Oluyimba 132
Oluyimba olw’Obuwanguzi
Printed Edition
1. Tenda Yakuwa. Erinnya lye lya kitalo nnyo.
Eggye ly’Abamisiri alisaanyizzawo.
Mutendereze Omuyinza w’Ebintu Byonna.
’Linnya lye Yakuwa. Y’awangudde ’lutalo.
(CHORUS)
Yakuwa, teri alinga ggwe,
Atakyuka emirembe gyonna;
Erinnya lyo oliritukuza,
Ng’oggyawo ’balabe bonna.
2. Laba ’mawanga Gonna ’gawakanya Yakuwa.
Nago ga kuswazibwa, Wadde ga maanyi nnyo.
Ga kusaanawo Gonna ku Kalumagedoni.
’Linnya lya Katonda Lirimanyibwa bonna.
(CHORUS)
Yakuwa, teri alinga ggwe,
Atakyuka emirembe gyonna;
Erinnya lyo oliritukuza,
Ng’oggyawo ’balabe bonna.
(Era laba Zab. 2:2, 9; 92:8; Mal. 3:6; Kub. 16:16.)