OLUYIMBA 84
Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingako
Printed Edition
1. ’Ssanyu lyaffe lyeyongera
Bwe tuyamba abalala.
Ne Yakuwa asanyuka
Era ’tuwa emikisa.
(CHORUS)
Waliwo ’bwetaavu
mu bifo bingi.
Bw’oyamba ’balala, ofuna
essanyu lingi.
2. Mu bitundu byonn’e by’ensi
’By’okukola bingi ddala.
Okwagala tukwoleka
Bwe twewaayo ’kuweereza.
(CHORUS)
Waliwo ’bwetaavu
mu bifo bingi.
Bw’oyamba ’balala, ofuna
essanyu lingi.
3. Bwe tuyiga olulimi
Olwogerwa abalala,
Kituyamba ’kubunyisa
’Mawulire amalungi.
(CHORUS)
Waliwo ’bwetaavu
mu bifo bingi.
Bw’oyamba ’balala, ofuna
essanyu lingi.
(Laba ne Yok. 4:35; Bik. 2:8; Bar. 10:14.)