Beera Muyambi Mulungi Nga Mubuulira Nnyumba ku Nnyumba
1. Miganyulo ki egiva mu kukolera awamu ne mubuulizi munnaffe mu buweereza?
1 Lumu, Yesu yatuma abayigirizwa be 70 okubuulira, era ‘yabatuma babiri babiri.’ (Luk. 10:1) Awatali kubuusabuusa enteekateeka eno yasobozesa abayigirizwa be okuyambagana n’okuziŋŋanamu amaanyi nga babuulira. Bw’obeera ne mubuulizi munno mu buweereza bw’ennimiro, oyinza otya okumuyamba?
2. Mubuulizi munnaffe bw’aba ng’alina gwayogera naye, tusaanidde kuwuliriza mu ngeri ki era lwaki?
2 Ng’Owuliriza: Wuliriza bulungi nga munno alina gwayogera naye. (Yak. 1:19) Bw’aba asoma ekyawandiikibwa, goberera mu Baibuli yo. Tunuulira oyo ayogera, kabeere munno gw’okola naye oba oyo gwe musanze awaka. Bw’ossaayo omwoyo ku ebyo ebyogerwa kiyinza okukubiriza n’oyo gwe muba musanze awaka okukola kye kimu.
3. Ddi oyo gwe tuba tubuulira naye lw’ayinza okutusaba okubaako kye twogera?
3 Ng’Omanya Ddi lw’Olina Okwogera: Mubuulizi munnaffe bw’aba alina gwayogera naye, tulaga nti tumuwa ekitiibwa nga tumuleka okumaliriza by’aba ayogera. (Bar. 12:10) Tetusaanidde kumusala kirimi. Singa aba yeerabidde ekyo ky’aba ayagala okwogera oba ng’oyo gwayogera naye atandise okuwakana oba ng’amubuuzizza ekibuuzo, munnaffe n’atusaba okumuyamba, tufuba okwongereza ku nsonga gy’abadde ayogerako mu kifo ky’okutandika okwogera ku nsonga endala. (Nge. 16:23; Mub. 3:1, 7) Bwe twogera, ebigambo byaffe bisaanidde okuba nga bikwatagana n’obujjulirwa munnaffe bw’aba awadde.—1 Kol. 14:8.
4. Kiki ekinaatuyamba okufuna essanyu n’okutuuka ku buwanguzi mu buweereza bwaffe?
4 Abayigirizwa ba Yesu 70 abaali bakola babiri babiri bwe bamaliriza okubuulira ‘baakomawo nga basanyufu.’ (Luk. 10:17) Naffe tujja kuba basanyufu era tujja kutuuka ku buwanguzi mu buweereza bwaffe nga tuwuliriza era nga tumanya ddi lwe tusaanidde okwogera bwe tuba tuyamba abo be tubuulira nabo nnyumba ku nnyumba.