LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 51 lup. 263-lup. 264 kat. 4
  • Okukuuma Obulungi Ebiseera n’Okubigabanyaamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukuuma Obulungi Ebiseera n’Okubigabanyaamu
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Okutegeka Emboozi ez’Okuwa mu Kibiina
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutegeka Emboozi Ezikuweereddwa mu Ssomero
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okuwa Emboozi nga by’Oyogera Tosoma Bisome
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 51 lup. 263-lup. 264 kat. 4

ESSOMO 51

Okukuuma Obulungi Ebiseera n’Okubigabanyaamu

Kiki ky’osaanidde okukola?

Emboozi yo giweere mu kiseera ekikuweereddwa, era tosussa mu biseera by’olina kumala ku buli kitundu.

Lwaki Kikulu?

Buli nsonga enkulu erina okuweebwa ebiseera ebimala. Kikulu nnyo okukomekkereza olukuŋŋaana mu budde.

WADDE nga kikulu nnyo okufaayo ku ngeri gy’oyigirizaamu, olina n’okufaayo ku kukuuma ebiseera. Enkuŋŋaana zaffe zirina ekiseera ekigereke kwe zitandikira ne kwe zikomekkerezebwa. Ekyo okusobola okukituukiriza, kiba kyetaagisa buli alina ekitundu ku programu okukuuma ebiseera.

Mu biseera we baawandiikira Baibuli, engeri abantu gye baatunuulirangamu ebiseera yali ya njawulo nnyo ku ngeri gye babitunuuliramu ennaku zino. Bwe baabanga boogera ku biseera, baagambanga bugambi nti, ‘enkya,’ ‘ettuntu,’ ‘n’akawungeezi.’ (Lub. 24:11; 43:16; 1 Bassek. 18:26) Tekyalinga kikulu nnyo gye bali okumanyira ddala ebiseera byennyini we bandibadde bakolera ebintu ebimu. Ne mu nsi ezimu leero, eriyo abantu abalina endowooza ng’eyo.

Wadde ng’abantu tebafaayo nnyo ku kukuuma biseera olw’okuba ye mpisa y’omu kitundu oba olw’okuba y’endowooza abantu gye balina, ffe tuyinza okuganyulwa singa twemanyiiza okubikuuma. Abantu abawerako bwe baweebwa ebitundu mu programu y’olukuŋŋaana, balina okukuuma ebiseera ebiragiddwa ku buli kitundu. Omusingi ogugamba nti ‘byonna bikolebwe bulungi era mu ngeri entegeke’ gwanditukubiriza okukuuma ebiseera nga tuwa emboozi.​—1 Kol. 14:40, NW.

Engeri y’Okukuumamu Obulungi Ebiseera. Kikulu nnyo okutegeka obulungi. Emirundi egisinga, aboogezi abatakuuma biseera baba tebaategese bulungi. Bayinza okuba beekakasa ekiyitiridde. Oba bayinza okuba nga bategeka ku ssaawa esembayo. Okusobola okukuuma obulungi ebiseera kikwetaagisa okusiima emboozi eba ekuweereddwa n’okugitegeka obulungi.

Ekitundu ekikuweereddwa kya kusoma busomi? Sooka oyite mu Ssomo 4 okutuuka ku 7, agoogera ku kusoma nga tosikattira, okusiriikiriramu we kyetaagisa, n’okuggumiza ensonga enkulu. Bw’omala, goberera amagezi agalimu ng’osoma ebiba bikuweereddwa. Kozesa essaawa olabe obanga omalira mu budde bwennyini. Kikwetaagisa okwongeza ku sipiidi gy’osomerako osobole okumalira mu biseera ebikuweereddwa? Bwe kiba bwe kityo, yongeza ku sipiidi ng’osoma obutundu omutali nsonga nkulu, naye bw’otuuka awali ensonga enkulu siriikiriramu oba kendeeza ku sipiidi osobole okuziggumiza. Weegezeemu enfunda n’enfunda. Singa onoosobola okusoma obulungi nga tolina w’osikattiramu, kijja kukwanguyira okukuuma obulungi ebiseera.

Olina w’owandiise ensonga z’ogenda okwogerako? Okusobola okukuuma obulungi ebiseera, tekyetaagisa kuwandiika bingi. Bwe wali okola ku Ssomo 25, wayiga engeri y’okukozesaamu obulungi by’oba owandiise. Kikole ng’ogoberera ensonga zino etaano: (1) Sengeka bulungi by’onooyogera naye towandiika bingi. (2) Tegeera ensonga enkulu, naye tozikwata bukusu. (3) Ku lupapula kw’owandiise ensonga zo teekako eddakiika z’oyagala okumala ku buli kitundu oba ezo ezinaaba ziyiseewo w’onootuukira ku kitundu ekirala. (4) Bw’oba otegeka, lowooza ku nsonga z’oyinza okuggyamu singa weesanga nti ebiseera bikukutte. (5) Weegezeemu.

Kikulu nnyo okwegezaamu. Bw’oba weegezaamu, fuba okukozesa eddakiika z’olina okumala ku buli kitundu. Weegezeemu enfunda eziwera okutuusa lw’owulira nti ddala osobola okuwa emboozi yo mu kiseera kyennyini ekiweereddwa. Togiteekamu bintu bingi. Olina okulekawo akaagaanya kubanga bw’oba oyogera eri abakuwuliriza oyinza okukozesa ebiseera bingiko okusinga ku ebyo by’omala nga weegezaamu.

Okugabanyaamu Ebitundu. Okusobola okukuuma ebiseera oba olina okubigabanyaamu obulungi ng’owa emboozi yo. Ebiseera ebisinga obungi birina kumalibwa ku mulamwa gwennyini ogw’emboozi yo. Kubanga kyekyo ky’oba oyagala bategeerere ddala. Ennyanjula yo erina okuba nga mpanvu ekimala esobole okutuukana n’ensonga essatu ezoogerwako mu Ssomo 38. Kijjukire nti olina okulekayo ebiseera ebinaakumala okufundikira obulungi emboozi yo, esobole okutuukana n’Essomo 39.

Bw’ofuba okukuuma obulungi ebiseera emboozi yo ejja kuba nnungi era kijja kulaga nti ofaayo ku balala abalina ebitundu ku programu awamu n’ekibiina kyonna.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Tegeka bulungi era kino okikole nga bukyali.

  • Buli kitundu ekiri mu mboozi yo kiwe ebiseera ebimala, era tosussaawo.

  • Weegezeemu mu mboozi yo.

EKY’OKUKOLA: Teekateeka okutuuka mu nkuŋŋaana n’ab’omu maka go ng’ekyabulayo eddakiika 15 oba 20 olukuŋŋaana lutandike. Weegerere bulungi ebiseera by’onoomala ng’otambula. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okwewalamu ebyo ebisobola okukukeereyesa. Kola enkyukakyuka ezeetaagisa. Osobola okweyambisa enkola efaananako bw’etyo ng’oteekateeka emboozi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share