LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 33
  • Bw’Oba Olina Obulwadde Obutawona, Bayibuli Esobola Okukuyamba?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bw’Oba Olina Obulwadde Obutawona, Bayibuli Esobola Okukuyamba?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Waliwo Ekisobola Okukuyamba
    Zuukuka!—2020
  • Bayibuli Etuwa Essuubi
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Bayibuli Etuwa Essuubi
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Amasomo Agatandikirwako mu Kuyiga Bayibuli
  • Munno mu Bufumbo bw’Aba Yeetaaga Obuyambi obw’Enjawulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 33

Bw’Oba Olina Obulwadde Obutawona, Bayibuli Esobola Okukuyamba?

Bayibuli ky’egamba

Yee. Katonda afaayo ku baweereza be abalwadde. Ng’eyogera ku muweereza wa Katonda omwesigwa, Bayibuli egamba nti: “Yakuwa anaamulabiriranga ng’ali ku ndiri.” (Zabbuli 41:3) Bw’oba olina obulwadde obutawona, amagezi gano gasobola okukuyamba:

  1. Saba Katonda akuwe amaanyi okuguma. Osobola okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” Ekyo kisobola okukuyamba obuteeraliikirira kisukkiridde era kisobola okukuyamba okuguma.​—Abafiripi 4:6, 7.

  2. Ba n’endowooza ennuŋŋamu. Bayibuli egamba nti: “Omutima omusanyufu ddagala ddungi, naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.” (Engero 17:22) Yiga okusaagasaagako, kubanga ekyo kiyinza okuwewula ku kizibu ky’olina era kisobola okukuyamba okuba n’obulamu obulungiko.

  3. Weesige ebisuubizo bya Katonda. Okuba n’essuubi erinywevu kisobola okukuyamba okuba omusanyufu wadde ng’olina obulwadde obutawona. (Abaruumi 12:12) Bayibuli esuubiza nti ekiseera kijja kutuuka nga mu nsi temukyali muntu agamba nti: “Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) Mu kiseera ekyo Katonda ajja kumalawo endwadde zonna ezitawona eziremye bannassaayansi okumalawo. Ng’ekyokulabirako, Katonda ajja kuggyawo okukaddiwa. Bayibuli egamba nti: “Omubiri ggwe ka gudde buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka; era k’abe n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.”​—Yobu 33:25.

Weetegereze: Wadde nga bakimanyi nti Katonda ayamba abo abalina obulwadde obutawona, Abajulirwa ba Yakuwa bwe balwala, bagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi. (Makko 2:17) Kyokka Abajulirwa ba Yakuwa tebalina bujjanjabi bwe bakubiriza bantu kufuna; bakimanyi nti buli muntu asaanidde okwesalirawo ku lulwe obujjanjabi bw’ayagala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share