-
Tewali n’Omu Asobola Kuba Muddu wa Baami BabiriOmunaala gw’Omukuumi—2014 | Apuli 15
-
-
Tewali n’Omu Asobola Kuba Muddu wa Baami Babiri
“Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri. . . . Temusobola kubeera baddu ba Katonda na ba bya Bugagga.”—MAT. 6:24.
1-3. (a) Buzibu ki ebw’eby’enfuna amaka mangi leero bwe galina, era abamu basazeewo kubugonjoola batya? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Bwe kituuka ku kukuza abaana, kiki ekitera okweraliikiriza abazadde ababa balowooza ku ky’okugenda okukolera mu nsi endala?
MARILYN agamba nti: “Omwami wange, James, yakolanga nnyo, naye nga ssente z’afuna ziggweera ku byetaago byaffe ebya buli lunaku.a Nnali njagala muwewuleko ku buvunaanyizibwa bwe yali yeetisse era nga njagala ne mutabani waffe, Jimmy, asobole okufuna ku bintu ebirungi nga banne ku ssomero bye baalina.” Marilyn era yali ayagala okuyamba ku b’eŋŋanda ze era n’okubaako ssente z’atereka ez’okubayamba mu biseera eby’omu maaso. Mikwano gya Marilyn bangi baali baagenda dda okukolera mu nsi endala basobole okufuna ssente ennyingi. Naye Marilyn bwe yalowooza ku ky’okugenda okukolera mu nsi endala, yafunamu enkenyera. Lwaki?
2 Marilyn yali tayagala kulekawo mwami we ne mutabani we. Baali basinziza wamu Yakuwa ng’amaka era ekyo kyabasanyusanga nnyo. Wadde kyali kityo, yatandika okulowooza ku abo abaali bagenze okukolera mu nsi endala naye ng’ab’omu maka gaabwe balabika ng’abali obulungi mu by’omwoyo. Ekyebuuzibwa kiri nti bwe yandibadde ebweru yandisobodde atya okukuza omwana we n’okumuyamba okuweereza Yakuwa?—Bef. 6:4.
3 Marilyn yasaba abalala bamuwe ku magezi. Omwami we yamugamba nti yali tayagala agende bweru, naye era n’amugamba nti yali wa ddembe okwesalirawo ky’ayagala okukola. Abakadde mu kibiina n’ab’oluganda abalala baamukubiriza obutagenda, naye waliwo bannyinaffe abamu abaamukubiriza okugenda. Baamugamba nti: “Bw’oba nga ddala oyagala ab’omu maka go, genda ebweru okole. Ojja kusobola n’okweyongera okuweereza Yakuwa ng’oli eyo.” Kya ddaaki, Marilyn yasiibula omwami we ne mutabani we n’agenda ebweru. Yabagamba nti: “Sigenda kumalayo bbanga ddene.”
OBUVUNAANYIZIBWA MU MAKA N’EMISINGI GYA BAYIBULI
4. Lwaki abamu basalawo okugenda okukolera mu nsi endala, era baani be batera okulekera abaana baabwe?
4 Yakuwa tayagala baweereza be kufa njala. Okuva edda n’edda wabaddengawo abantu ba Yakuwa abava mu bitundu ebimu ne badda mu birala okusobola okufuna ebyetaago eby’obulamu. (Zab. 37:25; Nge. 30:8) Okusobola okwewala okufa enjala, Yakobo yatuma batabani be e Misiri okugula emmere.b (Lub. 42:1, 2) Kyokka leero, bangi ku abo abagenda okukolera mu nsi endala tekiba nti baba babuliddwa eky’okulya. Kati olwo lwaki abantu ng’abo basalawo okulekawo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu bitundu ebirala oba mu nsi endala? Bangi ku bo baba mu mabanja. Ate abalala baba baagala okufuna ku ssente ezisingawo. Ebiseera ebisinga abo abagenda ebweru, abaana baabwe abakyali abato babalekera munnaabwe mu bufumbo, omu ku baana baabwe abakulu, bajjajjaabwe, ab’eŋŋanda, oba ab’emikwano. Wadde kiyinza okubanakuwaza okulekawo munnaabwe mu bufumbo oba abaana baabwe, bangi ku abo abagenda okukolera mu nsi endala bawulira nga tebalina kirala kya kukola.
5, 6. (a) Kiki ekisobola okuyamba omuntu okufuna essanyu n’obukuumi ebya nnamaddala? (b) Bintu ki Yesu bye yagamba abagoberezi be okusaba? (c) Mikisa ki Yakuwa gy’atuwa?
5 Mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, waaliwo abantu bangi abaavu era abantu abo bayinza okuba nga baali balowooza nti omuntu okusobola okufuna essanyu n’obukuumi ebya nnamaddala aba alina okuba ne ssente nnyingi. (Mak. 14:7) Naye Yesu yali tayagala bantu basse bwesige bwabwe mu bintu eby’akaseera obuseera. Yali ayagala obwesige bwabwe bwonna babusse mu Yakuwa, oyo agaba emikisa egy’oluberera. Mu kubuulira kwe okw’oku lusozi, Yesu yakiraga nti essanyu n’obukuumi ebya nnamaddala tebisinziira ku bya bugagga omuntu by’aba nabyo wabula bisinziira ku nkolagana omuntu gy’aba nayo ne Yakuwa.
6 Mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako, Yesu teyatugamba kusaba Katonda kutuwa bya bugagga, wabula yatugamba okumusaba atuwe “emmere yaffe eya leero,” kwe kugamba, ebyetaago byaffe ebya buli lunaku. Yagamba abo abaali bamuwuliriza nti: “Mulekere awo okweterekera eby’obugagga ku nsi . . . Wabula mweterekere eby’obugagga mu ggulu.” (Mat. 6:9, 11, 19, 20) Tuli bakakafu nti bwe tukolera ku bigambo ebyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa nga bwe yasuubiza. Tujja kusiimibwa mu maaso ge era ajja kukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. Mu butuufu, engeri yokka gye tusobola okufuna essanyu n’obukuumi ebya nnamaddala kwe kwesiga Yakuwa mu kifo ky’okwesiga eby’obugagga.—Soma Matayo 6:24, 25, 31-34.
7. (a) Obuvunaanyizibwa obw’okukuza abaana Yakuwa yabukwasa ani? (b) Lwaki abazadde bombi basaanidde okukuliza awamu abaana baabwe?
7 Bwe tuba ab’okukulembeza obutuukirivu bwa Katonda tulina okutunuulira obuvunaanyizibwa bwaffe mu maka nga Katonda bw’abutunuulira. Mu Mateeka ga Musa mwalimu omusingi guno ogukwata ne ku Bakristaayo: Abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okuweereza Yakuwa. (Soma Ekyamateeka 6:6, 7.) Obuvunaanyizibwa obwo Yakuwa yabukwasa bazadde, so si bajjajja oba omuntu omulala yenna. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo, so tova mu teeka lya nnyoko.” (Nge. 1:8) Yakuwa ayagala abazadde bombi bakulize wamu abaana baabwe basobole okubatendeka n’okubayigiriza amateeka ge. (Nge. 31:10, 27, 28) Abaana bwe bawulira ebyo bazadde baabwe bye boogera ku Yakuwa era ne balaba n’engeri gye bamuweerezaamu buli lunaku, ekyo kisobola okubakubiriza nabo okukola kye kimu.
EBIZIBU EBITASUUBIRWA
8, 9. (a) Nkyukakyuka ki ezitera okubaawo ng’omuzadde omu aleseewo ab’omu maka ge? (b) Buzibu ki obuyinza okujjawo singa abazadde baba tebabeera wamu n’abaana baabwe?
8 Bangi ku abo abasalawo okugenda okukolera mu nsi endala batera okulowooza ku bizibu ebiyinza okuvaamu, naye tebasobola kumanya bizibu byonna biyinza kuvaamu. (Nge. 22:3)c Amangu ddala nga Marilyn yaakatuuka mu nsi endala, yatandika okuwulira ekiwuubaalo. Omwami we n’omwana we nabo bakosebwa nnyo. Mutabani we Jimmy yamubuuzanga nti, “Maama, lwaki wandekawo?” Marilyn yali alowooza nti yali ajja kumalayo emyezi mitono naye yeesanga amazeeyo emyaka mingi. Ate era ekyo kyaleetawo n’obuzibu obulala. Jimmy yatandika okukyuka n’aba nga takyayagala kwogera naye. Marilyn agamba nti kyamuluma nnyo okukiraba nti mutabani we yali takyamwagala.
9 Abaana n’abazadde bwe baba tebabeera wamu, okwagala buli omu kw’alina eri munne kusobola okukendeera era n’empisa z’abaana ziyinza okwonooneka.d Ate singa abaana baba bakyali bato nnyo ne bamala ebbanga ddene nga tebali wamu na bazadde baabwe, bayisibwa bubi nnyo. Marilyn yagambanga Jimmy nti yali agenze kukolerera ye. Naye Jimmy ye yali awulira nti maama we yali amwabulidde. Mu kusooka Jimmy yali tayagala maama we amulekewo. Kyokka ekiseera kyatuuka ne kiba nti maama we ne bwe yabanga akomyewoko awaka, Jimmy yabanga ayagala addeyo. Okufaananako abaana bangi abalekebwawo bazadde baabwe, Jimmy yali awulira nti tekimukakatako kwagala maama we na kumugondera.—Soma Engero 29:15.
Tosobola kugwa mwana wo mu kifuba ng’oyitira ku Intaneeti (Laba akatundu 10)
10. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa omuzadde awa buwi omwana we ebirabo mu kifo ky’okubeerawo okumukuza? (b) Omuzadde bw’aba tabeera wamu na baana be, kiki ky’atasobola kukola?
10 Wadde nga Marilyn yaweerezanga Jimmy ssente n’ebirabo ng’ayagala okumusanyusa, yakizuula nti ekyo kyali tekimuyamba kuba na nkolagana nnungi ne mutabani we. Ate era ekyo kyali kireetera mutabani we okulowooza nti okuba ne ssente kikulu nnyo okusinga okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’ab’omu maka go. (Nge. 22:6) Eky’ennaku, Jimmy yagamba maama we nti, “Tokomawo, ggwe mpeereza buweereza birabo.” Marilyn yatandika okukiraba nti yali tasobola kukuza bulungi mwana we ng’awuliziganya buwuliziganya naye ku ssimu oba ku Intaneeti. Agamba nti, “Tosobola kugwa mwana wo mu kifuba ng’oyitira ku Intaneeti.”
Kabi ki akayinza okubaawo singa tobeera wamu ne munno mu bufumbo? (Laba katundu 11)
11. (a) Omuntu bw’agenda okukolera mu nsi endala ng’aleseewo munne mu bufumbo, kikosa kitya obufumbo bwe? (b) Kiki ekyayamba Marilyn okukiraba nti yali yeetaaga okuddayo okubeera awamu n’ab’omu maka ge?
11 Enkolagana Marilyn gye yalina ne Yakuwa awamu n’omwami we nayo yanafuwa. Yatandika okwosaayosa enkuŋŋaana ate ne mukama we ku mulimu yali amwegwanyiza. Olw’okuba Marilyn ne James baali tebakyabeera wamu, bwe baafunanga ebizibu buli omu yabangako omuntu omulala gw’abibuulirako era baabulako katono okugwa mu bwenzi. Marilyn yakiraba nti wadde nga ye n’omwami we baali tebagudde mu bwenzi, mu kiseera ekyo buli omu yali tasobola kusasula munne ekyo “ekimugwanira.” Olw’okuba Marilyn ne James baali tebabeera wamu, buli omu yali takyasobola kukola ku nneewulira za munne. (1 Kol. 7:3, 5; Lu. 1:2) Ate era baali tebakyasobola kuweerereza wamu Yakuwa mu bujjuvu ng’amaka. Marilyn agamba nti: “Bwe twali ku lukuŋŋaana olunene ne bakikkaatiriza nti okusobola okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa olukulu, twetaaga okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa, nnakiraba nti nnalina okuddayo eka. Kyali kinneetaagisa okuddamu okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa awamu n’ab’omu maka gange.”
AMAGEZI AMALUNGI N’AMABI
12. Magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okuyamba abo abatabeera wamu na ba mu maka gaabwe?
12 Marilyn bwe yasalawo okuddayo mu nsi ye, abantu abamu baamuwa amagezi amalungi ate abalala ne bamuwa amagezi amabi. Abakadde mu kibiina baamusiima nnyo olw’okwoleka okukkiriza n’obuvumu. Kyokka ab’oluganda abamu, nga nabo abaali baleseewo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu nsi endala, baamuvumirira nnyo. Mu kifo ky’okumukoppa, baamukubirizanga kusigalayo. Baamugamba nti: “Mu kiseera kitono ojja kukomawo. Bw’onoddayo ewammwe, tojja kusobola kufuna ssente nga z’ofuna wano.” Mu kifo ky’okumalamu bakkiriza bannaabwe amaanyi nga babagamba ebigambo ng’ebyo, Abakristaayo basaanidde “okujjukiza abakazi abato okwagalanga abaami baabwe, okwagalanga abaana baabwe . . . [n’okukola] emirimu gy’awaka, . . . ekigambo kya Katonda kireme okuvumibwa.”—Soma Tito 2:3-5.
13, 14. Okusobola okunywerera ku ebyo Yakuwa by’ayagala, lwaki twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi? Waayo ekyokulabirako.
13 Bangi ku abo abalekawo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu nsi endala, bakulidde mu bantu abalowooza nti kikulu okukulembeza ebyo ab’eŋŋanda, naddala abazadde, bye baagala okusinga ekintu ekirala kyonna. N’olwekyo, Omukristaayo aba yeetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okwewala okukola ekintu ab’eŋŋanda ze kye baagala naye nga kikontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala.
14 Lowooza ku mwannyinaffe Carin. Agamba nti: “Bwe nnazaala mutabani waffe Don, nze n’omwami wange twali tukolera bweru, era nnali ntandise okuyiga Bayibuli. Ab’eŋŋanda zange bonna baali bansuubira okuweereza Don eka bazadde bange bamukuze.” Carin bwe yakiraga nti amaliridde okwekuliza omwana we, ab’eŋŋanda ze, nga mw’otwalidde n’omwami we, baamuyita munafu era ne bamusekerera. Carin agamba nti: “Ekituufu kiri nti, mu kiseera ekyo, eky’okuweereza Don eka bazadde bange bamukuze nnali sikirabamu buzibu bwonna. Kyokka nnali nkimanyi nti obuvunaanyizibwa obw’okukuza omwana waffe Yakuwa yabukwasa ffe, bazadde be.” Carin bwe yaddamu okufuna olubuto, omwami we atali mukkiriza yamugamba aluggyemu. Olw’okuba mu kusooka, Carin yasalawo mu ngeri ey’amagezi, ekyo kyanyweza nnyo okukkiriza kwe, era ne ku mulundi guno yanywerera ku kituufu. Kati Carin, omwami we, n’abaana baabwe basanyufu nnyo olw’okuba baasalawo okubeera awamu. Singa Carin yakkiriza okuweereza abaana be omuntu omulala abakuze, tebandisobodde kufuna ssanyu ng’eryo lye balina kati.
15, 16. (a) Vicky yakuzibwa atya? (b) Lwaki Vicky yasalawo obutakuza muwala we nga ye bwe yakuzibwa?
15 Mwannyinaffe ayitibwa Vicky agamba nti: “Bazadde bange bantwala okubeera ewa jjajjange okumala emyaka mitonotono, bo ne basigala ne muganda wange omuto. Oluvannyuma nnaddamu okubeera ne bazadde bange, naye mu kiseera ekyo okwagala kwange gye bali kwali kukendedde. Muganda wange ye yanyumyanga nnyo nabo era ng’alina enkolagana ey’oku lusegere nabo. Naye nze nnawuliranga nga sirina nkolagana ya kulusegere ne bazadde bange, era ne bwe nnali nkuze tekyannyanguyiranga kubeeyabiza. Nze ne muganda wange twakakasa bazadde baffe nti tujja kubalabirira nga bakaddiye. Wadde nga ye muganda wange okwagala kwe kujja okumukubiriza okukikola, nze nja kukikola kutuusa luwalo.”
16 Vicky era agamba nti: “Maama wange yali ayagala muweereza muwala wange abeere naye, nga nange bwe yampeereza okubeera ne jjajja. Naye ekyo nnagaana okukikola. Nze n’omwami wange twagala okukuliza omwana waffe mu makubo ga Yakuwa. Ate era saagala kwonoona nkolagana gye nnina ne muwala wange.” Vicky akirabye nti kikulu nnyo okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala mu kifo ky’okulembeza ssente n’ebyo ab’eŋŋanda bye baagala. Yesu yagamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri.” Omuntu tayinza kuba muddu wa Katonda ate mu kiseera kye kimu n’aba muddu wa bya Bugagga.—Mat. 6:24; Kuv. 23:2.
BWE TUFUBA, YAKUWA ATUWA EMIKISA
17, 18. (a) Kiki buli Mukristaayo ky’alina okwesalirawo? (b) Bibuuzo ki ebinaddibwamu mu kitundu ekiddako?
17 Yakuwa asuubiza okutuwa bye twetaaga singa tukulembeza Obwakabaka n’obutuukirivu bwe mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33) N’olwekyo, buli Mukristaayo alina okwesalirawo kiki ky’ayagala okukulembeza mu bulamu bwe. Embeera ne bw’eba nzibu etya, tusobola okunywerera ku misingi gya Bayibuli. Yakuwa asuubiza okutuwa “obuddukiro.” (Soma 1 Abakkolinso 10:13.) Bwe ‘tulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza’ era ne tukiraga nti ‘tumwesiga’ nga tumusaba atuwe amagezi n’obulagirizi, ajja kutuyamba. (Zab. 37:5, 7) Yakuwa ajja kutuyamba okusigala nga tumuweereza n’obwesigwa. Bwe tukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala, ajja kutuwa “omukisa.”—Geraageranya Olubereberye 39:3.
18 Kiki omuntu ky’ayinza okukola okuzzaawo enkolagana n’ab’omu maka ge be yalekawo ng’agenze okukolera mu nsi endala? Kiki omuntu ky’ayinza okukola okusobola okulabirira ab’omu maka ge awatali kubalekawo kugenda kukolera mu nsi ndala? Era tuyinza tutya okuyamba abalala obutalekaawo ba mu maka gaabwe? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
-
-
Beera Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo!Omunaala gw’Omukuumi—2014 | Apuli 15
-
-
Beera Mugumu Yakuwa Ye Muyambi Wo!
“Ka tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange.’”—BEB. 13:6.
1, 2. Buzibu ki abo abalekawo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu nsi endala bwe bafuna nga bakomyewo eka? (Laba ekifaananyi waggulu.)
EDUARDO agamba nti: “Bwe nnali nkolera mu nsi endala, nnalina omulimu ogw’ebbeeyi era nga nfuna ssente nnyingi.a Naye bwe nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnakiraba nti nnalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe nnalina okutuukiriza: nnalina okulabirira ab’omu maka gange, si mu bya mubiri byokka, wabula ne mu by’omwoyo. N’olwekyo, nnasalawo okuddayo mu nsi yange nsobole okubeera nabo.”—Bef. 6:4.
2 Eduardo yali akimanyi nti bwe yandizzeeyo n’abeera n’ab’omu maka ge, kyandisanyusizza Yakuwa. Naye okufaananako Marilyn eyayogerwako mu kitundu ekyayita, Eduardo yalina okufuba okuzzaawo enkolagana gye yalina n’ab’omu maka ge. Ate era yalina okulaba engeri y’okulabiriramu ab’omu maka ge mu nsi enjavu. Kati olwo yandisobodde atya okulabirira ab’omu maka ge? Ab’oluganda mu kibiina bandisobodde batya okumuyamba?
OKUZZAAWO ENKOLAGANA N’AB’OMU MAKA GO N’OKUBAYAMBA MU BY’OMWOYO
3. Omuzadde bw’atabeera wamu na baana be, kibakosa kitya?
3 Eduardo agamba nti: “Nnakiraba nti nnali ndeseewo abaana bange mu kiseera we baali basinga okuneetaagira. Nnali sisobola kusomera wamu nabo Bayibuli, kusabirako wamu nabo, na kuzannyako nabo.” (Ma. 6:7) Muwala we omukulu, Anna, agamba nti: “Nnawuliranga bubi obutaba na taata waka. Taata we yakomerawo okuva ebweru, enkolagana yaffe naye yali tekyali ya maanyi.”
4. Lwaki omusajja bw’atabeera wamu na ba mu maka ge aba tasobola kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwe ng’omutwe gw’amaka?
4 Omusajja bw’atabeera wamu na ba mu maka ge, aba tasobola kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwe ng’omutwe gw’amaka. Mukyala wa Eduardo, Ruby, agamba nti: “Nze nnali maama era nga nze taata. Nnali mmanyidde okusalawo ku bintu ebikulu mu maka. Omwami wange bwe yakomawo awaka, nnalina okuddamu okuyiga okumugondera. N’okutuusa leero, nkyalina okwejjukiza buli kiseera nti omwami wange ye mutwe gw’amaka.” (Bef. 5:22, 23) Eduardo naye agamba nti: “Bawala bange baali bamanyidde okusaba maama waabwe olukusa okukola ebintu ebitali bimu. Nze ne mukyala wange, twakiraba nti twalina okukolera awamu okusobola okuyamba abaana baffe era nnalina okuyiga okutwala obukulembeze mu maka nga Yakuwa bw’ayagala.”
5. Eduardo bwe yaddayo eka, kiki kye yakola okusobola okuzzaawo enkolagana ennungi gye yalina n’ab’omu maka ge, era biki ebyavaamu?
5 Eduardo yakola kyonna ekisoboka okuzzaawo enkolagana ennungi gye yalina n’ab’omu maka ge era yafuba okuyamba ab’omu maka ge mu by’omwoyo. Agamba nti: “Nnali njagala njigirize abaana bange amazima okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa, nga sibagamba bugambi nti njagala Yakuwa, naye nga nkyoleka ne mu bulamu bwange.” (1 Yok. 3:18) Waliwo emikisa gyonna Eduardo gye yafuna? Anna agamba nti: “Okulaba engeri taata gye yali afuba okuzzaawo enkolagana wakati waffe naye era n’enkyukakyuka ze yakola, kyatukwatako nnyo. Kyatuleetera essanyu lingi okulaba nga taata afuba okuluubirira enkizo mu kibiina. Ensi ya Sitaani yali eyagala kutuggya ku Yakuwa. Naye bwe twalaba bazadde baffe nga banyweredde mu mazima, naffe twafuba okubakoppa. Taata yasuubiza nti tajja kuddamu kutulekawo era ekyo teyaddamu kukikola. Singa yaddamu n’atulekawo, oboolyawo kati sandibadde mu kibiina kya Yakuwa.”
OKUKKIRIZA ENSOBI YO
6. Kiki abazadde abamu kye baayiga mu lutalo olwali mu nsi za Bulaaya?
6 Abaana baagala nnyo okubeera ne bazadde baabwe. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe waabalukawo olutalo mu nsi za Bulaaya, abazadde bangi Abajulirwa ba Yakuwa baali tebakyasobola kugenda kukola. Kati ebiseera ebisinga baali babimala wamu n’abaana baabwe, nga basobola okuzannya nabo, okunyumya nabo, n’okusomera awamu nabo. N’ekyavaamu abaana baali basanyufu nnyo okusinga bwe baali ng’olutalo terunnatandika. Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti ekintu abaana kye basinga okwetaaga, si ze ssente oba ebirabo wabula, kwe kubeera awamu ne bazadde baabwe. Nga Bayibuli bw’eraga, singa abazadde bamala ebiseera ebiwerako nga bali wamu n’abaana baabwe era ne babatendeka, ekyo kiganyula nnyo abaana baabwe.—Nge. 22:6.
7, 8. (a) Nsobi ki abazadde abamu ababa bazzeeyo okubeera awamu n’ab’omu maka gaabwe gye bakola? (b) Kiki ekiyinza okuyamba abazadde ng’abo?
7 Ebyo abazadde abamu bye balaba nga bazeeyo okubeera awamu n’ab’omu maka gaabwe bibeewuunyisa nnyo. Abaana baabwe bayinza okuba nga tebakyabaagala oba nga tebakyabeesiga. Omuzadde ayinza okugamba abaana be nti, “Muyinza mutya okumpisa mutyo ng’ate nneefiirizza bingi ku lwammwe?” Naye, oluusi abaana okweyisa batyo kiyinza okuba nga kivudde ku kuba nti muzadde waabwe yamala ekiseera kiwanvu nga tali nabo. Kiki omuzadde ky’ayinza okukola mu mbeera ng’eyo?
8 Asaanidde okusaba Yakuwa amuyambe okutegeera ensonga lwaki ab’omu maka ge beeyisa batyo. Era asaanidde okukikkiriza nti naye avunaanyizibwa olw’embeera eyo eba eriwo era n’abeetondera. Munne mu bufumbo n’abaana be bwe bakiraba nti ddala ayagala okutereeza ebyasoba, ekyo kisobola okubakwatako ennyo. Omuzadde ng’oyo bw’atalekulira, ab’omu maka ge bayinza okuddamu okumwagala n’okumuwa ekitiibwa.
OKULABIRIRA AB’OMU MAKA GO
9. Lwaki Omukristaayo tekimwetaagisa kwekuŋŋaanyiza bya bugagga okusobola okulabirira ab’omu maka ge?
9 Omutume Pawulo yagamba nti Abakristaayo abakaddiye bwe baba nga tebakyasobola kwerabirira, abaana baabwe oba bazzukulu baabwe basaanidde okubalabirira. Pawulo era yakiraga nti eby’okulya, eby’okwambala, n’aw’okusula, bye bintu bye twetaaga mu bulamu. (Soma 1 Timoseewo 5:4, 8; 6:6-10.) Okusobola okulabirira ab’omu maka ge, Omukristaayo tekimwetaagisa kwekuŋŋaanyiza bya bugagga mu nsi ya Sitaani eno eneetera okuggwaawo. (1 Yok. 2:15-17) Tetulina kukkiriza ‘bulimba bw’obugagga’ oba “okweraliikirira eby’obulamu” okutulemesa awamu n’ab’omu maka gaffe okunyweza “obulamu obwa nnamaddala” mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu.—Mak. 4:19; Luk. 21:34-36; 1 Tim. 6:19.
10. Lwaki kiba kya magezi okwewala okugwa mu mabanja?
10 Yakuwa akimanyi nti twetaaga okubaako ne ssente ensaamusaamu. Naye ssente tezisobola kutuwa bukuumi bwa nnamaddala; amagezi agava eri Katonda ge gasobola okubutuwa. (Mub. 7:12; Luk. 12:15) Emirundi mingi abantu tebalowooza ku bizibu ebiyinza okuvaamu nga bagenze okukolera mu nsi endala. Ate era tekiri nti buli agenda okukolera mu nsi endala afuna ssente nnyingi. Mu butuufu, bangi ku abo abagenda ebweru okukola, bafuna ebizibu eby’amaanyi. Bangi ku bo bakomawo nga balina amabanja mangi okusinga ge baalina nga tebannagenda. Mu kifo ky’okwemalira ku kuweereza Yakuwa, beesanga nga balina okukola ennyo okusobola okusasula amabanja. (Soma Engero 22:7.) N’olwekyo, kiba kya magezi okwewala okugwa mu mabanja.
11. Okukola embalirira n’okuginywererako kiyinza kitya okuyamba amaka?
11 Eduardo yakiraba nti okusobola okulabirira obulungi ab’omu maka ge oluvannyuma lw’okuddayo eka, bonna mu maka baalina okuyiga okukekkereza ssente. Ye ne mukyala we baakola embalirira eggya mu nsawo yaabwe. Baasalawo okwewala okugula ebintu eby’okwejalabya nga bwe kyali mu kusooka era bonna mu maka baawagira enteekateeka eyo.b Eduardo agamba nti: “Ekimu ku bintu bye nnakola kwe kujja abaana bange mu masomero ag’obwannannyini ne mbateeka mu masomero ga gavumenti.” Eduardo awamu n’ab’omu maka ge baasaba Yakuwa amuyambe okufuna omulimu ogutataataaganye nteekateeka zaabwe ez’eby’omwoyo. Yakuwa yaddamu atya okusaba kwabwe?
12, 13. Kiki Eduardo kye yakola okusobola okulabirira ab’omu maka ge, era Yakuwa yamuwa atya emikisa olw’okuba n’eriiso eriraba awamu?
12 Eduardo agamba nti: “Emyaka ebiri egyasooka tegyatwanguyira. Ssente ze nnali ntereseewo zaali zigenda ziggwaawo, nga ssente ze nfuna tezitumala bulungi, ate nga n’emirimu gye nkola ginkooya nnyo. Naye twali tusobola okugenda mu nkuŋŋaana zonna era nga ffenna tusobola okugenda okubuulira.” Eduardo yasalawo obutakkiriza kukola mulimu gwonna oguyinza okuddamu okumuleetera okulekawo ab’omu maka ge okumala ekiseera ekiwanvu. Agamba nti: “Nnasalawo okuyiga okukola emirimu egitali gimu ne kiba nti ogumu bwe gwabanga gubuze nnabanga nsobola okukola omulala.”
Osobola okuyiga okukola emirimu egitali gimu osobole okulabirira ab’omu maka go? (Laba akatundu 12)
13 Okuva bwe kiri nti Eduardo kyandimutwalidde ebbanga ddene okusasula amabanja, n’amagoba ge yalina okuzzaayo gaalina okuba amangi. Kyokka ekyo Eduardo yali mwetegefu okukikola okuva bwe kiri nti kyandimusobozesezza okuweereza Yakuwa ng’ali wamu n’ab’omu maka ge. Eduardo agamba nti: “Wadde nga kati ssente ze nfuna ntono nnyo, tetusula njala. ‘Omukono gwa Yakuwa si mumpi.’ Mu butuufu, twasalawo n’okuweereza nga bapayoniya. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, embeera yange ey’eby’enfuna yeeyongera okutereera era kati tekituzibuwalira nnyo kufuna byetaago byaffe.”—Is. 59:1.
OKUPIKIRIZIBWA AB’EŊŊANDA
14, 15. Kiki Abakristaayo kye bayinza okukola singa ab’eŋŋanda zaabwe baagala bakulembeze eby’obugagga mu kifo ky’okukulembeza okuweereza Yakuwa, era bwe banywerera ku kituufu birungi ki ebivaamu?
14 Mu nsi nnyingi abantu bawulira nga kibakakatako okuwa ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe ssente n’ebintu ebirala. Bwe kityo bwe kiri ne mu nsi Eduardo gy’abeera. Kyokka Eduardo agamba nti: “Nfuba okunnyonnyola ab’eŋŋanda zange nti ndi mwetegefu okubayamba, naye siri mwetegefu kukkiriza kintu kyonna kundeetera kulagajjalira ba mu maka gange mu by’omwoyo.”
15 Abo abasalawo okuddayo okubeera awamu n’ab’omu maka gaabwe n’abo abagaana okugenda okukolera mu nsi endala ebiseera ebimu ab’eŋŋanda zaabwe babanyiigira, era oluusi babagamba nti beefaako bokka. (Nge. 19:6, 7) Kyokka Anna, muwala wa Eduardo, agamba nti: “Bwe tukulembeza ebintu eby’omwoyo mu kifo ky’okukulembeza eby’obugagga, kiyinza okuyamba abamu ku b’eŋŋanda zaffe okukiraba nti okuweereza Yakuwa tukitwala nga kintu kikulu nnyo mu bulamu bwaffe. Ekyo tebasobola kukiraba singa tukulembeza ebyo bo bye baagala.”—Geraageranya 1 Peetero 3:1, 2.
OKWESIGA YAKUWA
16. (a) Omuntu ayinza atya ‘okwerimbalimba n’endowooza enkyamu’? (Yak. 1:22) (b) Baani Yakuwa b’awa omukisa?
16 Mwannyinaffe omu yagenda okukolera mu nsi endala nga tagenze na mwami we na baana be. Bwe yatuukayo yagamba abakadde nti: “Okusobola okujja eno, nze n’ab’omu maka gange twefiirizza bingi. Omwami wange atuuse n’okulekera awo okuweereza ng’omukadde mu kibiina. Ndi mukakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa.” Kyokka tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa awa omukisa abo abamwesiga. Tasobola kuwa mukisa abo abasalawo okukola ebintu ebikontana n’ebigendererwa bye. Ate era tasobola kutuwa mukisa singa tuwaayo enkizo zaffe ez’obuweereza olw’ebiruubirirwa ebikyamu.—Soma Abebbulaniya 11:6; 1 Yokaana 5:13-15.
17. Lwaki tusaanidde okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa nga tetunnasalawo kintu kyonna, era ekyo tuyinza kukikola tutya?
17 Bw’oba tonnasalawo kintu kyonna, sooka onoonye obulagirizi bwa Yakuwa. Musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu era akuwe n’amagezi. (2 Tim. 1:7) Weebuuze: ‘Nsobola kwefiiriza kyenkana wa okusobola okuweereza Yakuwa? Embeera y’eby’enfuna ne bw’eneekaluba etya, nnaasigala wamu n’ab’omu maka gange? (Luk. 14:33) Saba abakadde mu kibiina bakuwe ku magezi, era weesige Yakuwa nti ajja kukuyamba singa ofuba okukolera ku magezi agali mu Kigambo kye. Kikulu okukijjukira nti abakadde tebajja kukusalirawo kya kukola naye basobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—2 Kol. 1:24.
18. Ani Yakuwa gwe yakwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka ge, era abalala bayinza batya okumuyambako?
18 Yakuwa yakwasa emitwe gy’amaka obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka gaabwe. Tusiima nnyo abo bonna abafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo nga tebaleseewo ba mu maka gaabwe, era tusaba Yakuwa abayambe okubutuukiriza obulungi. Ate era ffenna tusaanidde okwoleka okwagala kwaffe eri bakkiriza bannaffe ng’abo abeesigwa, naddala bwe baba bakoseddwa obutyabaga, nga balwadde, oba nga balwazizza. (Bag. 6:2, 5; 1 Peet. 3:8) Osobola okuyambako bakkiriza bannaffe ng’abo ng’obayamba okufuna omulimu oba ebintu ebirala bye beetaaga, gamba nga ssente oba emmere? Ekyo kisobola okubayamba obutalekaawo ba mu maka gaabwe kugenda kukolera mu nsi ndala.—Nge. 3:27, 28; 1 Yok. 3:17.
KIJJUKIRE NTI YAKUWA YE MUYAMBI WO!
19, 20. Lwaki Abakristaayo basaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kubayamba?
19 Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina. Kubanga yagamba nti: ‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’ N’olwekyo, ka tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange; Siritya. Omuntu ayinza kunkola ki?’” (Beb. 13:5, 6) Ebigambo ebyo birina makulu ki gye tuli?
20 Ow’oluganda amazze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde mu nsi emu enjavu agamba nti: “Abantu bangi bakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa basanyufu. Era bakiraba nti n’Abajulirwa ba Yakuwa abaavu bambala bulungi okusinga abantu abalala.” Ekyo kyennyini Yesu kye yasuubiza abo abasooka okunoonya Obwakabaka. (Mat. 6:28-30, 33) Yakuwa atwagala nnyo era atukolera ekyo ekisingayo okuba ekirungi. Bayibuli egamba nti: “Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) Yakuwa atuwadde ebiragiro ebikwata ku maka ne ku ngeri gye tuyinza okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. Bwe tukolera ku biragiro ebyo, tuba tukiraga nti tumwagala era nti tumwesiga. Bayibuli egamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.”—1 Yok. 5:3.
21, 22. Lwaki omaliridde okwesiga Yakuwa?
21 Eduardo agamba nti: “Nkimanyi nti ebiseera bye nnamala nga siri wamu n’ab’omu maka gange sisobola kubizzaawo, naye ekyo si kye mmalirako ebirowoozo byange. Bangi ku abo be nnakolanga nabo kati bagagga nnyo naye si basanyufu. Amaka gaabwe galimu ebizibu bingi, naye agange masanyufu! Kinsanyusa nnyo okukiraba nti waliwo ab’oluganda bangi mu nsi yange abafuba okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe wadde nga baavu. Mu butuufu, tukirabye nti okukulembeza Obwakabaka kivaamu emikisa mingi.”—Soma Matayo 6:33.
22 N’olwekyo, beera mugumu. Gondera Yakuwa era omwesige. Ka okwagala kw’olina eri Yakuwa, eri munno mu bufumbo, n’eri n’abaana bo, kukukubirize okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwo mu maka. Bw’onookola bw’otyo, ojja kukiraba nti ‘Yakuwa ye muyambi wo.’
-