LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 14 lup. 128-lup. 130 kat. 4
  • Okwogera mu Ngeri eya Bulijjo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwogera mu Ngeri eya Bulijjo
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Ng’Olinga Anyumya
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwogera ng’Anyumya
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okutegeka Emboozi Ezikuweereddwa mu Ssomero
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okusoma n’Okwogera nga Tosikattira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 14 lup. 128-lup. 130 kat. 4

ESSOMO 14

Okwogera mu Ngeri eya Bulijjo

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yogera nga bwe wandyogedde ng’onyumya n’omuntu, mu njogera yo eya bulijjo.

Lwaki Kikulu?

Singa oba n’ekiwuggwe, olw’okulowooza ennyo ku ekyo abantu kye bakulowoozaako, abakuwuliriza tebajja kussaayo mwoyo ku by’oyogera.

OKWOGERA mu ngeri yo eya bulijjo kireetera abalala okussa obwesige mu by’oyogera. Wandikkirizza ebigambo by’omuntu ayambadde akakookolo? Wandibikkirizza singa akakookolo k’ayambadde kalabika bulungi oboolyawo n’okumusinga? Mazima ddala tosobola. N’olwekyo, yogera nga bw’oyogera bulijjo.

Okwogera mu ngeri eya bulijjo tekitegeeza nti olina kumala googera. Olina okugoberera amateeka g’olulimi, okwatula obulungi ebigambo, era n’okwogera mu ddoboozi eriwulikika. Ebigambo by’oluyaaye bisaanidde okwewalibwa. Bulijjo tusaanide okwogera n’okweyisa mu ngeri etuweesa ekitiibwa. Omuntu eyeeyisa era n’ayogera mu ngeri eyo tabeera na kigendererwa kya kuwuniikiriza balala.

Mu Buweereza obw’Ennimiro. Ofuna ekiwuggwe ne bw’oba ng’obuulira nnyumba ku nnyumba oba ng’owa omuntu obujulirwa mu kifo ekya lukale? Abasinga obungi ku ffe tuba n’ekiwuggwe, naye abamu kibalwako. Okutya kuyinza okuleetera omuntu okukankana eddoboozi, oba okukozesa ebitundu bye eby’omubiri mu ngeri etali ya bulijjo ng’ayogera.

Ebintu bingi ebiyinza okuleetera omubuulizi okufuna ekiwuggwe. Kiyinza okuva ku kuba nti yeeraliikirira ekyo abamuwuliriza kye bamulowoozaako oba okweralikirira oba nga ddala anaawa bulungi emboozi ye. Kya mu butonde omuntu okulowooza ku bintu ng’ebyo, naye ekibi kwe kubissaako ennyo ebirowoozo. Singa ofuna ekiwuggwe ng’ogenda mu buweereza bw’ennimiro, kiki ekiyinza okukuyamba okukivvuunuka? Tegeka bulungi era saba Yakuwa. (Bik. 4:29) Lowooza ku kisa kya Yakuwa eky’ensusso kye yayoleka mu kukolera abantu enteekateeka ey’okufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwe. Ate era lowooza ku bantu b’oyagala okuyamba n’obwetaavu bwe balina obw’okuwulira amawulire amalungi.

Olw’okuba abantu balina eddembe ery’okwesalirawo, bayinza okukkiriza obubaka bwaffe oba okubugaana. Era bwe kityo bwe kyali ne mu kiseera Yesu bwe yali ng’abuulira mu Isiraeri ey’edda. Ggwe ky’olina okukola kwe kugenda okubabuulira. (Mat. 24:14) Ne bwe bagaana okukuwuliriza, gwe kasita oba nti ogenze gye bali, ekyo ku bwakyo kiba kiraga nti obawadde obujulirwa. Bw’onookola bw’otyo ojja kuba otuukirizza obuvunaanyizibwa bwo, olw’okuba okkiriza Yakuwa okukukozesa okutuukiriza by’ayagala. Singa bakkiriza okukuwuliriza, onooyogera mu ngeri ki? Bw’onoolowooza ku byetaago by’abakuwuliriza, ojja kusobola okwogera nabo mu ngeri yo eya bulijjo.

Bw’oyogera era ne weeyisa mu ngeri yo eya bulijjo, abantu bajja kukuwuliriza bulungi. Kiyinza n’okubaleetera okukkiriza obubaka bw’omu Byawandiikibwa bw’oyagala okubategeeza. Nyumya nabo bulungi era balage omukwano. Balage nti obafaako, era nabo bawe akakisa okuwa endowooza zaabwe. Kya lwatu, bwe wabaawo empisa ez’omu kitundu z’olina okugoberera ng’oyogera n’abantu b’otomanyi, kiba kirungi okuzigoberera. Naye ssaako akamwenyumwenyu bulijjo.

Ng’Oli ku Pulatifomu. Bw’oba oyogera n’abantu abawerako, kirungi oyogere nga bwe wandyogedde n’omuntu ng’onyumya. Kya lwatu, bw’oba oyogera eri abantu abangi, olina okutumbula ku ddoboozi. Bw’ogezaako okukwata obukusu by’onooyogera, oba okuwandiika ebintu ebingi ennyo, kiyinza okulaga nti essira osinze kuliteeka ku bigambo by’okozesa. Kikulu okukozesa ebigambo ebituukirawo, naye ate singa obissaako nnyo essira, tojja kwogera mu ngeri yo eya bulijjo. Ensonga z’ogenda okwogerako osaanidde okuzirowoozaako nga bukyali, era z’oba oteekako essira mu kifo ky’okulissa ku bigambo obugambo.

Ekyo ky’oba okola ne bw’oba ng’oddamu bibuuzo mu lukuŋŋaana. Tegeka bulungi, naye tosoma busomi bya kuddamu oba okubikwata obukusu. Ddamu mu bigambo byo, by’oyogera bisobole okusikiriza abalala.

Ne bwe kiba nti ofubye okwoleka engeri ennungi oz’okwogera, tosaanidde ate kusukkiriza, kubanga kijja kweyoleka eri abawuliriza nti eyo si y’enjogera yo eya bulijjo. Ng’ekyokulabirako, osaanidde okwogera ebigambo mu ngeri etegeerekeka era ng’obyatula bulungi naye tosaanidde kukikola mu ngeri eyinza okukuleetera okwogera mu ngeri etali ya bulijjo. Bw’okozesa obulungi ebitundu byo eby’omubiri okuggumiza oba okubaako ky’onnyonnyola, emboozi yo ejja kuba nnyuvu, kyokka bw’oyitiriza okubikozesa abantu tebajja kussaayo mwoyo ku by’oyogera. Yogera mu ddoboozi eriwulikika obulungi naye tokozesa bigambo binaazibuwalira balala kutegeera olw’okwagala okubawuunikiriza. Kiba kirungi okwogera n’ebbugumu, naye toliyitiriza. Tetusaanidde kukyusakyusa mu ddoboozi, kwogera n’ebbugumu, oba kwoleka nneewulira mu ngeri eneereetera abawuliriza okussa ebirowoozo byabwe ku gwe mu kifo ky’okubissa ku ebyo by’oyogera.

Abantu abamu balina engeri gye basengekamu ebigambo byabwe nga boogera, ne bwe baba nga tebawa mboozi. Waliyo aboogera ng’abanyumya obunyuma. Ekikulu kwe kwemanyiiza okwogera obulungi bulijjo n’okweyisa mu ngeri ekuweesa ekitiibwa. Awo ne bw’onooba owa emboozi ku pulatifomu, kijja kukwanguyira okukola kye kimu.

Bwe Tuba Tusoma mu Lujjudde. Kyetaagisa okufuba okusobola okusoma mu ngeri eya bulijjo. Kino okusobola okukikola obulungi, sooka weetegereze ensonga enkulu eziri mu by’ogenda okusoma, era olabe n’engeri gye zisengekeddwamu. Zikuumire mu birowoozo ng’osoma kuba bw’otokikola oyinza okwesanga nga by’osoma tebitegerekeka. Bwe mubaamu ebigambo by’otomanyi kwatula, noonyereza enjatula yabyo. Weegezeemu ng’osoma mu ddoboozi eriwulikika osobole okumanya aweetaagisa okukyusakyusaamu mu ddoboozi era n’ebigambo by’olina okusomera awamu okusobola okuggyayo amakulu. Weegezeemu emirindi egiwera okutuusa lw’onowulira nti ddala osoma bulungi. By’ogenda okusoma bitegeerere ddala bulungi. Singa obitegeera bulungi, ojja kuba ng’anyumya bw’onooba obisoma. Okwo kwe kusoma mu ngeri eya bulijjo.

Kya lwatu, emirundi egisinga obungi bye tusomera abantu biva mu bitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Baibuli. Ng’oggyeko okusoma ebiba bituweereddwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, tusomera abantu ebyawandiikibwa nga tuli mu buweereza bw’ennimiro oba nga tuwa emboozi ku pulatifomu. Ab’oluganda baweebwa enkizo okusoma ebitundu mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi n’olw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Ab’oluganda abalina ebisaanyizo baweebwa emboozi ez’okusoma obusomi mu nkuŋŋaana ennene. Bw’oba osoma Baibuli oba ekitabo ekirala kyonna, soma ebitundu ebiba byayogerwa abantu ab’enjawulo mu ngeri etuukirawo. Bwe kiba nti abantu ab’enjawulo boogera mu kitundu ky’oba osoma, kyusakyusa mu ddoboozi buli lw’oba osoma ebigambo by’omuntu omulala. Genderera kino: Wadde ng’olina okukyusakyusa mu ddoboozi, soma ebigambo ebyo nga bwe wandibyogedde mu ngeri eya bulijjo.

Ebigambo birina kusomebwa ng’omuntu bwe yandibyogedde ng’anyumya.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Yogera mu ngeri yo eya bulijjo. Lowooza ku Yakuwa ne ku bwetaavu bw’abantu obw’okuyiga ebimukwatako.

  • Bw’oba ng’otegeka emboozi, essira lisse ku nsonga enkulu so si ku bigambo.

  • Bw’oba owa emboozi, oba ng’onyumya n’abalala, weewale okumala googera, oba okwogera mu ngeri eneereetera abalala okukussaako ebirowoozo mu kifo ky’okubissa ku by’oyogera.

  • Tegeka bulungi ng’ogenda okusomera abalala. Soma ng’olaga enneewulira, era ng’oggyayo amakulu agali mu ebyo by’osoma.

EBY’OKUKOLA: (1) Soma mu kasirise Malaki 1:2-14, era bw’oba osoma weetegereze abo aboogera. Ddamu osome ennyiriri ezo mu ddoboozi eriwulikika ng’okyusakyusa eddoboozi we kiba kyetaagisiza. (2) Nga tonnagenda mu buweereza bw’ennimiro, weegezeemu emirundi esatu ng’osoma obutundu obubiri obusooka obw’essomo lino n’ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono “Mu Buweereza obw’Ennimiro,” ku lupapula 128. Fuba okugoberera amagezi agakuweereddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share