Okuweerereza Awamu n’Omukuumi
“Ku munaala gw’omukuumi, Ai Yakuwa, kwe nnyimirira emisana lyonna, era mbeera mu kifo we nkuumira ekiro kyonna.”—ISAAYA 21:8, NW.
1. Yakuwa kennyini mujulirwa ku bisuubizo ki eby’ekitalo?
YAKUWA ye w’Ekigendererwa Omukulu. Malayika omujeemu eyafuuka Setaani Omulyolyomi tayinza n’akamu kulemesa kigendererwa Kye eky’ekitalo eky’okutukuza erinnya Lye era n’okuteekawo obufuzi bw’Obwakabaka obw’ekitiibwa obw’okufuga olusuku lwa Katonda ku nsi. (Matayo 6:9, 10) Wansi w’obufuzi obwo, mazima ddala olulyo lw’omuntu lujja kufuna emikisa. Katonda ‘ajja kumira okufa ennaku zonna; era Mukama Afuga Byonna Yakuwa alisangula amaziga mu maaso gonna.’ Abantu abasanyufu abali obumu, bajja kufuna emirembe n’emikisa emirembe gyonna. (Isaaya 25:8; 65:17-25) Yakuwa yennyini ye mujulirwa ku bisuubizo bino eby’ekitalo!
2. Bajulirwa ki abantu Yakuwa b’ayimusizzaawo?
2 Kyokka, Omutonzi era alina abantu abajulirwa. Mu kiseera ekyo ng’Obukristaayo tebunnabaawo “olufu lw’abajulirwa,” okutandika ne Abeeri, badduka embiro z’empaka n’obugumiikiriza, emirundi mingi nga boolekaganye n’embeera enzibu. Ebyokulabirako byabwe ebirungi bizzaamu amaanyi Abakristaayo abeesigwa leero. Kristo Yesu kye kyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi eky’omujulir wa omuvumu. (Abaebbulaniya 11:1-12:2) Ng’ekyokulabirako, jjukira obujulirwa bwe obwasembayo mu maaso ga Pontiyo Piraato. Yesu yagamba: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi ntegeeze amazima.” (Yokaana 18:37) Okuva mu 33 C.E. okutuuka mu mwaka guno ogwa 2000 C.E., Aba- kristaayo abanyiikivu bagoberedde ekyokulabirako kya Yesu era beeyongedde okuwa obujulirwa, nga balangirira n’obuvumu “eby’ekitalo bya Katonda.”—Ebikolwa 2:11.
Okwawulayawula kwa Babulooni
3. Setaani aziyizza atya obujulirwa obuweereddwa ku Yakuwa ne by’ayagala?
3 Mu nkumi n’enkumi z’emyaka egizze giddiriŋŋana, Omulabe omukulu, Setaani Omulyolyomi, agezezzaako okujolonga obujulirwa bw’abajulirwa ba Katonda. Nga “kitaawe w’obulimba,” “ogusota [guno] ogunene . . . , omusota ogw’edda,” gubadde ’gulimba ensi zonna.’ Taddiridde n’akamu mu kulwanyisa abo “abakwata ebiragiro bya Katonda,” naddala mu nnaku zino ez’enkomerero.—Yokaana 8:44; Okubikkulirwa 12:9, 17.
4. Babulooni Ekinene kyatandikawo kitya?
4 Emyaka nga 4,000 egiyiseewo, oluvannyuma lw’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa, Setaani yayimusaawo Nimuloodi, “omuyizzi ow’amaanyi awakanya Yakuwa.” (Olubereberye 10:9, 10, NW) Ekibuga kya Nimuloodi ekikulu, Babulooni (Baberi), kyafuuka ekifo ekikulu eky’eddiini ya balubaale. Yakuwa bwe yatabulatabula olulimi lw’abaali bazimba omunaala gwa Baberi, abantu baasaasaana mu nsi, era ne bagenda n’eddiini yaabwe ey’obulimba. Bwe kityo Babulooni yafuuka ensibuko y’obwakabaka bw’eddiini ez’obulimba, obuyitibwa Babulooni Ekinene mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Ekitabo ekyo kiragula okuzikirizibwa kw’enteekateeka y’eddiini eno enkadde.—Okubikkulirwa 17:5; 18:21.
Eggwanga ly’Abajulirwa
5. Ggwanga ki Yakuwa lye yategeka okubeera omujulirwa we, naye lwaki yalireka okutwalibwa mu buwaŋŋanguse?
5 Emyaka nga 500 oluvannyuma lw’ekiseera kya Nimuloodi, Yakuwa yategeka bazzukulu ba Ibulayimu abeesigwa n’abakolamu eggwanga lya Isiraeri okuweereza nga omujulirwa We ku nsi. (Isaaya 43:10, 12) Abantu bangi mu ggwanga eryo baaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Kyokka, ebyasa by’emyaka bwe byagenda biyitawo, enzikiriza ez’obulimba ez’amawanga ag’omuliraano zaayonoona Isiraeri, era abantu ba Yakuwa ab’endagaano baamuvaako ne batandika okusinza bakatonda ab’obulimba. Bwe kityo, mu 607 B.C.E., amagye ga Babulooni, nga gakulemberwa Kabaka Nebukadduneeza, gaazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo ne gatwala Abayudaaya abasinga obungi mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.
6. Mawulire ki amalungi omukuumi wa Yakuwa ow’obunnabbi ge yalangirira, era gaatuukirizibwa ddi?
6 Nga bwali buwanguzi bwa maanyi nnyo eri eddiini ey’obulimba! Kyokka, obufuzi bwa Babulooni bwamala akaseera katono. Emyaka nga 200 nga Babulooni tekinnazikirizibwa, Yakuwa yalagira: “Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky’anaalaba.” Omukuumi ono yalina mawulire ki ag’okulangirira? “Babulooni kigu- dde, kigudde; n’ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bimenyese okutuuka ku ttaka.” (Isaaya 21:6, 9) Era, mu 539 B.C.E., obunnabbi obwalangirirwa bwatuukirira. Babulooni eky’amaanyi kyagwa, era abantu ba Katonda ab’endagaano mangu ddala baasobola okuddayo ewa boobwe.
7.(a) Kiki Abayudaaya kye baayigira ku kukangavvulwa Yakuwa? (b) Abayudaaya abaaliwo oluvannyuma lw’okukomawo mu buwaŋŋanguse baagwa mu mitego ki, era kiki ekyavaamu?
7 Abayudaaya abaali bakomawo baali bayize lwaki bandyesambye okusinza ebifaananyi n’eddiini za balubaale. Kyokka, emyaka bwe gyagenda giyitawo, baagwa mu mitego emirala. Abamu baatwalirizibwa obufirosoofo bw’Abayonaani. Abalala bassa essira ku bulombolombo bw’abantu mu kifo ky’Ekigambo kya Katonda. Ate abalala baatwalirizibwa mwoyo gwa ggwanga. (Makko 7:13; Ebikolwa 5:37) Yesu bwe yazaalibwa, eggwanga lyali lizzeemu okuva ku kusinza okulongoofu. Wadde Abayudaaya kinnoomu baayanukula amawulire amalungi Yesu ge yalangirira, eggwanga okutwalira awamu lyamugaana era bwe kityo Katonda naye n’aligaana. (Yokaana 1:9-12; Ebikolwa 2:36) Isiraeri yali tekyali mujulirwa wa Katonda, era mu mwaka 70 C.E., Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo byaddamu okuzikirizibwa, ku mulundi guno nga bizikirizibwa eggye ly’Abaruumi.—Matayo 21:43.
8. Baani abaafuuka omujulirwa wa Yakuwa, era lwaki okulabula kwa Pawulo eri omujulirwa ono kwali kutuukirawo bulungi?
8 Mu kiseera ekyo, “Isiraeri wa Katonda” ey’Ekikristaayo yazaalibwa, era kati ye yali aweereza ng’omujulirwa wa Katonda eri amawanga. (Abaggalatiya 6:16) Mangu ddala, Setaani yakola olukwe okwonoona eggwanga lino eppya ery’omwoyo. Ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka, okweyawulayawula kwatandikawo mu bibiina. (Okubikkulirwa 2:6, 14, 20) Okulabula kwa Pawulo kwali kutuukirawo bulungi: “Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu, okugobereranga eby’olu- bereberye eby’ensi, okutali kugoberera Kristo.”—Abakkolosaayi 2:8.
9. Nga Pawulo bwe yali alabudde, bintu ki ebyaliwo ebyaviirako Kristendomu okutandikawo?
9 Mu nkomerero, obufirosoofo bw’Abayonaani, endowooza z’Abababulooni ez’eddiini, ate n’oluvannyuma “amagezi” g’abantu ng’enjigiriza y’obutakkiririza mu kutondebwa, n’okuvumirira ebiwandiiko bya Baibuli byayonoona eddiini y’abantu bangi abeeyita Abakristaayo. Kyali nga Pawulo bwe yalagula: “Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo; era mu mmwe mwekka muliva abantu nga boogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizibwa ennyuma waabwe.” (Ebikolwa 20:29, 30) Olw’obwewagguzi buno, Kristendomu yatandikawo.
10. Bintu ki ebyaliwo ebyalaga nti si buli omu eyali atwaliriziddwa okusinza okwonoonefu okwa Kristendomu?
10 Abo abaali beemalidde ku kusinza okulongoofu baalina “[okulwanirira] ennyo okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi gumu.” (Yuda 3) Obujulirwa eri okusinza okulongoo- fu n’eri Yakuwa bwandiweddewo ku nsi? Nedda. Ekiseera ky’okuzikirizibwa kwa Setaani omujeemu n’emirimu gye gyonna bwe kyasembera, kyeyoleka nti si buli omu eyali atwaliriziddwa okusinza kwa bakyewaggula okwali mu Kristendomu. Ku nkomerero y’ekyasa 19, mu Pittsburgh, Pennsylvania, Amereka, ekibinja ky’abayizi ba Baibuli abeesimbu kyatandikibwawo ne kifuuka ekibiina kya Katonda eky’abajulirwa be mu kiseera kyaffe. Abakristaayo bano baasonga ku bujulizi bw’omu Byawandiikibwa obulaga nti amafundikira g’embeera z’ebintu ku nsi gali kumpi. Nga kikwatagana n’obunnabbi bwa Baibuli, “amafundikira” g’ensi eno gaatandika mu 1914 era gaalambibwa okubalukawo kwa ssematalo eyasooka. (Matayo 24:3, 7, NW) Waliwo obujulizi bwa maanyi nnyo obulaga nti Setaani ne balubaale baasuulibwa okuva mu ggulu oluvannyuma lw’omwaka ogwo. Ekyasa 20 ekibaddemu ebizibu eby’amaanyi kiwadde obujulizi obulaga ebikolwa bya Setaani era n’okutuukirizibwa okw’enkukunala okw’akabonero ak’okubeerawo kwa Yesu mu buyinza bw’Obwakabaka mu ggulu.—Matayo, essuula 24 ne 25; Makko, essuula 13; Lukka, essuula 21; Okubikkulirwa 12:10, 12.
11. Setaani yagezzaako kukola ki, naye lwaki kyagwa butaka?
11 Mu Jjuuni 1918, Setaani yagezaako okusaanyawo abayizi ba Baibuli abo, mu kiseera ekyo abaali babuulira mu nsi eziwerako. Era yagezaako okuzikiriza ekitongole kyabwe ekyawandiisibwa mu mateeka, the Watch Tower Bible and Tract Society. Abakungu ab’obuvunaanyizibwa mu Sosayate baasibibwa, nga bavunaanibwa mu bukyamu okujeemesa abantu, nga bwe kyali eri Yesu mu kyasa ekyasooka. (Lukka 23:2) Naye mu 1919, abakungu bano baasumululwa, ne kibasobozesa okwongera mu maaso obuweereza bwabwe. Oluvannyuma, baggibwako emisango gyonna egyali gibavunaanibwa.
“Omukuumi“ ng’Akuuma
12. Baani leero abakola ekibiina kya Yakuwa eky’omukuumi, oba “omukuumi,” era babadde na ndowooza ki?
12 N’olwekyo “ekiseera eky’enkomerero” bwe kyatandika, Yakuwa yalina omukuumi, alabula abantu ku bintu ebikwata ku kutuukirizibwa kw’ebigendererwa Bye. (Danyeri 12:4; 2 Timoseewo 3:1) Okutuusiza ddala leero, ekibiina ky’omukuumi—Abakristaayo abaafukibwako amafuta, Isiraeri wa Katonda—kibadde kituukana n’ebyo Isaaya bye yayogera ku mukuumi w’obunnabbi: “Yassaayo nnyo omwoyo, ng’awuliriza ddala. Era yakoowoola ng’empologoma: ‘Ku munaala gw’omukuumi, Ai Yakuwa, kwe nnyimirira emisana ekiseera kyonna, era mbeera mu kifo we nkuumira ekiro kyonna.’” (Isaaya 21:7, 8, NW) Omukuumi ono atwala omulimu gwe nga mukulu!
13. (a) Bubaka ki omukuumi wa Yakuwa bwalangiridde? (b) Mu ngeri ki bwe kiyinza okugambibwa nti Babulooni Ekinene kigudde?
13 Omukuumi onoyalaba ki? Nate, omukuumi wa Yakuwa, ekibiina kye eky’omujulirwa, kyalangirira: “Babulooni kigudde, kigudde; n’ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo [Yakuwa abimenye] okutuuka ku ttaka.” (Isaaya 21:9) Ku mulundi guno, oluvannyuma lwa Ssematalo I, Babulooni Ekinene, obwakabaka bw’ensi yonna obw’eddiini ez’obulimba, kye kisuulibwa okuva mu kifo kyakyo eky’obuyinza. (Yeremiya 50:1-3; Okubikkulirwa 14:8) Ekyo tekyewuunyisa n’akamu! Olutalo Olukulu, nga bwe lwali luyitibwa mu kiseera ekyo, lwatandikira mu Kristendomu, abakadde b’amakanisa ku njuyi zombi gye baakumira omuliro mu lutalo nga bakubiriza abavubuka okugenda mu ddwaniro. Nga kyali kya buswavu nnyo! Mu 1919, Babulooni Ekinene kyali tekiyinza kuziyiza Bayizi ba Baibuli, ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali bamanyiddwa mu kiseera ekyo, okuva mu mbeera gye baalimu ey’obutabuulira n’okwenyigira mu kaweefube akyagenda mu maaso ow’okuwa obujulirwa mu nsi yonna. (Matayo 24:14) Ekyo kyayoleka okugwa kwa Babulooni Ekinene, ng’okusumululwa kwa Isiraeri mu kyasa eky’omukaaga B.C.E. bwe kwayoleka okugwa kwa Babulooni eky’edda.
14. Magazini ki ekibiina kya Yakuwa eky’omukuumi kye kikozeseza ennyo, era Yakuwa awadde atya omukisa enkozesa yayo?
14 Ekibiina ky’omukuumi bulijjo kikoze omulimu gwakyo n’obunyiikivu era n’okwagala okw’amaanyi okukola ekituufu. Mu Jjulayii 1879, Abayizi ba Baibuli baatandika okukuba magazini eno, eyali emanyiddwa nga Zion’s Watch Tower and Herald of Christ’s Presence mu kiseera ekyo. Okuva mu 1879 okutuusa mu Ddesemba 15, 1938, buli magazini eyafuluma yalina ku lupapula lwayo olw’oku kungulu ebigambo “Omukuumi, Eby’Ekiro Bitya?”—Isaaya 21:11.a Okumala emyaka 120, The Watchtower keetegereza ebibaddewo mu nsi n’amakulu gaabyo ag’obunnabbi. (2 Timoseewo 3:1-5, 13) Ekibiina kya Katonda eky’omukuumi ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ bakozesezza magazini eno okulangirira eri olulyo lw’omuntu nti okulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa okuyitira mu Bwakabaka bwa Kristo kunaatera okutuuka. (Yokaana 10:16) Omujulirwa ono Yakuwa amuwadde omukisa? Okuva ku katabo akaasooka akaakubibwamu kopi 6,000 mu 1879, The Watchtower kakulaakulanye era kati obutabo obusukka mu 22,000,000 bukubibwa mu nnimi 132—nga 121 ku zino zikubibwa mu kiseera kye kimu. Nga kisaanira ddala nti magazini ey’eddiini esinga okusaasaanyizibwa mu nsi y’eyo egulumiza erinnya lya Katonda ow’amazima, Yakuwa!
Okulongoosebwa Empolampola
15. Kulongoosebwa ki okwakolebwa empolampola nga 1914 tegunnatandika?
15 Mu myaka 40 egyatuusa ku kiseera obufuzi bwa Kristo obw’omu ggulu bwe bwatandika mu 1914, Abayizi ba Baibuli baali basumuluddwa okuva ku njigiriza za Kristendomu nnyingi ezitali za mu Baibuli, gamba ng’okubatiza abaana abato, obutafa bw’emmeeme y’omuntu, ppuligaatuli, okubonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira, ne Katonda ali mu Busatu. Naye kyali kyetaagisa ekiseera ekirala okumalawo endowooza zonna ez’obulimba. Ng’ekyokulabirako, mu myaka gya 1920, Abayizi ba Baibuli bangi baayambalanga akakuufu akaliko omusalaba n’engule, era baakuzanga Ssekukulu n’ennaku endala ez’ekikaafiiri. Kyokka, okusinza okusobola okubeera okulongoofu, byonna ebyekwanya ku kusinza ebifaananyi biteekwa okuggibwawo. Ekigambo kya Katonda, Baibuli Entukuvu, kye kyokka ekiteekwa okwesigamizibwako enzikiriza y’Ekikristaayo n’enneeyisa y’obulamu. (Isaaya 8:19, 20; Abaruumi 15:4) Kikyamu okwongera ku Kigambo kya Katonda oba okuggyamu ekintu kyonna.—Ekyamateeka 4:2; Okubikkulirwa 22:18,19.
16, 17. (a) Ekibiina ky’omukuumi kyalina ndowooza ki enkyamu okumala amakumi g’emyaka? (b) Ennyinnyonnyola entuufu eya “ekyoto” ne “empagi” mu “Misiri” yeruwa?
16 Ekyokulabirako kimu kijja kulaga engeri omusingi guno gye guli omukulu ennyo. Mu 1886, C.T. Russell bwe yafulumya ekitabo ekyali kiyitibwa The Divine Plan of the Ages, ekitabo ekyo kyalimu ekipande ekikwataganya ebiseera ebikulu eby’olulyo lw’omuntu ne Great Pyramid ey’e Misiri. Kyalowoozebwa nti ekijjukizo kino ekya Falaawo Khufu, kye kyali empagi eyayogerwako mu Isaaya 19:19, 20: “Ku lunaku luli waliba ekyoto eri Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, n’empagi eriba ku nsalo yaayo eri Mukama. Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow’eggye mu nsi y’e Misiri.” Pyramid yandibadde na kakwate ki ne Baibuli? Ng’ekyokulabirako, kyalowoozebwa nti obuwanvu bw’enkuubo ezimu mu Great Pyramid bwalaga ekiseera “ekibonyoobonyo ekinene” ekyogerwako mu Matayo 24:21, nga bwe kyali kimanyiddwa mu kiseera ekyo, bwe kyanditandise. Abayizi ba Baibuli abamu baapima ebintu eby’enjawulo mu pyramid okusobola okumanya ebintu gamba ng’ekiseera eky’okugenda mu ggulu!
17 Oguzimbe ogwo ogw’amayinja gwassibwamu ekitiibwa okumala amakumi g’emyaka, okutuusa obutabo bwa Watchtower obwa Noovemba 15 ne Ddesemba 1, 1928 bwe bwakiraga obulungi nti Yakuwa yali teyeetaaga kizimbe ky’amayinja ekyazimbibwa bafalaawo abakaafiiri era ekirimu obubonero bwabalubaale obw’okulaguza emmunyeenye okukakasa obujulirwa obuweereddwa mu Baibuli. Wabula, obunnabbi bwa Isaaya bwalabibwa nga bwalina amakulu ag’eby’omwoyo. Mu Okubikkulirwa 11:8, “Misiri” kabonero akategeeza ensi ya Setaani. ‘Ekyoto eri Yakuwa’ kitujjukiza ssaddaaka ezisiimibwa eziweebwayo Abakristaayo abaafukibwako amafuta nga bakyali batuuze ab’ekiseera obuseera mu nsi eno. (Abaruumi 12:1; Abaebbulaniya 13:15, 16) Empagi ‘ku nsalo ya Misiri’etegeeza ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ekikola nga “empagi n’omusingi eby’amazima” era ekiriwo ng’omujulirwa mu “Misiri” ensi gye banaatera okuleka.—1 Timoseewo 3:15.
18. (a) Yakuwa ayambye atya abayizi ba Baibuli abeesimbu okufuna ekitangaala ku nsonga ezitali zimu? (b) Singa Omukristaayo akisanga nga kizibu okutegeera ekitangaala ekiweereddwa ku Kyawandiikibwa, yandyolese ndowooza ki?
18 Emyaka nga gigenda giyitawo, Yakuwa ayongera okutuwa ekitangaala ku mazima, nga mw’otwalidde n’okutuwa okutegeera okusingawo okukwata ku kigambo kye eky’obunnabbi. (Engero 4:18) Mu myaka egyakayita, tukubiriziddwa okuddamu okwekenneenya ennyo—ebintu nga—omulembe ogutaliggwaawo ng’enkomerero tennatuuka, olugero lw’endiga n’embuzi, eky’omuzizo ne lwe kiriyimirira mu kifo ekitukuvu, endagaano empya, okufuusibwa kwa Mukama waffe, n’okwolesebwa kwa yeekaalu okw’omu kitabo kya Ezeekyeri. Emirundi egimu kiyinza okuba ekizibu okutegeera enyinnyonnyola ng’eyo empya, naye ensonga lwaki zibaawo yeeyongera okutegeerekeka ekiseera bwe kigenda kiyitawo. Singa Omukristaayo tategeera mu bujjuvu nnyinnyonnyola mpya ey’ekyawandiikibwa, kiba kirungi bw’akkiriziganya n’ebigambo byannabbi Mikka: “N[n]aalindiriranga Katonda ow’obulokozi bwange.”—Mikka 7:7.
19. Ensigalira y’abaafukibwako amafuta ne bannaabwe endiga endala balaze batya obuvumu ng’obw’empologoma mu nnaku zino ez’enkomerero?
19 Jjukira nti omukuumi “yakoowoola ng’empologoma: ‘Ku munaala gw’omukuumi, Ai Yakuwa, kwe nnyimirira emisana lyonna, era mbeera mu kifo we nkuumira ekiro kyonna.’” (Isaaya 21:8, NW) Ensigalira y’abaafukibwako amafuta balaze obuvumu ng’obw’empologoma mu kwanika eddiini ez’obulimba n’okulaga abantu ekkubo erituusa mu ddembe. (Okubikkulirwa 18:2-5) Nga ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ bakubisiza Baibuli, magazini, n’ebitabo ebirala mu nnimi nnyingi—“emmere mu kiseera kyayo.” (Matayo 24:45) Batutte obukulembeze mu kukuŋŋaanya ‘ekibiina ekinene okuva mu buli ggwanga n’ekika n’abantu n’ennimi.’ Bano nabo balongoosebwa omusaayi gwa Yesu ogununula era ne beeraga okubeera n’omutima ng’ogw’empologoma mu ‘kuweereza Katonda emisana n’ekiro.’ (Okubikkulirwa 7:9, 14, 15) Mu mwaka ogwayita, ekibiina ekitono ekikyaliwo eky’Abajulirwa ba Yakuwa abaafukibwako amafuta ne bannaabwe, ekibiina ekinene, bafunye bibala ki? Ekitundu kyaffe ekiddako kijja kututegeeza.
[Obugambo obuli wansi]
a Okuva mu Jjanwali 1, 1939, kino kyakyusibwa ne kifuuka “‘Balimanya nti Nze Yakuwa.’—Ezeekyeri 35:15, NW.”
Okyajjukira?
• Bajulirwa ki Yakuwa b’ayimusizzaawo emyaka bwe gizze giyitawo?
• Babulooni Ekinene kyatandikawo kitya?
• Lwaki Yakuwa yaleka, Yerusaalemi, ekibuga ekikulu eky’eggwanga ly’abajulirwa be, okuzikirizibwa mu 607 B.C.E.? mu 70 C.E.?
• Ekibiina kya Yakuwa eky’omukuumi ne bannaabwe balaze mwoyo ki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]
Ab’ekibiina kya Yakuwa eky’omukuumi batwala omulimu gwabwe nga mukulu