeke obulungi.—1 Kol. 14:33; 15:23.