Yobu
24 “Lwaki Omuyinza w’Ebintu Byonna tassaawo kiseera kya kusaliramu musango?+
Lwaki abo abamumanyi tebalaba lunaku lwe olw’okusalirako omusango?
2 Abantu bajjulula obubonero obulamba ensalosalo;+
Banyaga endiga ne bazitwala mu malundiro gaabwe.
3 Batwala endogoyi z’abaana abatalina bakitaabwe,
Era batwala ente ya nnamwandu ng’omusingo.+
4 Bagoba abaavu mu nguudo;
Abateesobola abali mu nsi babeekweka.+
5 Abaavu banoonya emmere ng’endogoyi ez’omu nsiko+ bwe ziginoonya mu ddungu;
Mu ddungu gye banoonya emmere ey’okuliisa abaana baabwe.
6 Bakungula mu nnimiro z’abalala
Era balonderera ebiba bisigalidde mu nnimiro z’emizabbibu ez’ababi.
7 Basula bwereere, nga tebalina kye bambadde;+
Tebalina kya kwebikka mu budde obw’empewo.
8 Enkuba ey’omu nsozi ebakuba;
Beekwata ku njazi olw’okubulwa aw’okweggama.
9 Omwana atalina kitaawe akwakkulwa ku mabeere ga nnyina;+
Era ebyambalo by’abaavu bitwalibwa ng’omusingo,+
10 Ne bawalirizibwa okutambula obukunya, nga tebalina kye bambadde,
N’okulumwa enjala nga beetisse ebinywa by’emmere ey’empeke.
11 Bakuluusana mu musana omungi nga bali wakati w’ebisenge by’amayinja;
Basogola ezzabbibu mu masogolero, kyokka ne balumwa ennyonta.+
12 Abafa basindira mu kibuga;
N’abatuusiddwako ebisago eby’amaanyi bawanjaga,+
Naye Katonda takifaako.*
15 Amaaso g’omusajja omwenzi galinda obudde ne buwungeera,+
N’agamba nti, ‘Tewali n’omu ajja kundaba!’+
Ne yeebikka mu maaso.
16 Ekiro bamenya ennyumba ne bayingira;
Emisana beggalira mu nnyumba.
Beewala ekitangaala.+
17 Gye bali, obudde obw’oku makya bulinga ekizikiza ekikutte;
Bamanyidde ebintu eby’entiisa eby’omu kizikiza ekikutte.
18 Naye batwalibwa amazzi.
Ekibanja kyabwe kijja kukolimirwa.+
Tebaliddayo mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 Ng’ekyeya n’ebbugumu bwe bimalawo omuzira ogusaanuuse,
20 Nnyina ajja kumwerabira, n’envunyu zijja kumulya.
Tajja kujjukirwa nate.+
Era obutali butuukirivu bujja kumenyebwa ng’omuti.
21 Ayisa bubi omukazi omugumba,
Era abonyaabonya nnamwandu.
22 Katonda ajja kukozesa amaanyi ge okuggyawo ab’amaanyi;
Ne bwe baba mu bifo ebya waggulu tebaba na ssuubi ku bulamu.
23 Katonda abaleka ne baba bagumu era ne bawulira nga balina obukuumi,+
24 Bagulumizibwa okumala akaseera katono, oluvannyuma ne basaanawo.+
Bafeebezebwa+ era ne bafa ng’abantu abalala bonna;
Basalibwa ng’ebirimba by’eŋŋaano ebisalibwa ku kikolo.
25 Kale ani ayinza okuleeta obukakafu obulaga nti ndi mulimba,
Oba okuwakanya ebigambo byange?”