OLUYIMBA 47
Saba Yakuwa Buli Lunaku
Printed Edition
1. Saba Yakuwa Katonda waffe.
Nkizo nnene etuweereddwa ffe.
Yogera naye nga mukwano gwo.
Mwesigenga mu byonna bulijjo.
Yakuwa musabenga.
2. Saba Yakuwa buli kiseera.
Musabenga okukusonyiwa.
Tumwatulire ebibi byaffe.
Akimanyi nga tuli nfuufu ffe.
Yakuwa musabenga.
3. Saba Yakuwa bw’oba mu nnaku.
Ye Kitaffe; ’ssaala aziddamu.
Saba akukuume; mweyunenga;
Mwesige; teweeraliikirira.
Yakuwa musabenga.
(Laba ne Zab. 65:5; Mat. 6:9-13; 26:41; Luk. 18:1.)