OLUYIMBA 39
Weekolere Erinnya Eddungi mu Maaso ga Katonda
Printed Edition
1. Buli lunaku, Twagal’o kukola
’Linnya eddungi ’Maaso ga Katonda.
Ebyo by’ayagala Bwe tubikola ffe,
Tusanyusa nnyo ’Mutima gwe.
2. Okwekolera Erinnya mu ns’e no,
’Kuganja gy’eri N’okusiimibwa yo,
Buba butaliimu. Bwe tutagyesamba
Katonda waffe Tatusiima.
3. Erinnya lyaffe Twagala libeere
Mu kitabo kye Emirembe gyonna.
Katonda mwesigwa, Ka tumuweereze
’Linnya eddungi Tulikole.
(Laba ne Lub. 11:4; Nge. 22:1; Mal. 3:16; Kub. 20:15.)