ESSOMO 3
Okwatula Obulungi Ebigambo
TEKIRI nti Abakristaayo bonna balina obuyigirize obwa waggulu. Abatume Peetero ne Yokaana nabo baayogerwako nga “abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo.” (Bik. 4:13) Wadde kiri kityo, osaanidde okwatula obulungi ebigambo kisobozese abawuliriza okussaayo omwoyo ku by’obategeeza okuva mu Baibuli.
Ensonga ez’Okwetegereza. Amateeka agakwata ku njatula y’ebigambo gaawukana mu buli lulimi. Ennimi nnyingi zirina walifu zaazo. Ng’oggyeko walifu egobererwa mu Luganda, eriyo walifu ez’ekika ekirala gamba nga ey’Oluwalabu, ey’Oluyonaani n’ey’Olwebbulaniya. Olukyayina terulina walifu naye baluwandiika nga bakozesa ennukuta ez’ekika ekirala. Ennukuta ezo, zitera okukiikirira ekigambo oba ekitundu ky’ekigambo. Wadde Olujapaani n’Olukoleya zikozesa ennukuta ez’Olukyayina, ennukuta ezo ziyinza okwatulwa mu ngeri ey’enjawulo era ziyinza obutaba na makulu ge gamu mu nnimi ezo.
Mu nnimi ezirina walifu, enjatula entuufu ey’ebigambo yeetaagisa okukozesa eddoboozi ettuufu ng’osoma ennukuta mu kigambo. Olulimi bwe luba n’amateeka amagundiivu, nga bwe kiri mu Luyonaani, Olusipanisi n’Oluzulu, tekiba kizibu okumanya njatula ntuufu ey’ebigambo. Kyokka, omuntu ava mu nsi endala bw’ayogera olulimi olugwira ebigambo ayinza okubyatula mu ngeri ey’enjawulo. N’ekivaamu, ennukuta emu oba ebigambo ebimu biyinza okwatulwa mu ngeri esukka mu emu oba emirundi egimu obutaatulibwa ddala. Kiyinza okukwetaagisa okukwata obukusu enjatula y’ebigambo ebimu ate n’obikozesa bulijjo ng’oyogera. Okusobola okwatula obulungi ebigambo by’Olukyayina, omuntu kiba kimwetaagisa okukwata obukusu enkumi n’enkumi z’ennukuta ez’olulimi olwo. Mu nnimi ezimu, amakulu g’ekigambo gakyuka eddoboozi bwe likyukamu. Ekyo kiyinza okuviirako abakuwuliriza okufuna amakulu amakyamu.
Singa ekigambo kibaamu ennyingo eziwera, kikulu okuggumiza ennyingo entuufu. Ennimi nnyingi zirina enkola enkakafu ey’okuggumizaamu ennyingo eziri mu bigambo ng’oyogera. Ekyo kikifuula kyangu okwatula obulungi ebigambo. Kyokka bwe watabaawo nkola nkakafu, tekiba kyangu era kiba kyetaagisa omuntu okukwata obukwasi mu mutwe enjatula y’ebigambo.
Ku nsonga eno ey’okwatula ebigambo, waliwo by’osaanidde okwewala. Bwe weegendereza ennyo ekisukkiridde ng’oyatula ebigambo, kiyinza okukuviirako obutabyatula mu ngeri eya bulijjo oba n’okukulabisa ng’ow’amalala. Era kiba kye kimu ebigambo bwe byatulwa mu ngeri etakyakozesebwa mu lulimi olwo. Ebigambo bwe byatulwa mu ngeri eyo, kiviirako abakuwuliriza okussa ebirowoozo ku mwogezi so si ku by’ayogera. Ku luuyi olulala, kiba kirungi obutamala googera oba gaatula bigambo. Ezimu ku nsonga zino zaayogeddwako dda mu ssomo eririna omutwe, “Okwogera Ebigambo mu Ngeri Etegeerekeka.”
Enjatula y’ebigambo entuufu eyinza okwawukana mu buli nsi, era oluusi ne mu bitundu eby’enjawulo eby’ensi emu. Omuntu ava mu nsi endala ayinza okwatula ebigambo mu ngeri ey’enjawulo. Enkuluze ziyinza okuwa enjatula z’ekigambo ezikkirizibwa ezisukka mu emu. Naddala singa omuntu teyasoma kigenda wala oba singa olulimi lw’ayogera si lulwe, ajja kuganyulwa nnyo singa awuliriza n’obwegendereza abo aboogera obulungi olulimi olw’omu kitundu ky’alimu era n’akoppa n’engeri gye baatulamu ebigambo. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, twagala okwogera mu ngeri etegeerekeka eri abantu b’omu kitundu kyaffe era ng’eweesa obubaka bwe tubuulira ekitiibwa.
Ng’oyogera bulijjo, kiba kirungi okukozesa ebigambo by’omanyi obulungi. Mu mbeera eya bulijjo kiyinza obutaba kizibu kwatula bulungi bigambo. Kyokka, bw’oba osoma mu ddoboozi eriwulikika, oyinza okusanga ebigambo by’otatera kukozesa ng’oyogera. Abajulirwa ba Yakuwa batera okusoma mu ddoboozi eriwulikika. Tusomera abantu Baibuli nga tubawa obujulirwa. Ab’oluganda abamu basabibwa okusoma obutundu mu Kuyiga okw’Omunaala gw’Omukuumi oba mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Bwe tutasoma bulungi kiyinza okuleetera abantu obutassaayo mwoyo ku bye tusoma.
Osanga obuzibu mu kwatula amannya agamu mu Baibuli? Mu lulimi Oluganda mulimu eddoboozi eriwangaala n’eddoboozi eriggumira. Eddoboozi eriwangaala likolebwa nnukuta mpeerezi bbiri eziri awamu. Mu kigambo abaana, ennukuta aa, mpeerezi era ziviirako eddoboozi eriwangaala mu kigambo. Ate lyo eddoboozi eriggumira likolebwa nnukuta nsirifu bbiri eziri awamu. Lino lye libeera eddoboozi ery’amaanyi mu kigambo. Mu kigambo “Bulijjo,” ennukuta jj, nsirifu era ze ziviirako ekigambo okuggumira.
Engeri y’Okulongoosaamu. Bangi tebakimanyi nti balina ekizibu mu kwatula ebigambo. Singa akubiriza essomero akulaga we weetaaga okulongoosaamu, muwulirize era osiime obuyambi bw’akuwa. Bw’omanya ekizibu kyo, oyinza otya okulongoosaamu?
Engeri emu esobola okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye twatulamu ebigambo kwe kusomera omuntu omulala ayatula obulungi ebigambo, n’omusaba agolole ensobi zo.
Engeri endala esobola okutuyamba okulongoosa mu kwatula ebigambo kwe kuwuliriza n’obwegendereza aboogezi abaatula obulungi ebigambo. Singa wabaawo kaseti okuli New World Translation oba Watchtower ne Awake! Mu lulimi lwo zikozese. Ng’owuliriza, weetegereze ebigambo ebyatulwa mu ngeri ey’enjawulo ku yiyo. Biwandiike, era gezaako okubyatula nga bw’owulidde.
Mu nnimi nnyingi, omuntu aba asobola okukeberako mu nkuluze, ekitabo ekiraga engeri y’okuwandiikamu ebigambo, enjatula yaabyo era n’amakulu gaabyo. Bw’oba okirina, keberamu ebigambo by’otomanyi. Bw’oba tomanyi kukikozesa, kebera mu nnyanjula awalaga engeri y’okwatulamu ebigambo oba buuza oyo amanyi okukikozesa. Enkuluze ejja kukulaga w’olina okussa essira mu kigambo ekirina ennyingo ezisukka mu emu. Emirundi egimu, ekigambo kiyinza okuba nga kyatulwa mu ngeri esukka mu emu. Ekigambo ky’oba okebedde, kyatule enfunda n’enfunda okutuusa lw’onoolaba nti osobola okukyatula obulungi.