EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 51-52
Byonna Yakuwa by’Ayogera Bituukirira
Yakuwa yalaga ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso era byonna ne bituukirira
Omukuumi wa kabaka wa Buperusi ng’alina obusaale
“Muwagale obusaale”
Abameedi n’Abaperusi baali bakugu mu kulasa obusaale, era obusaale bwe baasinganga okukozesa mu ntalo. Baawagalanga obusaale bwabwe busobole okufumita obulungi
“Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana”
Ekiwandiiko ekiyitibwa Nabonidus Chronicle kigamba nti: “Eggye lya Kuulo lyayingira mu Babulooni nga terirwanye.” Ekyo kikwatagana bulungi n’obunnabbi bwa Yeremiya
Nabonidus Chronicle
‘Babulooni kijja kufuuka entuumu z’amayinja era kijja kuba matongo emirembe gyonna’
Okuva mu mwaka gwa 539 E.E.T., ettutumu lya Babulooni lyatandika okukendeera. Alekizanda Omukulu yayagala okufuula Babulooni ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwe, naye yafa ng’ekyo tannakituukiriza. Obukristaayo we bwatandikira, waaliwo Abayudaaya abaali bakyabeera mu Babulooni, era eyo ye nsonga lwaki omutume Peetero yagenda e Babulooni. Naye ekyasa eky’okuna we kyatuukira, ekibuga ekyo kyali kifuuse matongo