OLUYIMBA 53
Okweteekerateekera Okubuulira
Printed Edition
1. Bukedde!
Twetegeka
’Kugenda ’kubuulira.
Wadde enkuba
Yo ebindabinda,
Tesaanidde kutulemesa
kugenda.
(CHORUS)
Kikulu nnyo ’kweteekateeka
Era n’okusaba.
Twagala tube n’omukisa
Gwa Katonda.
Bamalayika batuyamba;
Yesu y’abatuma.
N’ab’oluganda mu kibiina
Batuyamba.
2. Tufuna
’Ssanyu lingi
Bwe tukola bwe tutyo.
Yakuwa ’laba
Okufuba kwaffe;
Talyerabira bye tukola;
asiima.
(CHORUS)
Kikulu nnyo ’kweteekateeka
Era n’okusaba.
Twagala tube n’omukisa
Gwa Katonda.
Bamalayika batuyamba;
Yesu y’abatuma.
N’ab’oluganda mu kibiina
Batuyamba.
(Laba ne Mub. 11:4; Mat. 10:5, 7; Luk. 10:1; Tito 2:14.)