LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w24 Maaki lup. 20-25
  • Weewale Ekizikiza—Sigala mu Kitangaala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weewale Ekizikiza—Sigala mu Kitangaala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUVA MU KIZIKIZA OKUDDA MU KITANGAALA
  • WEEWALE EKIZIKIZA
  • MUTAMBULE “NG’ABAANA B’EKITANGAALA”
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olwa 2025-2026 Olubaako Akiikiridde Ettabi
  • Ekitangaala Ekiva eri Katonda Kiggyawo Ekizikiza!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Maaki lup. 20-25

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 12

OLUYIMBA 77 Ekitangaala mu Nsi ey’Ekizikiza

Weewale Ekizikiza—Sigala mu Kitangaala

“Mwaliko mu kizikiza, naye kati muli mu kitangaala.”—BEF. 5:8.

EKIGENDERERWA

Kiki kye tuyigira ku bigambo ekizikiza n’ekitangaala omutume Pawulo bye yayogerako mu Abeefeso essuula 5.

1-2. (a) Omutume Pawulo yali mu mbeera ki we yawandiikira ebbaluwa y’Abeefeso, era lwaki yabawandiikira ebbaluwa eyo? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu kitundu kino?

OMUTUME Pawulo bwe yali asibiddwa mu nnyumba e Rooma, yayagala okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi. Olw’okuba yali tasobola kubakyalira, yabawandiikira amabaluwa. Emu ku bbaluwa ezo yagiwandiikira Abakristaayo ab’omu Efeso awo nga mu mwaka gwa 60 oba 61 E.E.—Bef. 1:1; 4:1.

2 Emyaka nga kkumi emabega, Pawulo yali amaze ekiseera ng’abeera mu Efeso ng’abuulira abantu amawulire amalungi era ng’abayigiriza. (Bik. 19:​1, 8-10; 20:​20, 21) Yali ayagala nnyo bakkiriza banne era yali ayagala okubayamba okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Naye lwaki yawandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta ebikwata ku kizikiza n’ekitangaala? Era biki Abakristaayo bonna bye bayinza okuyiga mu ebyo bye yawandiika? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

OKUVA MU KIZIKIZA OKUDDA MU KITANGAALA

3. Bigambo ki eby’akabonero Pawulo bye yakozesa mu bbaluwa gye yawandiikira Abeefeso?

3 Pawulo yagamba Abakristaayo Abeefeso nti: “Mwaliko mu kizikiza, naye kati muli mu kitangaala.” (Bef. 5:8) Wano Pawulo yakozesa ebigamba ‘ekizikiza’ ‘n’ekitangaala’ mu ngeri ey’akabonero ng’ayogera ku mbeera za mirundi ebiri ezaawukana. Ka tulabe ensonga lwaki Pawulo yagamba Abeefeso nti ‘baaliko mu kizikiza.’

4. Mu ngeri ki Abeefeso gye baali mu kizikiza eky’eby’omwoyo?

4 Baali mu kizikiza olw’okusinza okw’obulimba. Ab’oluganda abaali mu Efeso Pawulo be yawandiikira bwe baali tebannafuuka Bakristaayo, baali mu buddu bw’enjigiriza ez’obulimba n’obulombolombo. Ekibuga Efeso kyalimu yeekaalu ya Atemi katonda omukazi eyali emanyiddwa ennyo, era eyali etwalibwa okuba emu bintu omusanvu ebyali byewuunyisa ennyo mu nsi ey’edda. Abantu abaagendanga mu yeekaalu eyo baalinga basinza ebifaananyi. Bizineesi y’okukola n’okutunda obusabo bwa Atemi yali ya maanyi nnyo. (Bik. 19:​23-27) Ate era abantu bangi mu Efeso baali bakola eby’obufuusa.—Bik. 19:19.

5. Mu ngeri ki Abeefeso gye baali mu kizikiza olw’enneeyisa embi?

5 Baali mu kizikiza olw’enneeyisa embi. Abantu bangi mu Efeso baali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu era nga tebafaayo ku nneeyisa yaabwe. Emizannyo egyalagibwanga n’emikolo gy’eddiini gyabangamu okuwemula. (Bef. 5:3) Bangi ku bantu b’omu kibuga ekyo baali “tebakyalina nsonyi.” Ebigambo “tebakyalina nsonyi” obutereevu bitegeeza “tebakyawulira bulumi bwonna.” (Bef. 4:​17-19) Abeefeso bwe baali tebannamanya mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, baali tebawulira bulumi obuva mu kulumirizibwa omuntu ow’omunda era baali tebakitwala nti bavunaanyizibwa eri Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba nti “ebirowoozo byabwe [byali] mu kizikiza, era [nga] beeyawudde ku bulamu obuva eri Katonda.”

6. Lwaki Pawulo yagamba nti kati Abeefeso ‘baali mu kitangaala’?

6 Naye abamu ku Beefeso tebaasigala mu kizikiza. Pawulo bwe yabawandiikira yabagamba nti: “Kati muli mu kitangaala olw’okuba muli ba Mukama waffe.” (Bef. 5:8) Kati baali bakolera ku Kigambo kya Katonda ekyali ng’ekitangaala ekibawa obulagirizi. (Zab. 119:105) Abeefeso abo baali baleseeyo ebikolwa ebibi ebyalina akakwate n’okusinza okw’obulimba era n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Baali ‘bakoppa Katonda’ era nga bakola kyonna kye basobola okumusinza n’okumusanyusa.—Bef. 5:1.

7. Embeera yaffe efaananako etya ey’Abakristaayo bangi abaali mu Efeso?

7 Naffe bwe twali tetunnayiga mazima, twali mu kizikiza mu by’omwoyo ne mu nneeyisa yaffe. Abamu ku ffe twali twenyigira mu mikolo gy’eddiini egikontana n’Ebyawandiikibwa, ate abalala baali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Naye bwe twayiga emitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu, twakola enkyukakyuka. Twatandika okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gye egy’obutuukirivu. N’ekivuddemu, tuganyuddwa nnyo. (Is. 48:17) Naye wadde kiri kityo, tulina okusoomooza kwe twolekagana nakwo. Tulina okufuba okwewalira ddala ekizikiza kye twaleka, ne ‘tweyongera okutambula ng’abaana b’ekitangaala.’ Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Ebifaananyi: 1. Omutume Pawulo awandiika ebbaluwa ng’asibiddwa olujegere olusibiddwa ne ku musirikale Omurooma. 2. Kopi y’ebbaluwa ey’edda Pawulo gye yawandiikira Abeefeso.

Image digitally reproduced with the permission of the Papyrology Collection, Graduate Library, University of Michigan, P.Mich.inv. 6238. Licensed under CC by 3.0

Ebyo Pawulo bye yawandiikira Abeefeso, naffe tubiganyulwamu leero (Laba akatundu 7)b


WEEWALE EKIZIKIZA

8. Okusinziira ku Abeefeso 5:​3-5, biki Abeefeso bye baalina okwewala?

8 Soma Abeefeso 5:​3-5. Okusobola okwewalira ddala ekizikiza bwe kituuka ku nneeyisa, Abakristaayo b’omu Efeso baalina okweyongera okwewala ebintu ebitasanyusa Yakuwa. Ebintu ebyo byali bizingiramu ebikolwa eby’obugwenyufu n’okwogera ebintu eby’obuwemu. Pawulo yajjukiza Abeefeso nti baalina okwewala ebintu ng’ebyo bwe bandibadde ab’okusikira “Obwakabaka bwa Kristo era obwa Katonda.”

9. Lwaki tusaanidde okwewalira ddala ekintu kyonna ekiyinza okutuviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?

9 Naffe tulina okufuba ennyo okwewalira ddala ‘ebikolwa ebitagasa eby’ekizikiza.’ (Bef. 5:11) Ekituufu kiri nti omuntu gy’akoma okutunuulira, okuwuliriza, oba okwogera ebintu eby’obugwenyufu, gye kikoma okumubeerera ekyangu okubyenyigiramu. (Lub. 3:6; Yak. 1:​14, 15) Mu nsi emu, ab’oluganda abawerako baakola akabinja nga baweerezeganya obubaka mu mukutu omugattabantu. Mu kusooka bangi ku b’oluganda abo baali boogera ku bintu bya mwoyo. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, baatandika okwogera ku bintu ebitasaana. Ebintu bye baalinga boogerako okusinga byalinga bikwata ku bya kwegatta. Oluvannyuma bangi ku b’oluganda abo baagamba nti okwogeranga ku bintu ebitasaana kyabaviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.

10. Sitaani agezaako atya okutulimbalimba? (Abeefeso 5:6)

10 Ensi ya Sitaani egezaako okutulimbalimba tulowooze nti ebyo Yakuwa by’atwala nti bya bugwenyufu, si bibi n’akatono. (2 Peet. 2:19) Ekyo tekitwewuunyisa! Akamu ku bukodyo Sitaani bw’amaze ekiseera ekiwanvu ng’akozesa kwe kuleetera abantu okutabulwatabulwa babeere nga tebasobola kwawulawo kituufu na kikyamu. (Is. 5:20; 2 Kol. 4:4) N’olwekyo tekyewuunyisa nti firimu nnyingi, ebyo ebiragibwa ku ttivi, n’ebyo ebiba ku Intaneeti birimu ebintu ebikontana n’emisingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu! Sitaani agezaako okutulimbalimba tulowooze nti ebikolwa ebibi ebikyase mu nsi si bikyamu wabula nti bireetera omuntu okunyumirwa obulamu.—Soma Abeefeso 5:6.

11. Ekyo ekyatuuka ku Angela kiraga kitya obukulu bw’okukolera ku kubuulirira okuli mu Abeefeso 5:7? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Sitaani ayagala tukolagane n’abantu abakifuula ekizibu gye tuli okunywerera ku mitindo gya Yakuwa. Kituukirawo okuba nti Pawulo yagamba Abeefeso nti: “Temussa kimu nabo,” kwe kugamba, abo abakola ebintu ebikyamu mu maaso ga Katonda. (Bef. 5:7) Tusaanidde okukijjukira nti abantu be tukolagana nabo si beebo bokka be tulabagana maaso ku maaso. Abo be tukolagana nabo bazingiramu n’abo ababa ku mikutu emigattabantu, ekizibu Abakristaayo ab’omu Efeso kye bataalina. Mwannyinaffe Angela,a abeera mu Asiya, yalaba akabi akali ku mikutu emigattabantu. Agamba nti: “Emikutu egyo gya kabi nnyo, kubanga mpolampola gisobola okukyusa endowooza yo. Nnatuuka ekiseera ne mba siraba buzibu bwonna buli mu kukola mikwano n’abantu abatassa kitiibwa mu misingi gya Bayibuli. Mpolampola nnatandika okulowooza nti tekyalimu buzibu bwonna kweyisa mu ngeri etasanyusa Yakuwa.” Ekirungi, abakadde baayamba Angela okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa. Agamba nti: “Kati ebirowoozo byange mbijjuza ebintu eby’eby’omwoyo, mu kifo ky’okubijjuza ebintu ebibeera ku mikutu emigattabantu.”

Ebifaananyi: 1. Mwannyinaffe omuvubuka ng’atunuulira ebyo bye bamusindikidde ku ssimu. 2. Mwannyinaffe oyo y’omu ng’anyumya ne mwannyinaffe omulala gw’abuulira naye era musanyufu.

Abo be tufuula mikwano gyaffe bayinza okutuviirako okunywerera ku mitindo gya Yakuwa oba obutaginywererako (Laba akatundu 11)


12. Kiki ekinaatuyamba okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu?

12 Abantu mu nsi bakitwala nti okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu tekiriimu buzibu bwonna. Naye ffe tukimanyi nti ebikolwa ebyo bikyamu. (Bef. 4:​19, 20) Tusaanidde okwebuuza nti: ‘Nfuba okwewala okukola omukwano ogw’oku lusegere ne bakozi bannange, bayizi bannange, abo abantu abalala abatassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu? Nfuba okutambuliza obulamu bwange ku mitindo gya Yakuwa wadde ng’abamu bagamba nti nneetwala okuba omutuukirivu?’ Nga bwe kiragibwa mu 2 Timoseewo 2:​20-22, tulina n’okuba abeegendereza nga tulonda emikwano mu kibiina. Tukimanyi nti abamu bayinza obutatuyamba kusigala nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa.

MUTAMBULE “NG’ABAANA B’EKITANGAALA”

13. Kitegeeza ki “okutambula ng’abaana b’ekitangaala”? (Abeefeso 5:​7-9)

13 Ng’oggyeeko okuba nti Pawulo yakubiriza Abeefeso okwewala ekizikiza, era yabakubiriza okweyongera “okutambula ng’abaana b’ekitangaala.” (Soma Abeefeso 5:​7-9.) Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti enneeyisa yaffe erina okukyoleka nti tuli Bakristaayo ab’amazima ekiseera kyonna. Engeri emu gye tuyinza okutuukirizaamu ekyo kwe kunyiikira okwesomesa Bayibuli n’ebitabo byaffe ebiginnyonnyola. Okusingira ddala kikulu nnyo okukoppa Yesu Kristo ‘ekitangaala ky’ensi,’ era n’okukolera ku ebyo bye yayigiriza.—Yok. 8:12; Nge. 6:23.

14. Omwoyo omutukuvu guyinza kutuyamba gutya?

14 Ate era twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu tusobole okweyongera okweyisa “ng’abaana b’ekitangaala.” Lwaki? Kubanga kizibu nnyo okusigala nga tuli balongoofu mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obugwenyufu. (1 Bas. 4:​3-5, 7, 8) Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okwewala endowooza y’ensi ezingiramu obufirosoofo n’ebintu ebikyamu ebikontana n’endowooza ya Katonda. Ate era gusobola okutuyamba okukulaakulanya “obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.”—Bef. 5:9.

15. Tuyinza tutya okufuna omwoyo omutukuvu? (Abeefeso 5:​19, 20)

15 Engeri emu gye tuyinza okufunamu omwoyo omutukuvu kwe kusaba Katonda agutuwe. Yesu yagamba nti Yakuwa awa “omwoyo omutukuvu abo abamusaba.” (Luk. 11:13) Ate era bwe tutendereza Yakuwa nga tuli wamu ne bannaffe mu nkuŋŋaana, tufuna omwoyo omutukuvu. (Soma Abeefeso 5:​19, 20.) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gutuyamba okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda.

16. Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi? (Abeefeso 5:​10, 17)

16 Bwe wabaawo ebintu ebikulu bye tulina okusalawo, tusaanidde okumanya ekyo “Yakuwa ky’ayagala” era ne tukikolerako. (Soma Abeefeso 5:​10, 17.) Bwe tuzuula omusingi gwa Bayibuli ogukwata ku mbeera yaffe, tuba tunoonya endowooza Katonda gy’alina ku mbeera eyo. Era bwe tukolera ku misingi gye, kituyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

17. Kiki ekizingirwa mu kukozesa obulungi ebiseera byaffe? (Abeefeso 5:​15, 16) (Laba n’ekifaananyi.)

17 Pawulo era yakubiriza Abakristaayo b’omu Efeso okukozesa obulungi ebiseera byabwe. (Soma Abeefeso 5:​15, 16.) Omulabe waffe Sitaani ayagala twemalire ku bintu by’ensi tuleme kufuna biseera bya kuweereza Katonda waffe. (1 Yok. 5:19) Kyangu nnyo Omukristaayo okukulembeza ssente, obuyigirize, oba omulimu, mu kifo ky’okwenyigira mu bintu ebitali bimu bye tukola nga tuweereza Yakuwa. Ekyo bwe kibaawo, kiba kiraga nti atwaliriziddwa endowooza y’ensi. Kyo kituufu nti ebintu ebyo si bikyamu, naye tetusaanidde kubikulembeza. Okusobola okutambula “ng’abaana b’ekitangaala,” tulina ‘okukozesa obulungi ebiseera byaffe,’ nga tukulembeza ebintu ebisinga obukulu.

Abakristaayo mu kyasa ekyasooka nga babuulira ku lumu ku nguudo z’omu Efeso.

Abakristaayo b’omu Efeso baakubirizibwa okukozesa obulungi ebiseera byabwe (Laba akatundu 17)


18. Biki Donald bye yakola okusobola okwongera okukozesa obulungi ebiseera bye?

18 Lowooza ku ngeri gy’oyinza okugaziya ku buweereza bwo. Ekyo ow’Oluganda Donald abeera mu South Africa, kye yakola. Agamba nti: “Nnafumiitiriza ku bulamu bwange era ne nsaba Yakuwa annyambe okukola ekisingawo mu buweereza bwange. Nnamusaba annyambe okufuna omulimu ogwandinsobozesezza okwongera ku biseera gye mmala nga mbuulira. Yakuwa yannyamba ne nfuna omulimu ogwo. Nze ne mukyala wange awo we twatandikira okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna.”

19. Tuyinza tutya okweyongera okutambula “ng’abaana b’ekitangaala”?

19 Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abeefeso eteekwa okuba nga yabayamba okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Okubuulirira okwo okwava eri Yakuwa naffe tusobola okukuganyulwamu. Nga bwe tulabye, kusobola okutuyamba nga tulonda emikwano n’eby’okwesanyusaamu. Era kusobola okutuyamba okusoma Bayibuli obutayosa, ekitangaala ky’amazima kisobole okutuwa obulagirizi mu byonna bye tukola. Ate era okubuulirira okwo kulaga nti kikulu nnyo okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu, kubanga gutusobozesa okwoleka engeri ennungi. Okukolera ku ebyo Pawulo bye yawandiika kisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi, kwe kugamba, okusalawo mu ngeri etuukagana n’endowooza ya Yakuwa. Bwe tukola ebintu ebyo, tujja kusobola okwewala ekizikiza ekiri mu nsi, era tujja kusigala mu kitangaala!

WANDIZZEEMU OTYA?

  • ‘Ekizikiza’ n’ekitangaala’ ebyogerwako mu Abeefeso 5:8 bitegeeza ki?

  • Tuyinza tutya okwewala ‘ekizikiza’?

  • Tuyinza tutya okweyongera okutambula “ng’abaana b’ekitangaala”?

OLUYIMBA 95 Ekitangaala Kyeyongera

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b EKIFAANANYI: Ekifaananyi ekiraga kopi y’ebbaluwa ey’edda Pawulo gye yawandiikira Abeefeso.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share