LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 6 lup. 16
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Katonda addamu essaala z’abantu bonna?
  • Waliwo engeri ey’enjawulo gye tulina okubaamu nga tusaba?
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Katonda Anaddamu Essaala Zange?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okusemberera Katonda mu Kusaba
    Katonda Atwetaagisa Ki?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 6 lup. 16
Omukazi ng’asaba

Biki Bye Tuyiga Mu Bayibuli?

Katonda addamu essaala z’abantu bonna?

OLOWOOZA OTYA?

  • Addamu essaala z’abantu bonna

  • Adamu essaala z’abantu abamu

  • Taddamu ssaala za muntu yenna

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Yakuwa ali kumpi n’abo bonna . . . abamukoowoola mu mazima.”​—Zabbuli 145:18.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Katonda tawulira ssaala z’abantu abatagondera mateeka ge. (Isaaya 1:15) Kyokka, Katonda asobola okuwulira essaala z’abantu ng’abo singa balekera awo okukola ebintu ebibi ne bakola by’ayagala.​—Isaaya 1:18.

  • Katonda okusobola okuddamu essaala z’omuntu, omuntu oyo by’asaba birina okuba nga bituukana n’ebyo Katonda by’ayagala.​—1 Yokaana 5:14.

Waliwo engeri ey’enjawulo gye tulina okubaamu nga tusaba?

ABANTU ABAMU BALOWOOZA nti bwe baba basaba balina okufukamira, oba okukutamya ku mutwe. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Bayibuli eraga nti Katonda yawuliriza essaala z’abantu abaasaba nga ‘batudde,’ nga ‘bayimiridde,’ nga ‘beeyaze wansi,’ oba nga ‘bafukamidde.’ (1 Ebyomumirembe 17:16; 2 Ebyomumirembe 30:27; Ezera 10:1; Ebikolwa 9:40) Katonda tateekawo tteeka ku ngeri omuntu gy’alina okubaamu ng’asaba.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Katonda awuliriza essaala z’abantu abeetoowaze.​—Zabbuli 138:6.

  • Osobola okusaba mu lulimi lwonna era osobola n’okusaba mu kasirise.​—2 Ebyomumirembe 6:32, 33; Nekkemiya 2:1-6.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 17 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola n’okukafuna ku www.pr418.com/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share