LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 5/1 lup. 11
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Dawudi ne Goliyaasi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • “Olutalo lwa Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 5/1 lup. 11

OBADDE OKIMANYI?

Lwaki abamenyi b’amateeka abaakomererwanga baamenyebwanga amagulu?

Ebitabo by’Enjiri biraga nti Yesu n’abamenyi b’amateeka bwe baali bakomereddwa ku miti, ‘Abayudaaya baasaba Piraato abakkirize bamenye amagulu gaabwe n’emirambo gyabwe giwanulweyo.’​—Yokaana 19:31.

Yesu ng’akomereddwa ku muti

Amateeka Katonda ge yawa Abayudaaya gaali gagamba nti omumenyi w’amateeka bwe yakomererwanga ku muti, omulambo gwe gwali ‘tegulina kusula ku muti.’ (Ekyamateeka 21:22, 23) Abaruumi bwe baakomereranga omumenyi w’amateeka, Abayudaaya bayinza okuba nga baagobereranga enkola y’emu ey’okumenya amagulu ge. Abasajja abaakomererwa ne Yesu baamenyebwa amagulu basobole okufa amangu, era baziikibwe ng’enjuba tennagwa kubanga olunaku lwa Ssabbiiti lwatandikanga enjuba emaze okugwa.

Bateekanga omuntu ku muti ne bagatta emikono gye ne bagikomereramu omusumaali era ne bakola kye kimu ne ku bigere bye. Oluvannyuma baasimbanga omuti kwe bakomeredde omuntu, n’abeera okwo ng’awulira obulumi obw’amaanyi. Omuntu oyo buli lwe yassanga, obulumi bweyongeranga olw’omusumaali ogwabanga gukomereddwa mu bigere bye. Kyokka amagulu bwe gaabanga gamenyeddwa, yabanga tasobola kussa bulungi. Ekyo kyamuviirangako okufa amangu olw’ekiziyiro, oba olw’obulumi.

Envuumuulo zaakozesebwanga zitya mu ntalo ez’edda?

Dawudi yakozesa nvuumuulo okutta Goliyaasi. Dawudi ayinza okuba nga yayiga okukozesa envuumuulo mu biseera we yalundiranga endiga ng’akyali mulenzi muto.​—1 Samwiri 17:40-50.

Ekifaananyi ekiriko abalwanyi ba Bwasuli abaakozesanga envuumuulo

Abalwanyi ba Bwasuli nga bawuuba envuumuulo nga balumbye ekibuga ky’Abayudaaya

Abamisiri n’Abaasuli baakolanga ebifaananyi ebiriko abalwanyi abakutte envuumuulo. Okusobola okukola envuumuulo baddiranga akagoye oba akaliba ne bakasibako obuguwa bubiri. Omulwanyi yateekanga ejjinja eryetooloovu mu nvuumuulo n’agiwuuba, oluvannyuma n’ata akamu ku buguwa obwo ejjinja ne liva mu nvuumuulo nga liddukira ku sipiidi ya maanyi nnyo ne likuba omulabe.

Abayiikuula eby’omu ttaka baavumbula mu Buwalabu amayinja mangi abalwanyi ge baakozesanga mu ntalo. Abalwanyi abakugu abaakozesanga envuumuulo kigambibwa nti ejjinja lye baakasukanga lyaddukiranga ku sipiidi ya maanyi nnyo. Abawandiisi b’ebitabo abamu bagamba nti ejjinja eryakasukibwanga lyagwanga wala ng’akasaale gye kagwa.​—Ekyabalamuzi 20:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share