Akasanduuko k’Ebibuuzo
◼ Kisaanira abazadde bombi okubala essawa ze bamala nga bayigiriza abaana baabwe?
Wadde ng’obuvunaanyizibwa ‘bw’okukangavvula n’okubuulirira abaana mu Mukama waffe’ okusingira ddala buba bwa muzadde omusajja, n’omuzadde omukazi alina obuvunaanyizibwa obw’okutendeka abaana. (Bef. 6:4) Baibuli ekubiriza bweti: “Mwana wange wulira okuyigirizanga kwa kitaawo, so tova mu tteeka lya nnyoko.” (Nge. 1:8) Okusoma Baibuli okw’amaka y’enteekateeka enkulu abazadde gye bakozesa okutendeka abaana baabwe.
Mu nteekateeka eno, omuzadde omu yekka yabadde abala ebiseera eby’okuyigiririzaamu abaana abatali babatize, ka kibe nti n’omuzadde omulala abadde akwenyigiramu. Kyokka kati enkola eno ekyusiddwamu. Singa abazadde bombi bayigiririza wamu abaana baabwe, buli omu ku bo asobola okubala ebiseera ebitasukka saawa emu buli wiiki. Kya lwatu abazadde batera okukozesa esaawa ezisukka mu emu buli wiiki nga bayigiriza abaana baabwe. Bombi kibeetaagisa okufuba ennyo okusobola okutendeka abaana baabwe. (Ma. 6:6-9) Wadde kiri kityo, lipoota y’obuweereza bw’ennimiro okusingira ddala esaanidde okulaga ebyo ebiba bikoleddwa mu nnimiro. N’olwekyo, abazadde tebasaanidde kubala ssaawa zisukka mu emu buli wiiki, ka kibe nti okusoma kw’amaka kutwala ebiseera ebisukka mu ssaawa emu, nga kubaawo emirundi egisukka mu gumu buli wiiki, oba nga buli mwana bamuyigiriza ku lulwe. Omuzadde omu yekka yalina okukiraga ku lipoota ye nti ayigiriza abaana era nga buli wiiki alina okubala okuddiŋŋana kwa mulundi gumu gwokka.