Oluyimba 50
Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala
1. Katonda waffe, atuteereddewo
Ffe ffenna,
Ne bonna,
Eky’okukoppa, tulyoke tuleme,
Okuwaba,
Okuwaba.
Ekkubo lino, lisikiriza nnyo;
Likubiriza ’bikolwa ’birungi,
Eby’emirembe; Lissaawo obumu.
Lya kwagala.
Yee, lya kwagala.
2. Bwe tumukoppa, okwagala kwaffe
Kubeera
Kwa maanyi;
Kutuleetera okuyambagana
Ffe mu byonna,
Ffe mu byonna;
Tusonyiwenga ’nsobi za bannaffe,
Ffe twolekere ddala okwagala,
Tufaananenga Kitaffe Yakuwa,
Nga twagala,
Ab’oluganda.
3. Ffe tuweereza Yakuwa Katonda
Bulijjo,
Bulijjo,
Tumugondera n’omutima gwaffe,
Tumutenda,
Tumutenda.
Ka tubuulire bonna erinnya lye,
Bategeerere ddala amazima.
Omulimu gwe tugunyiikirire;
Kwe kwagala,
Kwa nnamaddala.
(Era laba Bar. 12:10; Bef. 4:3; 2 Peet. 1:7.)