LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Jjuuni lup. 3
  • Byonna Yakuwa by’Ayogera Bituukirira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Byonna Yakuwa by’Ayogera Bituukirira
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Jjuuni lup. 3

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 51-52

Byonna Yakuwa by’Ayogera Bituukirira

Yakuwa yalaga ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso era byonna ne bituukirira

Omukuumi wa kabaka wa Buperusi ng’alina obusaale

Omukuumi wa kabaka wa Buperusi ng’alina obusaale

“Muwagale obusaale”

51:11, 28

  • Abameedi n’Abaperusi baali bakugu mu kulasa obusaale, era obusaale bwe baasinganga okukozesa mu ntalo. Baawagalanga obusaale bwabwe busobole okufumita obulungi

“Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana”

51:30

  • Ekiwandiiko ekiyitibwa Nabonidus Chronicle kigamba nti: “Eggye lya Kuulo lyayingira mu Babulooni nga terirwanye.” Ekyo kikwatagana bulungi n’obunnabbi bwa Yeremiya

Nabonidus Chronicle

Nabonidus Chronicle

‘Babulooni kijja kufuuka entuumu z’amayinja era kijja kuba matongo emirembe gyonna’

51:37, 62

  • Okuva mu mwaka gwa 539 E.E.T., ettutumu lya Babulooni lyatandika okukendeera. Alekizanda Omukulu yayagala okufuula Babulooni ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwe, naye yafa ng’ekyo tannakituukiriza. Obukristaayo we bwatandikira, waaliwo Abayudaaya abaali bakyabeera mu Babulooni, era eyo ye nsonga lwaki omutume Peetero yagenda e Babulooni. Naye ekyasa eky’okuna we kyatuukira, ekibuga ekyo kyali kifuuse matongo

    Ekipande ekiraga ekiseera Babulolooni lwe kyawambibwa, Alekizanda Omukulu we yafiira, n’ekiseera Babulooni we kyafuukira amatongo

Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Bayibuli kwandinkutteko kutya?

Nnyinza ntya okuyamba abalala okubaako kye bayiga ku bunnabbi buno?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share