LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ebitabo Byaffe Biwandiikibwa Bitya era Bivvuunulwa Bitya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
    • ESSOMO 23

      Ebitabo Byaffe Biwandiikibwa Bitya era Bivvuunulwa Bitya?

      Omu ku abo abakola mu Kitongole Ekiwandiisi mu Amerika

      Ekitongole Ekiwandiisi, Amerika

      Abavvuunuzi ab’omu South Korea

      South Korea

      Ow’oluganda mu Armenia ng’akutte akatabo akavvuunulwa Abajulirwa ba Yakuwa

      Armenia

      Omuwala mu Burundi ng’akutte akatabo akavvuunulwa Abajulirwa ba Yakuwa

      Burundi

      Omukyala mu Sri Lanka ng’akutte magazini ezavvuunulwa Abajulirwa ba Yakuwa

      Sri Lanka

      Okusobola okubuulira abantu okuva mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi,” tukuba ebitabo mu nnimi ezisukka mu 750. (Okubikkulirwa 14:6) Kino tusobodde tutya okukikola? Tulina abawandiisi n’abavvuunuzi, era bonna Bajulirwa ba Yakuwa.

      Bisooka kuwandiikibwa mu Lungereza. Akakiiko Akafuzi kalabirira ebikolebwa Ekitongole Ekikola ogw’Okuwandiika ekiri ku kitebe kyaffe ekikulu. Ekitongole kino kikwanaganya emirimu gy’abawandiisi abali ku kitebe kyaffe ekikulu n’egy’abo abali ku matabi gaffe amalala. Okuba nti abawandiisi baffe bali mu nsi za njawulo, kitusobozesa okuwandiika ku nsonga ezisikiriza abantu mu mawanga gonna.

      Ebiba biwandiikiddwa biweerezebwa abavvuunuzi. Ebiba biwandiikiddwa bwe bimala okwekenneenyezebwa n’okukakasibwa nti biteredde bulungi, biweerezebwa eri abavvuunuzi mu nsi ez’enjawulo okuyitira ku Intaneeti. Bwe bamala okubivvuunula, babyetegereza okulaba obanga bivvuunuddwa bulungi. Bafuba okukozesa “ebigambo ebituufu era eby’amazima” ebiggirayo ddala amakulu agali mu Lungereza.​—Omubuulizi 12:10.

      Kompyuta zanguya omulimu. Kompyuta ku bwayo tesobola kuwandiika oba kuvvuunula, kyokka enkuluze n’ebintu ebirala ebiba ku kompyuta bisobola okuyamba abawandiisi n’abavvuunuzi okukola omulimu gwabwe mu bwangu. Abajulirwa ba Yakuwa baayiiya programu ya kompyuta eyitibwa Multilanguage Electronic Publishing System (MEPS) ebasobozesa okuwandiika ennimi ez’enjawulo, ate oluvannyuma ebyo ebiba biwandiikiddwa ne biteekebwa wamu n’ebifaananyi ebigenderako bisobole okukubibwa mu kyapa.

      Lwaki tufuba okuvvuunula mu nnimi ennyingi bwe zityo, nga kw’otadde n’ezo ezoogerwa abantu abatono? Ekyo tukikola, kubanga Yakuwa “ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.”​—1 Timoseewo 2:3, 4.

      • Ebitabo byaffe biwandiikibwa bitya?

      • Lwaki tuvvuunula ebitabo byaffe mu nnimi nnyingi?

  • Ekibiina Kyaffe Kiggya Wa Ssente Ze Kikozesa?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
    • ESSOMO 24

      Ekibiina Kyaffe Kiggya Wa Ssente Ze Kikozesa?

      Ow’oluganda ng’awaayo kyeyagalire
      Abajulirwa ba Yakuwa nga babuulira mu Nepal

      Nepal

      Bannakyewa abazimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Togo

      Togo

      Bannakyewa abaweereza ku ofiisi y’ettabi mu Bungereza

      Britain

      Buli mwaka ekibiina kyaffe kikuba obukadde n’obukadde bwa Bayibuli awamu n’ebitabo ebirala era ne biweebwa abantu ku bwereere. Tuzimba era ne tuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka ne ofiisi z’amatabi. Tulabirira Ababeseri n’abaminsani nkumi na nkumi, era tudduukirira ab’oluganda ababa bakoseddwa nga waguddewo akatyabaga. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Ssente ezikola ebyo byonna ziva wa?’

      Tetusolooza ssente era tetusaba kimu kya kkumi. Wadde ng’omulimu gwaffe ogw’okubuulira gutwala ssente nnyingi, tetusaba bantu ssente. Emyaka nga kikumi emabega, magazini yaffe eya Watchtower yagamba nti “tukimanyi nga Yakuwa atuyamba,” era n’egattako nti “tetulisaba bantu kutuwa buyambi.” Ebigambo ebyo bikyali bituufu kubanga tetukikolangako!​—Matayo 10:8.

      Ssente ze tukozesa ziweebwayo kyeyagalire. Bangi basiima omulimu gwe tukola ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli era ne babaako kye bawaayo okuguwagira. Abajulirwa ba Yakuwa nabo bawaayo ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, ssente zaabwe, n’ebintu ebirala okuwagira omulimu gwa Katonda mu nsi yonna. (1 Ebyomumirembe 29:9) Mu Bizimbe by’Obwakabaka mubaamu obusanduuko abantu mwe bateeka ssente ze bawaayo kyeyagalire. Ate era omuntu asobola okuwaayo kyeyagalire ng’akozesa omukutu gwaffe, jw.org/lg. Abasinga obungi ku abo abawaayo si bagagga, okufaananako nnamwandu eyawaayo obusente obubiri kyokka Yesu n’asiima nnyo ekyo kye yakola. (Lukka 21:1-4) N’olwekyo, buli omu ayinza ‘okubangako ky’atereka’ n’asobola okubaako ky’awaayo nga ‘bw’aba amaliridde mu mutima gwe.’​—1 Abakkolinso 16:2; 2 Abakkolinso 9:7.

      Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okukwata ku mitima gy’abo abaagala ‘okukozesa ebintu byabwe okumussaamu ekitiibwa’ bawagire omulimu gw’Obwakabaka, by’ayagala bisobole okukolebwa.​—Engero 3:9.

      • Mu ngeri ki gye tuli ab’enjawulo ku madiini amalala?

      • Ssente eziweebwayo kyeyagalire zikozesebwa zitya?

  • Lwaki Ebizimbe by’Obwakabaka Bizimbibwa era Bizimbibwa Bitya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
    • ESSOMO 25

      Lwaki Ebizimbe by’Obwakabaka Bizimbibwa era Bizimbibwa Bitya?

      Bannakyewa abazimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Bolivia

      Bolivia

      Ekizimbe ky’Obwakabaka mu Nigeria nga tebannazimba kirala
      Ekizimbe ky’Obwakabaka ekipya mu Nigeria

      Nigeria, ekyasookawo n’ekiriwo kati

      Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kizimbibwa mu Tahiti

      Tahiti

      Ebizimbe mwe tukuŋŋaanira biyitibwa “Ebizimbe by’Obwakabaka.” Erinnya eryo lituukirawo kubanga Obwakabaka bwa Katonda ye nsonga enkulu eyogerwako mu nkuŋŋaana zaffe, era gwe gwali omutwe omukulu mu kubuulira kwa Yesu.​—Lukka 8:1.

      Ebikolerwamu bitumbula okusinza okw’amazima. Mu bizimbe ebyo Abajulirwa ba Yakuwa mwe basinziira okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Matayo 24:14) Ebizimbe by’Obwakabaka byonna tebifaanagana; ebimu biba binene ate ebirala biba bitonotono. Bingi ku byo bikuŋŋaaniramu ebibiina ebisukka mu kimu. Mu myaka egiyise, Ebizimbe by’Obwakabaka bingi nnyo bizimbiddwa (ebizimbe nga bitaano buli lunaku) okusobola okuba n’ebizimbe ebimala olw’omuwendo gw’ababuulizi n’ogw’ebibiina ogweyongedde. Kino tusobodde tutya okukikola?​—Matayo 19:26.

      Ssente ezikozesebwa okubizimba ziweebwayo kyeyagalire. Ssente ezo ziweerezebwa ku ofiisi y’ettabi ne zisobola okuyamba ebibiina ebyetaaga okuzimba oba okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka.

      Bizimbibwa bannakyewa. Mu nsi nnyingi eriyo Ab’oluganda Abakola ogw’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ab’oluganda abo bagenda mu bitundu eby’enjawulo, omuli n’ebyo ebyesudde ennyo, okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’okutendeka ab’oluganda ab’omu bitundu ebyo mu mulimu gw’okuzimba. Mu nsi endala eriyo Obukiiko Obukola ku by’Okuzimba, nga buno bwe bulabirira omulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka mu bitundu bye buvunaanyizibwako. Abakadde abalina obumanyirivu bawa ebibiina obulagirizi obwetaagisa, era ab’oluganda abalala abamanyi eby’okuzimba nabo bayambako mu kuzimba. Ab’oluganda bangi mu kibiina ekiba kizimba beewaayo nga bannakyewa okukola emirimu egitali gimu. Omulimu guno gusobodde okugenda mu maaso olw’okuba Yakuwa awa abantu be omwoyo gwe era nga nabo bagwenyigiddemu n’omutima gwabwe gwonna.​—Zabbuli 127:1; Abakkolosaayi 3:23.

      • Lwaki ebizimbe mwe tukuŋŋaanira biyitibwa Ebizimbe by’Obwakabaka?

      • Tusobodde tutya okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu nsi yonna?

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share