Footnote
c Kaana bwe yali asaba, yakozesa ebigambo ebifaananako ebyo Musa bye yali yawandiika. Ateekwa okuba nga yali afumiitiriza ku Byawandiikibwa. (Ma. 4:35; 8:18; 32:4, 39; 1 Sam. 2:2, 6, 7) Nga wayiseewo emyaka mingi, Maliyamu maama wa Yesu, bwe yali atendereza Yakuwa yakozesa ebigambo ebifaananako ebyo Kaana bye yakozesa.—Luk. 1:46-55.