LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 8/1 lup. 29-32
  • Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Okubala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Okubala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KU LUSOZI SINAAYI
  • (Okubala 1:1–10:10)
  • OKUVA MU KIFO EKIMU OKUDDA MU KIRALA NGA BALI MU DDUNGU
  • (Okubala 10:11–21:35)
  • MU NSENYI ZA MOWAABU
  • (Okubala 22:1–36:13)
  • Ekigambo kya Katonda Kirina Amaanyi
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Musa Akuba ku Lwazi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Gondera Abo Katonda b’Awadde Obuyinza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Yakuwa Atwala Abantu Abawombeefu nga ba Muwendo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 8/1 lup. 29-32

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Okubala

OLUVANNYUMA lw’okuggibwa e Misiri, Abaisiraeri bafuulibwa eggwanga. Nga wayiseewo ekiseera kitono, bandiyingidde mu Nsi Ensuubize, naye tebaasobola. Mu kifo ky’ekyo, batambula mu “ddungu eddene era ery’entiisa” okumala emyaka ana. (Ekyamateeka 8:15) Lwaki? Ebiri mu kitabo kya Baibuli, eky’Okubala bituwa eky’okuddamu. Bisaanidde okutukubiriza okugondera Yakuwa Katonda n’okussa ekitiibwa mu abo b’akozesa.

Ekitabo kino Musa kye yawandiikira mu ddungu ne mu Nsenyi za Mowaabu, kyogera ku byaliwo mu bbanga ery’emyaka 38 n’emyezi 9, okuva mu 1513 B.C.E. okutuuka mu 1473 B.C.E. (Okubala 1:1; Ekyamateeka 1:3) Erinnya ly’ekitabo kino likwataganyizibwa n’okubala Abaisiraeri okwaliwo emirundi ebiri ng’era okubala okw’okubiri kwaliwo oluvannyuma lw’emyaka 38. (Essuula 1-4, 26) Ekitabo kyawuddwamu ebitundu bisatu. Ekitundu ekisooka kyogera ku ebyo ebyaliwo ku Lusozi Sinaayi. Ekitundu eky’okubiri kirimu ebyaliwo ng’Abaisiraeri batambula mu ddungu. Ate ekitundu ekisembayo kyogera ku byaliwo mu Nsenyi za Mowaabu. Bw’oba ng’osoma ekitabo kino, oyinza okwebuuza: ‘Ebyaliwo bino binjigiriza ki? Mu kitabo kino mulimu emisingi egisobola okunnyamba leero?’

KU LUSOZI SINAAYI

(Okubala 1:1–10:10)

Okubala abantu okusooka kubaawo ng’Abaisiraeri bakyali wansi w’Olusozi Sinaayi. Abasajja okuva ku myaka 20 n’okweyongerayo, ng’oggyeko Abaleevi, bali 603,550. Kirabika okubala kuno kukolebwa okusobola okumanya abo abayinza okugenda mu ntalo. Abantu bonna mu lusiisira, nga mw’otwalidde abakazi, abaana wamu n’Abaleevi bayinza okuba nga basukka mu bukadde obusatu.

Oluvannyuma lw’okubala abantu, Abaisiraeri baweebwa ebiragiro ebikwata ku ngeri gye balina okutambulamu, kalonda akwata ku mirimu gy’Abaleevi n’egy’okuweereza mu weema, ebiragiro ebikwata ku kuggya abantu abatali balongoofu mu balala, amateeka agakwata ku misango omuntu gy’azza olw’okukwatirwa munne obuggya, n’amateeka agakwata ku birayiro by’Abanaziri. Essuula 7 erimu ebikwata ku kuwaayo okwakolebwa abakulu b’ebika ng’ekyoto kitongozebwa, n’essuula 9 eyogera ku kukwata Okuyitako. Ate era ekibiina kiweebwa obulagirizi obukwata ku ngeri y’okusiisiramu era n’okusitula okugenda mu kifo ekirala.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

2:1, 2​—Ebibinja ebyalimu ebika ebisatu ebisatu byali birina kusiisira nga biriraanye bubonero ki? Baibuli tetubuulira ngeri bubonero buno gye bwali bufaanana. Kyokka, bwali tebutwalibwa ng’ekintu ekitukuvu oba okukwataganyizibwa n’okusinza. Obubonero buno bwayambanga omuntu okuzuula ekifo gye yabeeranga mu lusiisira.

5:27​—‘Okukozimba ekisambi’ okw’omukyala eyali akoze obwenzi kwali kutegeeza ki? Ekigambo “ekisambi” kikozesebwa wano okutegeeza ebitundu eby’okuzaala. (Olubereberye 46:26) ‘Okukozimba ekisambi’ kwali kutegeeza nti ebitundu bino byandibadde tebikyalina busobozi bwa kuzaala.

Bye Tuyigamu:

6:1-7. Abanaziri baali balina okwewala ekintu kyonna ekiva mu mizabbibu oba ekitamiiza kyonna, era nga kino kyali kyetaagisa okwefiiriza. Tebaalinga ba kusalako nviiri zaabwe​—akabonero akaali kalaga obuwulize eri Yakuwa, ng’era abakazi bwe baalina okuwuliranga babbaabwe oba bakitaabwe. Abanaziri baalina okubeeranga abayonjo nga beewala okukwata ku mulambo ka gube gwa wa luganda ow’oku lusegere. Ne leero, abaweereza ab’ekiseera kyonna balaga omwoyo ogw’okwefiiriza n’obuwulize eri Yakuwa n’enteekateeka ze. Abamu bayinza okuweerezebwa mu kifo eky’ewala, ne kiba nti kiyinza okuba ekizibu okudda eka okuziika ow’oluganda.

8:25, 26. Okusobola okukakasa nti Abaleevi abaalina amaanyi be baaweerezanga, abo ababanga bakaddiye baalagirwanga okuwummula obuweereza bwabwe. Kyokka, baalinga basobola okwewaayo okuyamba Abaleevi abalala. Wadde ng’omuweereza w’Obwakabaka leero tasobola kuwummula mulimu gwa kubuulira, omusingi oguli mu tteeka lino gulina kye gutuyigiriza. Singa Omukristaayo aba takyasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obumu olw’okukaddiwa, asobola okwenyigira mu buweereza obulala ng’amaanyi ge bwe gaba gamusobozesa.

OKUVA MU KIFO EKIMU OKUDDA MU KIRALA NGA BALI MU DDUNGU

(Okubala 10:11–21:35)

Ekire ekiri waggulu wa weema bwe kisituka, Abaisiraeri batandika olugendo olunaabatuusa mu Nsenyi za Mowaabu olutwala emyaka 38 n’omwezi 1 oba 2. Kijja kukuganyula singa ogoberera ekkubo lye baakwata eriragiddwa ku mmaapu eri ku lupapula 9 mu katabo ‘Laba Ensi Ennungi,’ akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Nga bali ku lugendo olunaabatuusa e Kadesi, mu ddungu ly’e Palani, wabaawo okwemulugunya kwa mirundi esatu. Okwemulugunya okusooka Yakuwa akukomya ng’asindika omuliro ne gwokya abamu ku bantu. Okw’okubiri kubaawo Abaisiraeri bwe bayoya okulya ennyama, era Yakuwa abawa obugubi. Ate okw’okusatu kwe kwa Miryamu ne Alooni bwe beemulugunyiza Musa ne kiviiramu Miryamu okukubwa ebigenge okumala akaseera.

Nga basiisidde e Kadesi, Musa asindika abasajja 12 okugenda okuketta Ensi Ensuubize. Bakomawo oluvannyuma lw’ennaku 40. Bwe bawuliriza ebigambo eby’abakessi ekkumi ebimalamu amaanyi, abantu baagala okukuba Musa, Alooni n’abakessi abeesigwa Yoswa ne Kalebu amayinja. Yakuwa ayagala okukuba abantu kawumpuli, naye Musa amwegayirira era Katonda asalawo nti bajja kumala emyaka 40 mu ddungu okutuusa ng’abo bonna abaabalibwa bamaze okufa.

Yakuwa awa ebiragiro ebirala. Koola ne bakyewaggula abalala bajeemera Musa ne Alooni, naye bakyewaggula abamu omuliro gubazikiriza, ate abalala ensi ebamira. Olunaku olwaddirira ekibiina kyonna kyemulugunyiza Musa ne Alooni. Era ekivaamu Yakuwa atta abantu 14,700. Okusobola okwawulawo kabona omukulu eyali alondeddwa, Katonda ameza amaloozi ku muggo gwa Alooni. Oluvannyuma, Yakuwa awa amateeka amalala agakwata ku mirimu gy’Abaleevi n’agakwata ku kutukuza abantu. Okukozesa evvu ery’ente emmyufu kwali kusonga ku kutukuzibwa okuyitira mu kinunulo kya Yesu Kristo.​—Abaebbulaniya 9:13, 14.

Abaana ba Isiraeri bakomawo e Kadesi, era eyo Miryamu gy’afiira. Nate ekibiina kyemulugunyiza Musa ne Alooni. Ensonga ebaleetera okwemulugunya eri nti: Tebalina mazzi. Olw’okuba Musa ne Alooni balemererwa okutukuza erinnya lya Yakuwa ng’abawadde amazzi mu ngeri ey’eky’amagero, bafiirwa enkizo ey’okuyingira mu Nsi Ensuubize. Abaisiraeri bava e Kadesi, era Alooni afiira ku Lusozi Koola. Nga bayita ku nsalo za Edomu, Abaisiraeri bakoowa era beemulugunyiza Katonda ne Musa. Yakuwa asindika emisota egy’obusagwa okubabonereza. Nate Musa yeegayirira, era Katonda amugamba okukola omusota ogw’ekikomo aguwanike ku muti kisobozese buli aba abojjeddwa omusota okugutunuulira asobole okuwona. Omusota gusonga ku kukomererwa kwa Yesu Kristo okutusobozesa okufuna emiganyulo egy’olubeerera. (Yokaana 3:14, 15) Abaisiraeri bawangula Bakabaka Abaamoli Sikoni ne Ogi era bezza ensi yaabwe.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

12:1​—Lwaki Miryamu ne Alooni beemulugunyiza Musa? Ensonga yennyini erabika okuba nti Miryamu yali ayagala obukulu obusingawo. Zipola muka Musa, bwe yeegatta ku bbaawe nga bali mu ddungu, Miryamu ayinza okuba yatya nti yandibadde takyatwalibwa ng’akulira abakyala.​—Okuva 18:1-5.

12:9-11​—Lwaki Miryamu yekka ye yakubwa ebigenge? Kirabika ye yatandiikiriza okwemulugunya okwo era n’aleetera ne Alooni okumwegattako. Alooni yalaga endowooza ennuŋŋamu bwe yeenenya.

21:14, 15​—Kitabo ki ekyogerwako wano? Ebyawandiikibwa byogera ku bitabo bingi abaawandiika Baibuli bye beeyambisa nga bawandiika. (Yoswa 10:12, 13; 1 Bassekabaka 11:41; 14:19, 29) “Ekitabo ky’Entalo za Yakuwa” kyali kimu ku bitabo ng’ebyo. Kyalimu ebyafaayo by’entalo z’abantu ba Yakuwa.

Bye Tuyigamu:

11:27-29. Musa atuwa ekyokulabirako ekirungi ennyo ekiraga engeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tuweereddwa enkizo mu buweereza bwa Yakuwa. Mu kifo ky’okwenoonyeza ekitiibwa, Musa yasanyuka Eridaadi ne Medadi bwe baatandika okukola nga bannabbi.

12:2, 9, 10; 16:1-3, 12-14, 31-35, 41, 46-50. Yakuwa asuubira abo abamusinza okussa ekitiibwa mu abo b’aba awadde obuyinza.

14:24. Ekinaatuyamba okwewala ebikolwa ebibi eby’omu nsi, kwe ‘kubeera n’omwoyo ogw’enjawulo,’ oba endowooza etafaanana ya nsi.

15:37-41. Amatanvuuwa ag’enjawulo agaali ku ngoye z’Abaisiraeri gaalinga ga kubajjukiza nti baali bantu abaawuliddwawo okusinza Katonda n’okugondera ebiragiro bye. Naffe obulamu bwaffe tetwandibutambulizza ku mitindo gya Katonda ne tuba nga tuli ba njawulo ku nsi?

MU NSENYI ZA MOWAABU

(Okubala 22:1–36:13)

Abamowaabu bakeŋŋentererwa abaana ba Isiraeri bwe basiisira mu Nsenyi za Mowaabu. N’olwekyo, Balaki kabaka wa Mowaabu asuubiza Balamu empeera, singa akolimira Abaisiraeri. Kyokka, Yakuwa awaliriza Balamu okusabira Abaisiraeri emikisa mu kifo ky’okubakolimira. Abakazi Abamowaabu n’Abamidiyaani bakozesebwa okusendasenda abasajja Abaisiraeri okwenyigira mu bwenzi n’okusinza ebifaananyi. N’ekivaamu Yakuwa azikiriza abantu 24,000 abayonoona. Kawumpuli alekera awo oluvannyuma lwa Finekaasi okulaga nti tayinza kukkiriza Yakuwa kuvuganyizibwa.

Okubala abantu okw’omulundi ogw’okubiri kulaga nti abo bonna abaabalibwa ku mulundi ogwasooka tebakyaliwo, okuggyako Yoswa ne Kalebu. Yoswa alondebwa okusikira Musa. Abaisiraeri baweebwa amateeka agakwata ku kuwaayo okutali kumu ne ku ngeri y’okukola obweyamo. Abaisiraeri bawoolera eggwanga ku Bamidiyaani. Ab’ekika kya Lewubeeni, Gaadi n’ekitundu kya Manase, batuula ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani. Abaisiraeri baweebwa ebiragiro ebikwata ku ngeri gye banaasomoka Yoludaani n’okuwamba ensi. Ensalo ziragibwa nga bwe zinaabeera. Ensi egabanyizibwamu nga bakuba akalulu. Abaleevi baweebwa ebibuga 48, era mukaaga ku byo bijja kukola ng’ebibuga eby’okuddukiramu.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

22:20-22​—Lwaki Yakuwa yanyiigira Balamu? Yakuwa yali agaanye nnabbi Balamu okukolimira Abaisiraeri. (Okubala 22:12) Kyokka, nnabbi yagenda n’abasajja ba Balaki ng’alina ekigendererwa eky’okukolimira Abaisiraeri. Balamu yali ayagala okusanyusa kabaka wa Mowaabu era amufuneko empeera. (2 Peetero 2:15, 16; Yuda 11) Wadde nga Balamu yawalirizibwa okusabira Abaisiraeri omukisa mu kifo ky’okubakolimira, yayagala okusiimibwa kabaka era n’aleeta ekiteeso nti abakazi abasinza Baali bakozesebwe okusendasenda abasajja Abaisiraeri. (Okubala 31:15, 16) N’olwekyo, ensonga lwaki Katonda yanyiigira Balamu eri nti, nnabbi ono yalina omulugube.

30:6-8​—Omusajja Omukristaayo asobola okusazaamu obweyamo mukyala we bw’aba akoze? Ku bikwata ku kukola obweyamo, Yakuwa akolagana n’abamusinza kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, okwewaayo eri Yakuwa, buba bweyamo omuntu bw’aba okoze ku lulwe. (Abaggalatiya 6:5) Omusajja talina buyinza kugaana mukazi we kukola bweyamo ng’obwo. Ku luuyi olulala, omukyala asaanidde okwewala okukola obweyamo obukontana n’Ekigambo kya Katonda oba n’obuvunaanyizibwa bw’alina eri bbaawe.

Bye Tuyigamu:

25:11. Nga Finekaasi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ekikwata ku butakkiriza Yakuwa kuvuganyizibwa! Okwagala okukuuma ekibiina nga kiyonjo tekyandituleetedde okubuulira abakadde ku bwenzi obuba bukoleddwa?

35:9-29. Eky’okuba nti eyabanga asse omuntu mu butali bugenderevu yalinanga okuddukira mu bibuga eby’okuddukiramu, kituyigiriza nti obulamu butukuvu era nti tulina okubuwa ekitiibwa.

35:33. Ensi eba eyonooneddwa n’okuyiwa omusaayi gw’oyo ataliiko musango erina kutangirirwa musaayi gw’oyo abeera asse. Nga kituukirawo okuba nti Yakuwa ajja kuzikiriza ababi ng’ensi eno tennafuulibwa lusuku lwe!​—Engero 2:21, 22; Danyeri 2:44.

Ekigambo kya Katonda Kirina Amaanyi

Tulina okuwa Yakuwa ekitiibwa era n’abo b’aba atadde mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu bantu be. Ekitabo ky’Okubala kissa essira ku nsonga eno. Eno nga nsonga nkulu nnyo etusobozesa okukuuma emirembe n’obumu mu kibiina leero!

Ebyogerwako mu kitabo ky’Okubala biraga engeri gye kiyinza okuba ekyangu eri abo abalagajjalira embeera yaabwe ey’eby’omwoyo okugwa mu kibi gamba ng’okwemulugunya, obwenzi, n’okusinza ebifaananyi. Ebyokulabirako ebimu ebiri mu kitabo kino ekya Baibuli bisobola okukozesebwa mu kuwa emboozi ekwata ku byetaago by’ekibiina mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa. Mazima ddala, ‘ekigambo kya Katonda kiramu era ky’amaanyi’ mu bulamu bwaffe.​—Abaebbulaniya 4:12.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Ng’akozesa ekire ekyalinga waggulu wa weema mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yalaganga Abaisiraeri ddi lwe bandisiisidde oba lwe bandisitudde okugenda mu kifo ekirala

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

Tugwanidde okugondera Yakuwa era atusuubira okuwa abo abamukiikirira ekitiibwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share