LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okwolesebwa Zekkaliya Kwe Yafuna Kukukwatako Kutya?
    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma)—2017 | Okitobba
    • 16. (a) Kiki ekyatuuka ku ddebe lya efa? (Laba ekifaananyi 3 ku lupapula 21.) (b) Abakazi abalina ebiwaawaatiro batwala wa eddebe lya efa?

      16 Ekiddirira, Zekkaliya alaba abakazi babiri abalina ebiwaawaatiro ebiringa ebya kalooli nga babuuka mu bbanga. (Soma Zekkaliya 5:9-11.) Abakazi abo ba njawulo nnyo ku mukazi ali mu ddebe! Abakazi abo bajja ne basitula eddebe eririmu ebikolwa ebibi ne balitwala. Balitwala wa? Balitwala “mu nsi ya Sinaali,” oba mu Babulooni. Lwaki balitwala mu Babulooni?

      17, 18. (a) Lwaki kituukirawo ebikolwa ebibi okutwalibwa mu Sinaali? (b) Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola bwe kituuka ku bikolwa ebibi?

      17 Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera kya Zekkaliya bateekwa okuba nga baakiraba nti kyali kituukirawo ebikolwa ebibi okutwalibwa mu Sinaali. Zekkaliya ne Bayudaaya banne baali bakimanyi bulungi nti Babulooni kyali kibuga ekijjudde ebikolwa ebibi. Bwe baali mu buwambe e Babulooni, baalina okufuba ennyo obutoonoonebwa bikolwa bibi n’okusinza ebifaananyi ebyali bijjudde mu kibuga ekyo. Okwolesebwa okwo kwabakakasa nti Yakuwa yandikuumye okusinza okw’amazima nga kuyonjo era ekyo kiteekwa okuba nga kyabazzaamu nnyo amaanyi!

      18 Kyokka ate era okwolesebwa okwo kuteekwa okuba nga kwaleetera Abayudaaya okukiraba nti baalina okukuuma okusinza okw’amazima nga kuyonjo. Ebikolwa ebibi tebirina kukkirizibwa kubeera mu bantu ba Yakuwa. Okuva bwe kiri nti Yakuwa yatuleeta mu kibiina kye ekiyonjo, tulina obuvunaanyizibwa obw’okukikuuma nga kiyonjo. Ofuba okukuuma ekibiina kya Yakuwa nga kiyonjo? Ebikolwa ebibi tebirina kifo mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo.

  • Okwolesebwa Zekkaliya Kwe Yafuna Kukukwatako Kutya?
    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma)—2017 | Okitobba
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share