LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Embaga ez’Ekitiibwa mu Maaso ga Katonda n’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi—2006 | Noovemba 1
    • Embaga ez’Ekitiibwa mu Maaso ga Katonda n’Abantu

      ‘Ne waba ekijjulo ky’embaga ey’obugole mu Kaana, Yesu ne bamuyita n’abayigirizwa be ku kijjulo ky’embaga.’​—YOKAANA 2:1, 2.

      1. Ekyo Yesu kye yakola ng’ali ku mbaga e Kaana kituyamba kutegeera ki?

      YESU, maama we, n’abamu ku bayigirizwa be baali bamanyi essanyu abantu ba Katonda lye bayinza okufuna nga bagenze ku mbaga ez’ekitiibwa. Kristo bwe yakola eky’amagero kye ekyasookera ddala ku mbaga emu, kyaleetera omukolo ogwo okuba ogw’essanyu. (Yokaana 2:1-11) Oyinza okuba wali obaddeko ku mbaga ey’Abakristaayo oba oyinza okuba ng’osuubira okukola embaga gwe kennyini oba okuyambako mukwano gwo okukola embaga ye. Kiki ekiyinza okukolebwa okusobozesa embaga okuba ey’ekitiibwa?

      2. Kiki kye tusanga mu Baibuli ku bikwata ku mbaga?

      2 Abakristaayo bakisanze nti okubuulirira okusangibwa mu Kigambo kya Katonda kuyamba nnyo abo abateekateeka okufumbiriganwa. (2 Timoseewo 3:16, 17) Baibuli tewa kalonda yenna akwata ku ngeri Abakristaayo gye basaanidde okutegekamu embaga. Ekyo kitegeerekeka kubanga empisa n’amateeka byawukana okusinziira ku kifo ky’obeeramu n’ekiseera. Ng’ekyokulabirako, mu Isiraeri ey’edda tewaabangawo mukolo gwa mbaga. Ku lunaku olw’okufumbiriganwako, omugole omusajja yaleetanga omugole omukazi mu maka ge oba mu maka ga taata we. (Olubereberye 24:67; Isaaya 61:10; Matayo 1:24) Ekikolwa kino eky’omu lujjudde, ye yalinga embaga. Tewaabangawo mikolo ng’egyo egitera okuba ku mbaga ez’ennaku zino.

      3. Mukolo ki ogwali e Kaana Yesu gwe yaliko era n’abaako ky’akolawo?

      3 Ekikolwa ekyo Abaisiraeri kye baatwala ng’okufumbiriganwa. Oluvannyuma, baali bayinza okutegekawo ekijjulo ng’ekyo ekyogerwako mu Yokaana 2:1. Enkyusa za Baibuli nnyingi olunyiriri olwo ziruvvuunula bwe luti: ‘Ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana.’ Naye enzivuunula entuufu ey’ekigambo eky’Oluyonaani ekyasooka eri “ekijjulo eky’embaga.”a (Matayo 22:2-10; 25:10; Lukka 14:8) Ebyawandiikibwa bikiraga bulungi nti Yesu yaliwo era alina kye yakolawo ekyaleetera abantu essanyu ku kijjulo ekyaliwo ku mbaga eyo ey’Ekiyudaaya. Kyokka, ekintu ekikulu kye tuyinza okwetegereza kiri nti, engeri embaga gye zaakolebwangamu mu kiseera ekyo eyawukana ku ngeri embaga gye zikolebwamu mu kiseera kino.

      4. Mbaga ya ngeri ki Abakristaayo abamu gye basalawo okukola era lwaki?

      4 Mu nsi nnyingi leero, Abakristaayo abaagala okufumbiriganwa bateekwa okutuukiriza ebintu ebimu ebibeetaagisibwa mu mateeka. Bwe bamala okubituukiriza bayinza okufumbiriganwa mu ngeri yonna ekkirizibwa mu mateeka. Kino bayinza okikola ku mukolo omutono ogukubirizibwa omulamuzi, meeya, oba munnaddiini gavumenti gw’ewadde olukusa. Abamu basalawo okufumbirwa mu ngeri eyo, nga bayita ab’eŋŋanda oba Abakristaayo batonotono okubaawo ng’abajulizi oba okusanyukirako wamu nabo ku mukolo ogwo omukulu ennyo. (Yeremiya 33:11; Yokaana 3:29) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abalala bayinza okusalawo okutegeka ekijjulo ekitonotono ekiteetaagisa ssente nnyingi oba okuteekateeka okw’amaanyi era ne bayita ab’emikwano abatonotono. Ka tube nga tusazeewo ki ku nsonga eno, tulina okukimanya nti Abakristaayo abalala abakuze mu by’omwoyo bayinza okuba n’endowooza eyawukana ku yaffe.​—Abaruumi 14:3, 4.

      5. Lwaki Abakristaayo bangi baagala okufuna emboozi ekwata ku bufumbo nga bafumbiriganwa era yeesigamiziddwa ku ki?

      5 Abakristaayo bangi abagenda okufumbiriganwa basalawo okuba n’emboozi eyeesigamiziddwa ku Baibuli.b Bakimanyi nti Yakuwa ye yatandikawo obufumbo era mu Kigambo kye awa amagezi agayinza okusobozesa obufumbo okubeera obulungi era obw’essanyu. (Olubereberye 2:22-24; Makko 10:6-9; Abaefeso 5:22-33) Era abo ababa bagenda okufumbiriganwa baagala Bakristaayo bannaabwe n’abeŋŋanda okubeerawo ku mukolo gwabwe ogw’essanyu. Kyokka, twanditunuulidde tutya ebintu eby’enjawulo ebyetaagisibwa mu mateeka, emitendera egirina okugobererwa ku bikwata ku mbaga n’empisa ey’omu kitundu? Ekitundu kino kigenda kwogera ku mbeera eziri mu bitundu ebitali bimu. Ezimu ziyinza okwawukanira ddala ku ezo z’omanyi oba ezo eziri mu kitundu kyo. Wadde kiri kityo, oyinza okulabamu emisingi oba ensonga ebiyinza okuyamba abaweereza ba Katonda.

      Obufumbo obw’Ekitiibwa​—Butuukiriza Ebyo Ebyetaagibwa mu Mateeka

      6, 7. Lwaki twandigoberedde amateeka agakwata ku kufumbiriganwa, era ekyo tuyinza kukikola tutya?

      6 Wadde nga Yakuwa ye yatandikawo obufumbo, gavumenti z’abantu zissaawo amateeka agalina okugobererwa abo abaagala okufumbiriganwa. Kino kituukirawo. Yesu yagamba: “Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mumuwenga Katonda.” (Makko 12:17) Era omutume Pawulo yagamba nti: “Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n’abakulu abaliwo baalagirwa Katonda.”​—Abaruumi 13:1; Tito 3:1.

      7 Mu nsi nnyingi, Kayisaali oba ab’obuyinza bassaawo amateeka ku ani agwanidde okuyingira obufumbo. N’olw’ekyo, Abakristaayo ababiri abatalina kintu kyonna kibagaana kufumbiriganwa okusinziira ku Byawandiikibwa bwe basalawo okufumbiriganwa, balina okugoberera amateeka g’omu kitundu. Kino kiyinza okuzingiramu okufuna ebbaluwa y’obufumbo, okukozesa omuntu Gavumenti gw’ewadde olukusa okugatta abantu oboolyawo n’okuwandiisa obufumbo bwabwe. Kayisaali Agusito, bwe yeetaaza abantu bonna ‘okwewandiisa,’ Malyamu ne Yusufu bagenda e Besirekemu ‘okwewandiisa.’​—Lukka 2:1-5.

      8. Ddi Abakristaayo bwe babalibwa nti bafumbo, era kiki ekiraga nti Abajulirwa ba Yakuwa bategeera ensonga eyo?

      8 Abakristaayo ababiri bwe bafumbiriganwa mu ngeri etuukagana n’amateeka era ekkirizibwa, baba mwami na mukyala mu maaso ga Katonda. N’olw’ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa tebaddamu kugattibwa mu ngeri endala ezikkirizibwa mu mateeka era tebaddamu kukola birayiro by’obufumbo nga bajaguza okuweza emyaka 25 oba 50 mu bufumbo. (Matayo 5:37) (Amakanisa agamu tegakkiriza okugattibwa okuba kukoleddwa ab’obuyinza, nga bagamba nti tekuba kutuufu kubanga omukulembeze w’eddiini si y’aba abagasse.) Mu nsi nnyingi, gavumenti ewa abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa olukusa okugatta abagenda okufumbiriganwa. Bwe kiba bwe kityo, ayinza okubagatta era n’emboozi ekwata ku bufumbo n’eweebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Ekyo kye kifo eky’okusinzizaamu era kye kisaanira okuweerwamu emboozi ekwata ku nteekateeka eyo Yakuwa Katonda gye yatandikawo.

      9. (a)  Abakristaayo bayinza kusalawo ki singa baba bagenda kugattibwa mukungu wa gavumenti? (b) Abakadde bakwatibwako batya enteekateeka y’embaga?

      9 Mu nsi ezimu, amateeka geetaagisa abagenda okufumbiriganwa okugattirwa mu ofiisi ya gavumenti, oba omuntu gavumenti gwe yatongoza okubagattira mu kifo ekirala. Oluvannyuma lw’okugattibwa mu ngeri eyo Abakristaayo bayinza okukola enteekateeka ne baba n’emboozi ekwata ku bufumbo mu Kizimbe ky’Obwakabaka ku lunaku olwo lwennyini oba oluddako. (Tebandikoze nteekateeka ya kufuna mboozi eyeesigamiziddwa ku Baibuli nga wayiseewo ekiseera kiwanvu oluvannyuma lw’okugattibwa mu mateeka kubanga baba bafumbo mu maaso ga Katonda n’abantu, nga mw’otwalidde n’ekibiina Ekikristaayo.) Singa abafumbo abagattibwa abakungu ba gavumenti baagala okufuna emboozi ekwata ku bufumbo mu Kizimbe ky’Obwakabaka, balina okutegeeza abakadde b’ekibiina abali ku Kakiiko k’Obuweereza nga bukyali. Ng’oggyeko okukakasa nti abo abagenda okugattibwa bataddewo ekyokulabirako ekirungi, abakadde balina okukakasa nti embaga tejja kutaataaganya kiseera kya nkuŋŋaana n’enteekateeka endala eziyinza okubaawo ku Kizimbe ky’Obwakabaka. (1 Abakkolinso 14:33, 40) Ate era, bajja kwagala okumanya enteekateeka abo abaagala okufumbiriganwa ze banaakola ku Kizimbe ky’Obwakabaka era basalewo obanga kyetaagisa okuyisa ekirango ekikwata ku kukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka.

      10. Bwe kiba nti abafumbo bagattiddwa mukungu wa gavumenti, ekyo kyandikutte kitya ku binaayogerwa mu mboozi y’obufumbo?

      10 Omukadde anaawa emboozi ekwata ku bufumbo ajja kufuba okugiwa n’ebbugumu, mu ngeri ey’ekitiibwa era ng’ezimba mu by’omwoyo. Singa abafumbo baba bamaze kugattibwa omukungu wa gavumenti, omukadde awa emboozi alina okutegeeza abamuwuliriza nti baamaze dda okugattibwa ng’amateeka ga Kayisaali bwe galagira. Singa ebirayiro by’obufumbo baba tebannabikola, abafumbo bayinza okubikola ku lunaku emboozi lw’eweebwa.c Bwe baba nga baamaze dda okukola ebirayiro eri omukungu wa gavumenti, naye nga baagala okubikola mu maaso ga Yakuwa n’ekibiina, bandibyogedde mu ngeri eraga nti baamaze dda ‘okugattibwa.’​—Matayo 19:6; 22:21.

      11. Mu nsi ezimu, abantu bafumbiriganwa batya era ekyo kikola ki ku mboozi ekwata ku bufumbo?

      11 Mu nsi ezimu, amateeka gayinza okuba nga tegeetagisa abo abagenda okufumbiriganwa okukola mukolo gwonna ka kibe mu maaso g’omukungu wa gavumenti. Bwe bawaayo foomu ewandiisa obufumbo eri omukungu wa gavumenti nga bagitaddeko emikono, olwo baba bafumbiriganiddwa. Oluvannyuma lw’ekyo babawa ebbaluwa y’obufumbo. Bwe kityo abantu bano batwalibwa ng’omwami n’omukyala era olunaku olwo lwe baweebwa ebbaluwa lwe lutwalibwa ng’olunaku lwe baba bafumbiriganiddwa. Nga bwe kyayogeddwako waggulu, abo ababa bafumbiriganiddwa bayinza okwagala emboozi eyeesigamiziddwa ku Baibuli eweebwe ku Kizimbe ky’Obwakabaka amangu ddala nga baakafuna ebbaluwa y’obufumbo. Ow’oluganda akuze mu by’omwoyo alondebwa okuwa emboozi eyo, ajja kutegeeza abo abaliwo nti abantu abo bafumbo olw’okuba baamaze dda okuwandiisa obufumbo bwabwe. Ebirayiro byonna bye bakola birina okutuukagana n’ebyo byonna ebyogeddwako mu katundu 10 ne mu bugambo obwa wansi. Abo abazze okuwuliriza emboozi ku Kizimbe ky’Obwakabaka bajja kusanyukira wamu n’abafumbo era baganyulwe mu kubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda.​—Oluyimba 3:11.

      Obufumbo bw’Ekinnansi n’Obwa Gavumenti

      12. Obufumbo bw’ekinnansi bwe buluwa, era kiki ekisaanidde okukolebwa oluvannyuma lw’obufumbo obwo?

      12 Mu nsi ezimu, abantu bayinza okufumbiriganwa mu ngeri ey’ekinnansi. Kino tekikwata ku musajja n’omukazi ababeera obubeezi awamu ne bwe kiba nti mu kitundu gye babeera batwalibwa ng’abafumbo ng’ate mu mateeka tebatwalibwa ng’abafumbo.d Wano tuba tutegeeza obufumbo obutuukagana n’empisa y’omu kitundu ekkirizibwa. Obufumbo obwo buyinza okuzingiramu okuwaayo ebintu ebisabiddwa ab’ewaabwe w’omugole omukazi, era ebintu bwe bikkirizibwa, ekyo kiba kiraga nti obufumbo obwo buba bukkirizibwa mu mateeka ne mu Byawandiikibwa. Mu mateeka, gavumenti obufumbo ng’obwo obw’ekinnansi ebukkiriza. Oluvannyuma lw’ekyo, kiba kisoboka okuwandiisa obufumbo bw’ekinnansi era abafumbo ne babawa ebbaluwa y’obufumbo. Okuwandiisa obufumbo kuyinza okuwa abafumbo obukuumi mu mateeka oba okuwa omukazi obukuumi singa afuuka nnamwandu awamu n’abaana be baba bazadde. Ekibiina kyandikubiriza abo bonna abafumbiriganiddwa mu ngeri y’ekinnansi okuwandiisa obufumbo bwabwe amangu ddala nga bwe kisoboka. Kirabika nti wansi w’Amateeka ga Musa, obufumbo n’okuzaalibwa kw’omuntu byawandiisibwanga.​—Matayo 1:1-16.

      13. Oluvannyuma lw’obufumbo bw’ekinnansi, bintu ki ebisaanidde okugobererwa ebikwata ku mboozi ey’obufumbo?

      13 Abagattibwa mu bufumbo ng’obwo obw’ekinnansi obukkirizibwa mu mateeka bafuuka mwami na mukyala. Nga bwe kyayogeddwako waggulu, Abakristaayo abafumbiriganwa mu ngeri ng’eyo ekkirizibwa mu mateeka bayinza okwagala okufuna emboozi awamu n’okukola ebirayiro by’obufumbo ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Singa kiba bwe kityo, omwogezi ategeeza abawuliriza nti baamaze dda okugattibwa mu mateeka ga Kayisaali. Walina okubaawo emboozi ng’eyo ya mulundi gumu era n’okugattibwa kwa mulundi gumu, era nga mu mbeera eno bwe bufumbo obw’ekinnansi okukkirizibwa mu mateeka. Singa emboozi eweebwa nga wayiseewo ekiseera kitono nnyo oluvannyuma lw’okugattibwa, bwe kiba kisoboka ku lunaku olwo lwennyini, kiba kiweesa ekitiibwa obufumbo bw’Ekikristaayo mu kitundu.

      14. Kiki Omukristaayo ky’ayinza okukola singa byombi obufumbo bw’ekinnansi n’okugattibwa omukungu wa gavumenti bikkirizibwa?

      14 Mu nsi ezimu obufumbo bw’ekinnansi gye bukkirizibwa mu mateeka, wabaawo n’enteekateeka ey’okugattibwa omukungu wa gavumenti. Abo abagattibwa omukungu wa gavumenti bayinza okukola ebirayiro era n’okuwandiisa obufumbo bwabwe. Abakristaayo abamu basalawo okugattibwa omukungu wa gavumenti so si mu ngeri ey’ekinnansi. Tekyetaagisa kugattibwa mu ngeri ezo zombi; buli emu ku zo ekkirizibwa mu mateeka. Ebyogeddwako mu katundu 9 ne 10 ebikwata ku mboozi ekwata ku bufumbo n’ebirayiro, bikwata ne ku kugattibwa omukungu wa gavumenti. Ekikulu kiri nti abantu abo bafumbiriganiddwa mu ngeri ey’ekitiibwa mu maaso ga Katonda n’abantu.​—Lukka 20:25; 1 Peetero 2:13, 14.

      Kuuma Ekitiibwa mu Bufumbo

      15, 16. Mu ngeri ki okuwa ekitiibwa gye kiri ekikulu mu bufumbo?

      15 Ekizibu bwe kyajjawo mu bufumbo bwa kabaka wa Buperusi, Memukani omuwi w’amagezi omukulu, yawa amagezi amalungi​—‘nti abakazi bonna bassengamu babbaabwe ekitiibwa.’ (Eseza 1:20) Mu bufumbo bw’Ekikristaayo, kabaka talina kusooka kuwa kiragiro amagezi ago ne galyoka gagobererwa; abakyala baba baagala okussa ekitiibwa mu babbaabwe. Mu ngeri y’emu, abaami Abakristaayo bawa bakazi baabwe ekitiibwa era ne babatendereza. (Engero 31:11, 30; 1 Peetero 3:7) Okuwa ekitiibwa bannaffe mu bufumbo tekirina kubaawo luvannyuma lwa myaka mingi. Kirina okweyoleka okuviira ddala ku ntandikwa, okuviira ddala ku lunaku lwe mugattibwa n’okweyongerayo.

      16 Ekitiibwa kino tekirina kubeera wakati w’omwami n’omukyala ku lunaku lwe bafumbiriganwako lwokka. Bwe kiba nti omukadde mu kibiina ajja kuwa emboozi ekwata ku bufumbo, asaanidde okugiwa mu ngeri ey’ekitiibwa. Emboozi yandibadde eyolekezebwa eri bafumbo. Olw’okuba emboozi erina okuweesa abafumbo ekitiibwa, omwogezi tasaanidde kwogera bisesa busesa oba okugera engero eziteeberezebwa obuteeberezebwa. Talina kwogera ebiyinza okuswaza abafumbo n’abawuliriza. Wabula, alina okufuba okwogera mu ngeri ey’ebbugumu era ezimba, ng’agulumiza oyo Eyatandikawo obufumbo awamu n’okubuulirira kwe okulungi. Mazima ddala, omukadde bw’awa emboozi mu ngeri ey’ekitiibwa kijja kuleetera obufumbo obwo okuweesa Yakuwa Katonda ekitiibwa.

      17. Lwaki twandifuddeyo ku mateeka agakwata ku bufumbo bw’Ekikristaayo?

      17 Oboolyawo, mu kitundu kino weetegerezza ensonga nnyingi ku mateeka agakwata ku bufumbo. Agamu gayinza okuba nga si ge gagobererwa mu kitundu kyammwe. Kyokka, ffenna tusaanidde okutegeera engeri gye kiri ekikulu Abajulirwa ba Yakuwa abafumbiriganwa okussa ekitiibwa mu mateeka g’omu kitundu n’ebyo Kayisaali bye yeetaaga. (Lukka 20:25) Pawulo yatukubiriza bw’ati: “Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab’omusolo musolo; ab’empooza mpooza; . . . ab’ekitiibwa kitiibwa.” (Abaruumi 13:7) Mazima ddala, kiba kituukirawo okuviira ddala ku lunaku lwe bafumbiriganwako Abakristaayo okussa ekitiibwa mu nteekateeka ya Katonda eriwo mu kiseera kino.

      18. Kintu ki ekirala kye tulina okulowoozaako nga tuteekateeka embaga?

      18 Embaga z’Abakristaayo nnyingi zibaako n’okusembeza abagenyi ku kijjulo. Jjukira nti ne Yesu yagenda ku kijjulo ng’ekyo. Bwe wabeerawo ekijjulo ng’ekyo, okubuulirira kwa Baibuli kuyinza kutya okutuyamba okukakasa nti kiweesa Katonda ekitiibwa era nga kiwa ekifaananyi ekirungi ku baakafumbiriganwa era n’ekibiina Ekikristaayo? Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku nsonga eyo.

      [Obugambo obuli wansi]

      a Ekigambo kye kimu kiyinza okukozesebwa ne ku kijjulo ekitakwataganyizibwa na mbaga ya bugole.​—Eseza 9:22.

      b Emboozi ey’eddakiika 30 ekwata ku bufumbo erina omutwe “Obufumbo obw’Ekitiibwa mu Maaso ga Katonda” eweebwa ku mbaga z’Abajulirwa ba Yakuwa. Emboozi eno ebaamu okubuulirira okulungi okuva mu Byawandiikibwa nga kwesigamiziddwa ku katabo Ekyama eky’Okufuna essanyu mu Maka n’ebitabo ebirala eby’Abajulirwa ba Yakuwa. Eganyula nnyo abo abagenda okufumbiriganwa n’abo ababaawo ku mbaga.

      c Okuggyako ng’amateeka geetaagisa ekintu ekirala, ebirayiro bino ebiweesa Katonda ekitiibwa bye birina okukozesebwa. Omugole omusajja: “Nze [erinnya ly’omugole omusajja] ntwala [erinnya ly’omugole omukazi] okuba mukyala wange, okumwagala ng’amateeka ga Katonda agali mu Byawandiikibwa ebitukuvu bwe galagira abaami Abakristaayo, ebbanga lyonna lye tunaamala ku nsi nga tuli mu nteekateeka ya Katonda ey’obufumbo.” Omugole omukazi: “Nze [erinnya ly’omugole omukazi] ntwala [erinnya ly’omugole omusajja] okuba omwami wange, okukwagala n’okukussaamu ekitiibwa ng’amateeka ga Katonda agali mu Byawandiikibwa ebitukuvu bwe galagira abakyala Abakristaayo, ebbanga lyonna lye tunaamala ku nsi nga tuli mu nteekateeka ya Katonda ey’obufumbo.”

      d The Watchtower aka Maayi 1, 1962, olupapula 287, koogera ku musajja n’omukazi ababeera obubeezi awamu nga mu mateeka g’ensi ezimu batwalibwa okuba abafumbo ate nga mu ndala tebatwalibwa ng’abafumbo.

      Ojjukira?

      • Lwaki twandifuddeyo ku mateeka n’Ebyawandiikibwa ebikwata ku bufumbo?

      • Singa Abakristaayo basalawo okugattibwa omukungu wa gavumenti kiki kye bayinza okusalawo okukola amangu ddala oluvannyuma lw’omukolo ogwo?

      • Lwaki emboozi ekwata ku bufumbo eweebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka?

      [Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

      Ku mbaga z’Abaisiraeri ez’edda, omugole omusajja yaleetanga omugole omukazi mu maka ga taata we oba mu maka ge

      [Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

      Oluvannyuma lw’obufumbo bw’ekinnansi Abakristaayo bayinza okwagala okufuna emboozi ku Kizimbe ky’Obwakabaka

  • Yoleka Okukkiriza Kwo mu Ngeri Gye Weeyisaamu
    Omunaala gw’Omukuumi—2006 | Noovemba 1
    • Yoleka Okukkiriza Kwo mu Ngeri Gye Weeyisaamu

      ‘Okukkiriza bwe kutabaako bikolwa nga kufudde.’​—YAKOBO 2:17.

      1. Lwaki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayoleka okukkiriza n’ebikolwa?

      OKUTWALIRA awamu, Abakristaayo abaasooka baayoleka okukkiriza kwabwe mu ngeri gye beeyisaamu. Omuyigirizwa Yakobo yakubiriza Abakristaayo bonna nti: “Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi.” Era yagattako nti: “Ng’omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufudde, era n’okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde.” (Yakobo 1:22; 2:26) Nga wayiseewo emyaka nga 35 oluvannyuma lw’okuwandiika ebigambo ebyo, Abakristaayo bangi baali bakyeyongera okwoleka okukkiriza kwabwe okuyitira mu bikolwa ebirungi. Naye eky’ennaku, abamu baali tebakola bwe batyo. Yesu yasiima abo abaali mu kibiina ky’omu Sumuna; kyokka bangi abaali mu kibiina ky’omu Saadi yabagamba bw’ati: ‘Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya ery’okuba omulamu, naye oli mufu.’​—Okubikkulirwa 2:8-11; 3:1.

      2. Kiki Abakristaayo kye bandyebuuzizza ekikwata ku kukkiriza kwabwe?

      2 N’olwekyo, Yesu yakubiriza abo abaali mu Saadi era n’abalala abandisomye ebigambo bye okwoleka okukkiriza kwe baalina mu kusooka eri amazima era n’okubeera obulindaala mu by’omwoyo. (Okubikkulirwa 3:2, 3) Buli omu ku ffe ayinza okwebuuza: ‘Kiri kitya ku bikolwa byange? Ebikolwa byange biraga bulungi nti nkola kyonna kye nsobola okwoleka okukkiriza kwange mu byonna bye nkola ne mu mbeera ezitakwatagana butereevu na kubuulira oba n’enkuŋŋaana z’ekibiina?’ (Lukka 16:10) Waliwo ebintu bingi mu bulamu ebiyinza okwogerwako, naye ka twogere ku kimu kyokka: okukuŋŋaana awamu okwesanyusaamu nga mw’otwalidde n’okugenda ku mbaga ez’Ekikristaayo.

      Okukuŋŋaana Awamu Okwesanyusaamu nga Muli Batonotono

      3. Ndowooza ki Baibuli gy’erina ku kukuŋŋaana awamu okusanyukamu?

      3 Abasinga obungi ku ffe tusiima nnyo bwe tuyitibwa okukuŋŋaana awamu ne Bakristaayo bannaffe okusanyukamu. Yakuwa ‘Katonda

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share