LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 6/15 lup. 3-6
  • ‘Tereeza Ekkubo ly’Ebigere Byo’ Osobole Okukulaakulana

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Tereeza Ekkubo ly’Ebigere Byo’ Osobole Okukulaakulana
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Subheadings
  • Similar Material
  • SALAWO MU NGERI EY’AMAGEZI
  • GGYAWO EMIZIZIKO MU KKUBO LYO
  • WEEYONGERE OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO
  • Abavubuka, Mulina Ebiruubirirwa eby’Omwoyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Lwaki Tusaanidde Okusoma Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Abavubuka, Mujjukire Omutonzi Wammwe Kati
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Abavubuka—Mmunaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 6/15 lup. 3-6
Ekkubo eririmu emiziziko

‘Tereeza Ekkubo ly’Ebigere Byo’ Osobole Okukulaakulana

ABANTU ba Katonda bwe baali bava e Babulooni nga baddayo ku butaka e Yerusaalemi mu 537 E.E.T., Yakuwa yakakasa nti bayita mu kkubo eddungi. Yabagamba nti: “Mulongoose ekkubo ery’abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja.” (Is. 62:10) Kiki Abayudaaya kye bayinza okuba nga baakola okusobola okugondera ekiragiro ekyo? Abamu ku bo bayinza okuba nga baakulemberamu baganda baabwe ne bagenda nga beerula ekkubo era nga baziba ebinnya ebyalimu. Okukola ekyo kiteekwa okuba nga kyayamba nnyo baganda baabwe abaali babavaako emabega.

Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo. Yakuwa tayagala wabeewo kintu kyonna kitulemesa kutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo. Bayibuli egamba nti: “Tereezanga ekkubo ery’ebigere byo, era amagenda go gonna ganywerenga.” (Nge. 4:26) K’obe mukulu oba muto, okukolera ku magezi ago kijja kukuganyula nnyo.

SALAWO MU NGERI EY’AMAGEZI

Bayibuli egamba nti: “Abalenzi ekitiibwa kyabwe [ge] maanyi gaabwe.” (Nge. 20:29) Abavubuka abasinga obungi balina amaanyi mangi, balamu bulungi, bajagujagu, era baagala nnyo okutuuka ku buwanguzi mu bulamu. Omuvubuka bw’akozesa obulungi ebitone bye n’amaanyi ge okuweereza Yakuwa, kisobola okumuyamba okutuuka ku biruubirirwa bye eby’omwoyo, ekyo ne kimuleetera essanyu lingi.

Abantu abamu mu nsi nabo beetegereza ebitone abavubuka Abakristaayo bye balina. Singa omuvubuka Omukristaayo akola bulungi ku ssomero, abasomesa be oba bayizi banne bayinza okumukubiriza okugenda ku yunivasite asobole okutuuka ku buwanguzi mu nsi eno. Oba singa aba akola bulungi mu by’emizannyo, abalala bayinza okumukubiriza okugenda mu maaso n’emizannyo egyo asobole okututumuka. Wali weesanzeeko mu mbeera ng’eyo, oba omanyiyo mukkiriza munno ali mu mbeera ng’eyo? Kiki ekiyinza okuyamba Omukristaayo okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

Emisingi gya Bayibuli gisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Omubuulizi 12:1 wagamba nti: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.” Oyinza atya ‘okujjukira Omutonzi wo,’ oba oyinza otya okuyamba omulala okukola kye kimu?

Lowooza ku muvubuka Omukristaayo ayitibwa Erica abeera mu bugwanjuba bwa Afirika. Yali anyumirwa nnyo okusamba omupiira. We yawereza emyaka 15, yali ku ttiimu y’eggwanga era yali ayolekedde okutwalibwa e Bulaaya yeeyongere okutendekebwa asobole okukuguka mu kusamba omupiira. Kati olwo kiki Eric kye yandikoze okulaga nti ‘ajjukira Omutonzi we’? Era ekyo kituyigiriza ki?

Bwe yali akyali mu ssomero, Eric yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Ebyo bye yayiga byamuyamba okukiraba nti Katonda y’ajja okugonjoola ebizibu byonna abantu bye balina. Eric yakiraba nti kikulu nnyo okukozesa ebiseera bye n’amaanyi ge okuweereza Yakuwa. Era yakiraba nti tekiba kya magezi kwemalira ku bya mizannyo. Eric yabatizibwa era ne yeemalira ku kuweereza Katonda. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Eric yafuuka omuweereza mu kibiina era oluvannyuma n’ayitibwa mu Ssomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina.

Singa Eric yeemalira ku by’emizannyo, oboolyawo yanditutumuse era n’agaggawala. Kyokka yalowooza ku musingi gwa Bayibuli guno: “Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky’amaanyi, era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye.” (Nge. 18:11) Mu butuufu, obugagga tebuwa bukuumi bwa nnamaddala. Ate era, abo abamaliridde okugaggawala emirundi mingi “beereetera obulumi bungi.”​—1 Tim. 6:9, 10.

Leero waliwo abavubuka bangi abasazeewo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna era ekyo kibaleetedde essanyu lingi. Eric agamba nti: “Nneegasse ku ‘ttiimu’ ey’amaanyi ey’abaweereza ba Yakuwa abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Eyo ye ttiimu esingayo obulungi gye nsobola okubeeramu. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okundaga ekkubo erituusa ku ssanyu erya nnamaddala n’obuwanguzi mu bulamu.”

Ate ggwe? Mu kifo ky’okuluubirira ebintu by’ensi, lwaki teweemalira ku kuweereza Yakuwa, oboolyawo ng’oweereza nga payoniya?​—Laba akasanduuko “Ebintu Bye Sandisobodde Kufuna ku Yunivasite.”

GGYAWO EMIZIZIKO MU KKUBO LYO

Lumu ow’oluganda omu ne mukyala we bwe baakyalako ku ofiisi y’ettabi ey’omu Amerika, baakiraba nti Ababeseri bonna abaaliyo baali basanyufu nnyo. Mukyala we yagamba nti: “Twakiraba nti twalina ebintu bingi ebyali bituuliira obudde.” Oluvannyuma, ow’oluganda oyo ne mukyala we baasalawo okwerekereza ebintu ebimu basobole okufuna ebiseera ebisingawo okuweereza Yakuwa.

Enkyukakyuka ow’oluganda oyo ne mukyala we ze baalina okukola tezaali nnyangu. Naye lumu baasoma ekyawandiikibwa ky’olunaku ne kibakwatako nnyo. Ekyawandiikibwa ekyo kyali kivudde mu Yokaana 8:31, Yesu we yagambira nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala.” Oluvannyuma lw’okusoma ekyawandiikibwa ekyo, baakiraba nti baalina okubaako ebintu bye beefiiriza. Baatunda ennyumba yaabwe ennene, ne beggyako ebintu ebimu bye baali tebeetaaga, era ne bagenda okuweereza mu kibiina omwali obwetaavu obusingako. Kati baweereza nga bapayoniya, era bayambako mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’okuteekateeka ebifo awaba wagenda okubeera enkuŋŋaana ennene. Ow’oluganda oyo ne mukyala we bawulira batya? Bagamba nti: “Okubaako ebintu bye twerekereza okusobola okwemalira ku kuweereza Yakuwa kituleetedde essanyu lingi.”

WEEYONGERE OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO

Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Amaaso go gatunulenga butereevu mu maaso. Tomagamaga.” (Nge. 4:25, NW) Okufaananako omuvuzi w’ekidduka eyeekaliriza gy’alaga, naffe tusaanide okwewala ebintu ebiyinza okutuwugula ne tulemererwa okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo.

1. Abajulirwa ba Yakuwa abakyali abavubuka nga baweereza Yakuwa mu bujjuvu; 2. Ekkubo eririmu emiziziko

Biruubirirwa ki by’osobola okweteerawo? Osobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, okuweereza mu kibiina omuli obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, oba okuweereza mu kibiina omuli obwetaavu bw’abaweereza n’abakadde. Bw’oba wandyagadde okugaziya ku buweereza bwo mu ngeri ng’ezo, yogerako n’omulabirizi w’ekitundu kyammwe akuwe ku magezi. Ate singa oyagala okugenda okuweereza mu bibiina eby’esudde awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, osobola okuwandiikira ofiisi y’ettabi n’ekubuulira ebisingawo.b

Ka tuddemu tulowooze ku bigambo ebiri mu Isaaya 62:10. Abayudaaya bwe baali baddayo ku butaka e Yerusaalemi, abamu ku bo bayinza okuba nga baakola butaweera okulaba nti batereeza ekkubo bannaabwe abaali babavaako emabega mwe bandiyise. Bwe kiba nti ofuba okutuuka ku biruubirirwa byo eby’omwoyo, tolekulira. Katonda asobola okukuyamba okubituukako. Weeyongere okusaba Yakuwa akuwe amagezi nga bw’ofuba okuggyawo emiziziko egiyinza okukulemesa okukulaakulana mu by’omwoyo. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuyamba ‘okutereeza ekkubo ly’ebigere byo.’​—Nge. 4:26.

a Erinnya likyusiddwa.

b Laba akatabo Organized to Do Jehovah’s Will, olupapula 111-112.

Ebintu Bye Sandisobodde Kufuna ku Yunivasite

Flavia

FLAVIA bwe yali akyali muto, jjajjaawe eyali Omujulirwa wa Yakuwa yayogerako naye ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Naye, olw’okuba kitaawe yali musomesa, yamukubirizanga okuyiga ebikwata ku butonde n’okufuna obuyigirize obwa waggulu. Waliwo n’abantu abalala abaamugamba nti, “Omulembe gwammwe gusobola okutaasa ensi eno n’erema kusaanawo.” Kitaawe yamutwala mu emu ku yunivasite ez’amaanyi era ng’ali eyo, yatandika okunoonyereza ku ngeri y’okukolamu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo ebitayonoona butonde bwa nsi.

Nga wayise ekiseera kitono, Flavia yakiraba nti bangi ku bayizi banne eby’okutaasa ensi si bye baaliko. Ate era okuva bwe kiri nti abayizi bwe baabanga bagenda okunoonyereza, amakolero agatali gamu gaabawanga ssente ez’okukozesa, ekyo kyabaleeteranga okwewala okugoogerako obubi. Ekyo Flavia kyamuyisanga bubi. Bwe yasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, yaddamu okwagala okuyiga ebikwata ku Katonda n’ebikwata ku biseera eby’omu maaso.

Flavia yatandika okuyiga Bayibuli era oluvannyuma n’abatizibwa. Naye olw’okuba yali akyali ku yunivasite, teyabanga na biseera bimala kubuulira. Lumu yawuliriza omulabirizi w’ekitundu ng’annyonnyola Yakobo 4:17, awagamba nti: “Omuntu bw’amanya engeri y’okukolamu ekituufu naye n’atakikola aba akoze ekibi.” Ekyo kyaleetera Flavia okwekebera mu bwesimbu. Agamba nti: “Nnali njagala okufuna emikisa gya Yakuwa ate nga mu kiseera kye kimu njagala okweyongerayo n’emisomo gyange egya sayansi. Nnalina okulondako kimu ku byo.”

Flavia yasalawo okuva ku yunivasite. Yejjusa olw’okusalawo bw’atyo? Nedda. Agamba nti:

“Nfunye ebirungi bingi mu kuweereza Yakuwa bye sandisobodde kufuna ku yunivasite. Yakuwa abadde mulungi nnyo gyendi. Anjigirizza okuba omuntu ow’ekisa, ayagala abalala, era ayamba abalala mu by’omwoyo. Nfunye essanyu mu bufumbo bwange era kati ebiseera byange eby’omu maaso bitangaavu. Ebyo byonna sandisobodde kubifuna kuyitira mu sayansi. Yakuwa yekka y’asobola okutaasa ensi era ndi mumalirivu okumunywererako.” Kati Flavia n’omwami we baweereza ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu New York.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share