-
Bw’Ofiirwa Omuntu WoOmunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 3
-
-
EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU
Bw’Ofiirwa Omuntu Wo
“Katonda amukoledde ekisingayo obulungi . . . Tokaaba.”
Omukyala ayitibwa Bebe ye yagambibwa ebigambo ebyo ng’akaaba olw’okufiirwa taata we gwe yali ayagala ennyo. Taata we yali afiiridde mu kabenje.
Mukwano gwe ye yamugamba ebigambo ebyo ng’ayagala okumubudaabuda, naye ebigambo ebyo byayongera kumunakuwaza. Bebe yagambanga nti “Okufa kwa taata si kintu kirungi n’akamu.” Nga wayiseewo emyaka egiwerako, Bebe yawandiika ku kufa kwa kitaawe era bye yawandiika byalaga nti yali akyali munakuwavu.
Omuntu bw’afiirwa, kiyinza okumutwalira ekiseera kiwanvuko okuguma, naddala singa abadde ayagala nnyo oyo afudde. Bayibuli okufa ekuyita “omulabe.” (1 Abakkolinso 15:26) Okufa tekwewalika, era kujja nga tetukwetegekedde ne kututwalako abantu baffe be twagala ennyo. Tewali ayinza kwewala bulumi okufa bwe kuleeta. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti bwe tufiirwa kituzibuwalira okugumira ennaku gye tuba nayo.
Oboolyawo wali weebuuzizzaako nti: ‘Omuntu bw’afiirwa kimutwalira bbanga ki okuguma? Omuntu afiiriddwa ayinza okugumira ennaku? Nnyinza ntya okubudaabuda omuntu afiiriddwa? Abantu abaafa baliddamu okuba abalamu?’
-
-
Kiba Kikyamu Okunakuwala?Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 3
-
-
EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BW’OFIIRWA OMUNTU WO
Kiba Kikyamu Okunakuwala?
Wali olwaddeko? Oyinza okuba nga wawona mangu era nga kati n’obulumi wabwerabira. Naye bwe kityo si bwe kiba ng’omuntu afiiriddwa. Dr. Alan Wolfelt yawandiika bw’ati mu kitabo kye ekiyitibwa Healing a Spouse’s Grieving Heart, “Ennaku y’okufiirwa omwagalwa wo teyinza kukuggwaako.” Naye agattako nti: “Oluvannyuma lw’ekiseera era nga n’abalala bakugumizza, ennaku ekendeera.”
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Ibulayimu gye yawuliramu ng’afiiriddwa mukazi we Saala. Bayibuli egamba nti: “Ibulayimu n’akungubagira Saala era n’amukaabira.” Ekigambo “n’akungubagira” kiraga nti Ibulayimu kyamutwalira ekiseera okuguma.a Ate era lowooza ne ku Yakobo, batabani be gwe baalimba nti ensolo enkambwe yali esse mutabani we Yusufu. Yakobo yakungubaga “okumala ennaku nnyingi,” era n’ab’omu maka ge tebaasobola kumubudaabuda. Ne bwe waali wayiseewo emyaka mingi, yali akyalowooza ku Yusufu.—Olubereberye 23:2; 37:34, 35; 42:36; 45:28.
Ibulayimu yakungubagira Saala
Ne leero abantu abafiiriddwa abaagalwa baabwe bamala ekiseera kiwanvu nga banakuwavu. Lowooza ku byokulabirako bino.
Gail, ow’emyaka 60 agamba nti: “Omwami wange, Robert, yafa nga Jjulaayi 9, 2008. Olunaku lwe yafiirako lwali ng’endala zonna. Bwe twamala okulya eky’enkya, nga tannagenda kukola, twegwa mu kafuba, era ne twesiibula bulungi buli omu n’agamba munne nti ‘Nkwagala nnyo.’ Kati wayiseewo emyaka mukaaga naye nkyawulira obulumi ku mutima. Sisuubira nti ennaku y’okufiirwa omwami wange erinzigwaako.”
Etienne, ow’emyaka 84 agamba nti: “Wadde nga wayiseewo emyaka 18 bukya nfiirwa mukyala wange, nkyamulowoozaako era mpulira ennaku. Buli lwe ndaba ekintu ekirabika obulungi, mmujjukira era ne ndowooza ku ngeri gye yandinyumiddwamu okulaba ebintu bye ndaba.”
Si kikyamu omuntu okuwulira bwatyo ng’afiiriddwa. Buli muntu anakuwala mu ngeri ya njawulo, era tekiba kituufu okunenya omuntu bw’anakuwala mu ngeri eyawukana ku yiyo. Ate era tetusaanidde kulowooza nti kikyamu okunawula ennyo. Kati olwo tuyinza tutya okuguma?
a Isaaka mutabani wa Ibulayimu naye yanakuwala okumala ekiseera kiwanvu. Nga bwe kiragiddwa mu kitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe” ekiri mu katabo kano, Isaaka yali akyakungubagira maama we Saala eyali yafa emyaka esatu emabega.—Olubereberye 24:67.
-
-
Ebiyinza Okukuyamba OkugumaOmunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 3
-
-
EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BW’OFIIRWA OMUNTU WO
Ebiyinza Okukuyamba Okuguma
Waliwo abantu bangi abawa amagezi ku nsonga eno. Kyokka, si buli magezi agaweebwa nti gayamba. Ng’ekyokulabirako, omuntu omu ayinza okukugamba obutakaaba oba obutanakuwala mu ngeri yonna. Ate abalala bayinza okukubiriza okukaaba oba okunakuwala ennyo. Naye amagezi Bayibuli g’ewa malungi nnyo era gakwatagana n’ebyo abanoonyereza ku nsonga eno bye bazudde.
Mu mawanga agamu, kitwalibwa nti omusajja talina kukaaba. Naye ddala kikyamu okukaaba ne bwe wabaawo abantu abalala? Abanoonyereza ku by’obulamu bakizudde nti kya bulijjo omuntu okukaaba ng’anakuwadde. Ate era okukaaba kuyinza okuyamba omuntu okuguma okumala akaseera wadde nga munakuwavu nnyo. Kyokka omuntu bwe yeegumyagumya ng’ate alina ennyiike ku mutima kiba kya kabi gy’ali. Bayibuli tewagira ndowooza egamba nti kikyamu okunakuwala oba nti abasajja tebalina kukaaba. Lowooza ku Yesu. Mukwano gwe Laazaalo bwe yafa, yakaabira mu lujjudde lw’abantu wadde nga yali akimanyi nti agenda kumuzuukiza!—Yokaana 11:33-35.
Omuntu asobola okuwulira obusungu naddala bw’afiirwa omuntu we ng’abadde takisuubira. Waliwo ensonga nnyingi eziyinza okuviirako omuntu afiiriddwa okuwulira obusungu; gamba singa omuntu gw’assaamu ekitiibwa ayogera ebigambo ebimalamu amaanyi. Mike abeera mu South Africa agamba nti: “Taata yafa nga ndi wa myaka 14 gyokka. Munnaddiini eyajja ku mukolo gw’okuziika yagamba nti Katonda atwala abantu abalungi mu ggulu abeere nabo eyo.a Kino kyannyiiza nnyo kubanga taata ye yali atulabirira. Kati wayiseewo emyaka 63, naye ebigambo ebyo bikyannuma.”
Naye ate singa omuntu alowooza nti y’aviiriddeko omuntu we okufa? Singa omuntu afa mu ngeri ey’ekibwatukira, oli ayinza okugamba nti ‘omuntu wange teyandifudde singa nnabaddeko ne kye nkolawo.’ Oba oyinza okuba nga lwe wasembyeyo okusisinkana n’omugenzi mwabadde n’obutakkaanya. Ekyo kiyinza okukwongera ennaku.
Bw’oba owulira bw’otyo, tosirika busirisi. Tegeezaako mukwano gwo anaakuwuliriza obulungi era anaakukakasa nti kya bulijjo abantu abali mu mbeera gy’olimu okuwulira bwe batyo. Bayibuli egamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”—Engero 17:17.
Ow’omukwano asingayo obulungi mu biro eby’okulaba ennaku ye Mutonzi waffe, Yakuwa Katonda. Mutegeeze byonna ebikuli ku mutima kubanga ‘akufaako.’ (1 Peetero 5:7) Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” (Abafiripi 4:6, 7) Ate era kkiriza Katonda akubudeebude ng’osoma Ekigambo kye Bayibuli. Kola olukalala lw’ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi, gamba ng’ebyo ebiragiddwa mu kasanduuko. Ebimu ku byo oyinza n’okubikwata mu mutwe. Okulowooza ku byawandiikibwa ng’ebyo kijja kukuyamba nnyo naddala ekiro ng’oli wekka era ng’otulo tukubuze.—Isaaya 57:15.
Gye buvuddeko, omwami gwe tujja okuyita Jack ow’emyaka 40, yafiirwa mukyala we. Jack agamba nti oluusi awulira ekiwuubaalo kya maanyi nnyo, naye okusaba kumuyambye nnyo. Agamba nti: “Bwe nsaba Yakuwa siwulira kiwuubaalo. Oluusi otulo tumbula ekiro ne ntuula. Naye oluvannyuma lw’okusoma ebyawandiikibwa ebibudaabuda era n’okusaba, nfuna emirembe mu mutima ne nziramu ne nneebaka bulungi.”
Omuwala ayitibwa Vanessa yafiirwa maama we. Naye okusaba kwamuyamba nnyo. Agamba nti: “Mu kiseera we nnawuliriranga ennaku ey’amaanyi, nnakaabanga bukaabi. Yakuwa yawulirizanga okusaba kwange era n’ampa amaanyi ge nnabanga nneetaaga.”
Abawi b’amagezi abamu bakubiriza abo ababa abanakuwavu, okuyamba abalala oba okukola emirimu gya bulungi bwa nsi. Ekyo kireeta essanyu era kikendeeza ku nnaku omuntu gy’aba nayo. (Ebikolwa 20:35) Abaweereza ba Katonda bangi nabo bakizudde nti okuyamba abalala kibudaabuda nnyo.—2 Abakkolinso 1:3, 4.
a Bayibuli teyigiriza nti Katonda atta abantu n’abatwala mu ggulu. Eyogera ku bintu bisatu ebiviirako abantu okufa.—Omubuulizi 9:11; Yokaana 8:44; Abaruumi 5:12.
-
-
Okubudaabuda AbafiiriddwaOmunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 3
-
-
EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BW’OFIIRWA OMUNTU WO
Okubudaabuda Abafiiriddwa
Wali obaddeko mu mbeera nga mukwano gwo afiiriddwa naye nga tomanyi ngeri ya kumubudaabudamu? Oluusi tubulwa eky’okwogera oba eky’okukola n’ekivaamu ne tusirika busirisi. Naye waliwo bye tusobola okukola okubudaabuda omuntu afiiriddwa.
Oluusi weetaaga kubeerawo bubeezi n’okumugamba ebigambo ebitonotono gamba nga “Kitalo nnyo!” Mu mawanga agamu, omuntu abudaabudibwa bw’omugwa mu kafuba oba bw’omukwata ku kibegaabega. Bw’aba aliko ky’ayagala okukugamba, muwulirize bulungi. N’ekisinga obukulu, baako ky’okolera ab’omu maka g’omuntu afiiriddwa gamba ng’okubayambako ku mirimu, okulabirira abaana, n’okuteekateeka eby’okuziika. Ebikolwa ng’ebyo bisinga okwogera obwogezi.
Oluvannyuma lw’ekiseera, oyinza okwogera ku birungi omugenzi by’abadde akola. Emboozi ng’eyo eyinza n’okuleeta akaseko ku matama g’oyo afiiriddwa. Ng’ekyokulabirako, omukyala ayitibwa Pam, eyafiirwa omwami we emyaka mukaaga egiyise agamba nti: “Oluusi abantu bambuulira ebintu ebirungi omwami wange bye yakolanga era ekyo kindeetera okuwulira obulungi.”
Eky’ennaku, kizuuliddwa nti omuntu afiibwako nnyo bw’aba yaakafiirwa naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono mikwano baddayo ku mirimu gyabwe ne bamwerabira. N’olwekyo kiba kirungi okweyongera okuwuliziganya ne mukwano gwo eyafiirwa.a Bangi basiima nnyo bwe bafiibwako bwe batyo era kibayamba okuguma.
Lowooza ku Kaori, abeera e Japaani eyafiirwa maama we ate oluvannyuma lw’ebbanga lya mwaka nga gumu n’afiirwa muganda we omukulu. Agamba nti, mikwano gye beeyongera okumubudaabuda. Omu ku mikwano gye ayitibwa Ritsuko omukulu okumusinga yamusuubiza obutamuva ku lusegere. Kaori agamba nti: “Mu kusooka ekyo tekyansanyusa kubanga nnali saagala muntu yenna adde mu kifo kya maama, era nnali sisuubira nti waliwo omuntu yenna ayinza okubeera nga maama. Kyokka olw’engeri Ritsuko gye yampisaamu, yafuuka nga maama wange. Buli wiiki, twagendanga ffenna okubuulira ne mu kusinza. Yankyazanga ne tunywako ka caayi, yandeeteranga emmere, era yampeerezanga amabaluwa ne kaadi. Ritsuko yambudaabuda nnyo.”
Wayiseewo emyaka 12 bukya maama wa Kaori afa era kati Kaori n’omwami we babuulizi ab’ekiseera kyonna. Kaori agamba nti: “Ritsuko akyanfaako. Buli lwe nzirayo eka, mmukyalira ne tunyumya.”
Omuntu omulala eyaganyulwa mu kubudaabudibwa ye Poli, Omujulirwa wa Yakuwa abeera mu Cyprus. Omwami we yali wa kisa nnyo era yateranga okukyaza bannamwandu ne bamulekwa ne baliirako wamu. (Yakobo 1:27) Eky’ennaku, omwami wa Poli yafuna ekizimba ku bwongo era n’afa ng’alina emyaka 53. Poli agamba nti: “Nnafiirwa omwami wange omwagalwa gwe nnali mmaze naye emyaka 33 mu bufumbo.”
Baako ky’okola okuyamba abo abali mu nnaku
Oluvannyuma lw’okuziika omwami we, Poli yasengukira mu Canada ne mutabani we ayitibwa Daniel ow’emyaka 15. Nga bali eyo, beeyongera okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Poli agamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kibiina ekyo baali tebamanyi bizibu bye twafuna naye batufuula mikwano gyabwe era baatuyamba nnyo. Obuyambi obwo bwajjira mu kiseera mutabani wange we yali yeetaagira ennyo okubeera ne kitaawe. Ab’oluganda abaalina obuvunaanyizibwa mu kibiina ekyo, baali bafaayo nnyo ku Daniel. Omu ku bo yayitanga Daniel okuzannyirako awamu n’abalala akapiira.” Ekyo kyayamba Poli ne mutabani we okuguma.
Mu butuufu, waliwo ebintu bingi bye tusobola okukola okubudaabuda abo abali mu nnaku. Bayibuli nayo etubudaabuda ng’etuwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.
a Abamu balamba ku kalenda yaabwe olunaku mukwano gwabwe lwe yafiirwa kibajjukize okumubudaabuda.
-
-
Abafu Bajja Kuddamu Okuba Abalamu!Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 3
-
-
EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BW’OFIIRWA OMUNTU WO
Abafu Bajja Kuddamu Okuba Abalamu!
Gail gwe twayogeddeko yagamba nti tasuubira obanga ennaku ey’okufiirwa omwami we erimuggwaako. Naye yeesunga okuddamu okulaba omwami we mu nsi empya Katonda gye yatusuubiza. Agamba nti: “Okubikkulirwa 21:3, 4 kye kyawandiikibwa kye nsinga okwagala.” Kigamba nti: “Katonda kennyini anaabeeranga wamu nabo. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”
Gail agamba nti: “Ekyawandiikibwa ekyo kimbudaabuda nnyo. Nnumirirwa nnyo abo abaafiirwa abantu baabwe kyokka nga tebamanyi nti waliyo essuubi ery’okuddamu okulaba abantu baabwe abaafa.” N’olwekyo, Gail amala ebiseera bingi ng’abuulira abantu ku kisuubizo kya Katonda ekigamba nti mu biseera eby’omu maaso, “okufa tekulibaawo nate.”
Yobu yali mukakafu nti yandizzeemu okuba omulamu
Kikuzibuwalira okukkiriza nti abafu bajja kuddamu okuba abalamu? Bwe kiba bwe kityo, lowooza ku Yobu eyalwala obulwadde obw’amaanyi. (Yobu 2:7) Wadde nga Yobu yabonaabona nnyo n’atuuka n’okwagala okufa, yali akkiriza nti Katonda asobola okumuzuukiza n’addamu okubeera omulamu ku nsi. Yagamba nti: “Kale singa onkwese emagombe . . . Olimpita, nange ndikuyitaba. Olyagala nnyo omulimu gw’engalo zo.” (Yobu 14:13, 15) Yobu yali mukakafu nti Katonda we yandimuzuukizza.
Ekyo kyennyini Katonda ky’anaatera okukolera Yobu awamu n’abantu abalala, ng’ensi emaze okufuulibwa olusuku lwa Katonda. (Lukka 23:42, 43) Bayibuli egamba nti: “Wajja kubaawo okuzuukira.” (Ebikolwa 24:15) Ate era Yesu yagamba nti: “Temwewuunya kino, kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29) Yobu ajja kulaba ekisuubizo ekyo nga kituukiriziddwa. ‘Omubiri gwe gujja kudda buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka, era ajja kuba n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.’ (Yobu 33:24, 25) Abantu abalala bonna abakkiririza mu kisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abantu baddemu okubeera ku nsi, nabo bajja kuba nga Yobu.
Bw’oba nga wafiirwa omuntu wo gw’oyagala ennyo, ebintu by’osomye mu katabo kano biyinza obutamalirawo ddala nnaku gy’olina. Naye bw’ofumiitiriza ku bisuubizo bya Katonda by’osomyeko mu katabo kano, ojja kufuna essuubi erinaakuyamba okuguma.—1 Abassessalonika 4:13.
Wandyagadde okumanya ebirala ebisobola okukuyamba okugumira ennaku? Oba olina ebibuuzo ebirala bye weebuuza gamba nga kino: “Lwaki Katonda taggyaawo bikolwa bibi n’okubonaabona?” Ebibuuzo ng’ebyo biddibwamu ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, jw.org/lg.
-