LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lff essomo 4
  • Katonda y’Ani?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda y’Ani?
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Erinnya lya Katonda
    Zuukuka!—2017
  • Erinnya lya Katonda y’Ani?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Erinnya lya Katonda—Enkozesa Yaalyo n’Amakulu Gaalyo
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Omanyi Erinnya lya Katonda era Olikozesa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 4
Essomo 4. Obwengula ekiro.

ESSOMO 04

Katonda y’Ani?

Printed Edition
Printed Edition
Printed Edition

Kyenkana ebbanga lyonna abantu lye babadde ku nsi, babadde basinza bakatonda abatali bamu. Kyokka Bayibuli eyogera ku Katonda “asinga bakatonda abalala bonna.” (2 Ebyomumirembe 2:5) Y’aluwa oyo? Era kiki ekimufuula okuba nga y’asinga bakatonda abalala bonna abantu be basinza? Mu ssomo lino ogenda kulaba ebyo Katonda oyo by’ayagala omumanyeeko.

1. Erinnya lya Katonda y’ani, era kiki ekiraga nti ayagala tulimanye?

Katonda atubuulira ebimukwatako okuyitira mu Bayibuli. Agamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.” (Soma Isaaya 42:5, 8.) Bangi ku abo abeekenneenya ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda bagamba nti erinnya ery’Olwebbulaniya eryavvuunulwa nga “Yakuwa” litegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Yakuwa ayagala tumanye erinnya lye. (Okuva 3:15) Ekyo tukimanya tutya? Yassa erinnya lye mu Bayibuli emirundi egisukka mu 7,000!a Erinnya Yakuwa lye linnya lya “Katonda ow’amazima waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi.”​—Ekyamateeka 4:39.

2. Kiki Bayibuli ky’etubuulira ku Yakuwa?

Bayibuli egamba nti mu bakatonda bonna abantu be basinza, Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima. Lwaki? Waliwo ensonga nnyingi. Yakuwa y’alina obuyinza obw’enkomeredde, era ye yekka ‘Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.’ (Soma Zabbuli 83:18.) Ye ‘Muyinza w’Ebintu Byonna,’ ekitegeeza nti alina obuyinza okukola kyonna ky’aba asazeewo okukola. Ye ‘yatonda ebintu byonna’ ebiri mu bwengula n’ebiri ku nsi. (Okubikkulirwa 4:8, 11) Ate era ye yekka abaddewo emirembe gyonna era ajja okweyongera okubaawo emirembe n’emirembe.​—Zabbuli 90:2.

YIGA EBISINGAWO

Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’ebitiibwa bya Katonda n’erinnya lye. Ate era laba engeri gy’akumanyisaamu erinnya lye n’ensonga lwaki alikumanyisa.

Omusajja ng’atunuulira eggulu ekiro. Erinnya Yakuwa ng’emabega eriyo ekifaananyi ky’eggulu.

3. Katonda alina ebitiibwa bingi naye alina erinnya limu lyokka

Okusobola okumanya enjawulo eriwo wakati w’ekitiibwa n’erinnya, laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

VIDIYO: Ebitiibwa Bingi, Erinnya Limu (0:41)

  • Njawulo ki eriwo wakati w’ekitiibwa, gamba nga “Mukama,” n’erinnya?

Bayibuli eraga nti abantu basinza bakatonda bangi ne bamukama bangi. Soma Zabbuli 136:1-3, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ani “Katonda wa bakatonda” era “Mukama w’abakama”?

4. Yakuwa ayagala omanye erinnya lye era olikozese

Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala omanye erinnya lye? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

VIDIYO: Yaggibwa mu vidiyo, Katonda Alina Erinnya? (3:11)

Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Katonda Alina Erinnya?’ Omusajja nga yeetegereza erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu Zabbuli 83:18 mu nkyusa ya ‘King James’ eya 1611.
  • Olowooza Yakuwa ayagala abantu bamanye erinnya lye? Lwaki ogamba bw’otyo?

Yakuwa ayagala abantu bakozese erinnya lye. Soma Abaruumi 10:13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Lwaki kikulu okukozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa?

  • Owulira otya omuntu bw’ajjukira erinnya lyo era n’alyogera?

  • Olowooza Yakuwa awulira atya bw’okozesa erinnya lye?

5. Yakuwa ayagala obeere mukwano gwe

Omukazi omu ow’omu Cambodia ayitibwa Soten yagamba nti bwe yayiga erinnya lya Katonda kyamuleetera okufuna essanyu lye yali tafunangako. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

VIDIYO: Nnanoonya Katonda ow’Amazima (8:18)

Ekifaananyi: Ekimu ku ebyo ebirabikira mu vidiyo ‘Nnanoonya Katonda ow’Amazima.’ 1. Soten ng’atudde wansi w’omuti mu kibira ng’atunudde waggulu, era ng’asaba Katonda ow’amazima. 2. Herold ng’abuulira Soten nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa.
  • Okusinziira ku vidiyo eyo, okumanya erinnya lya Katonda kyakwata kitya ku Soten?

Ng’omuntu tannafuuka mukwano gwo, emirundi egisinga osooka kumanya linnya lye. Soma Yakobo 4:8a, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiki Yakuwa ky’akukubiriza okukola?

  • Okumanya erinnya lya Katonda n’okulikozesa kikuyamba kitya okumusemberera?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Waliwo Katonda omu yekka, n’olwekyo okukozesa erinnya lye oba obutalikozesa si kikulu.”

  • Okikkiriza nti Yakuwa lye linnya lya Katonda?

  • Oyinza otya okunnyonnyola omuntu nti Katonda ayagala tukozese erinnya lye?

MU BUFUNZE

Yakuwa lye linnya lya Katonda omu yekka ow’amazima. Ayagala tumanye erinnya eryo era tulikozese tusobole okumusemberera.

Okwejjukanya

  • Yakuwa ayawukana atya ku bakatonda abalala bonna abantu be basinza?

  • Lwaki tusaanidde okukozesa erinnya lya Katonda?

  • Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala obeere mukwano gwe?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Weetegereze ensonga ttaano lwaki tusobola okuba abakakafu nti Katonda gyali.

“Ddala Katonda Gyali?” (Kiri ku mukutu)

Laba ensonga lwaki kikola amakulu okukkiriza nti Katonda abaddewo emirembe gyonna.

“Ani Eyatonda Katonda?” (Omunaala gw’Omukuumi, Agusito 1, 2014)

Laba ensonga lwaki tusaanidde okukozesa erinnya lya Katonda wadde ng’engeri gye lyayatulwangamu edda temanyiddwa.

“Yakuwa y’Ani?” (Kiri ku mukutu)

Kikulu okukozesa erinnya lya Katonda? Laba ensonga lwaki tugamba nti Katonda alina erinnya limu lyokka.

“Katonda Alina Amannya Ameka?” (Kiri ku mukutu)

a Okumanya ebisingawo ku makulu g’erinnya lya Katonda, n’ensonga lwaki lyaggibwa mu nzivuunula za Bayibuli ezimu, laba Ebyongerezeddwako A4 mu Enkyusa ey’Ensi Empya.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share