Weeyongere Okukulaakulana mu Ngeri gy’Obuuliramu
1. Byakulabirako ki eby’omu kyasa ekyasooka ebiraga nti tusaanidde okweyongera okukulaakulana mu mulimu gw’okubuulira?
1 Abakristaayo basaanidde okweyongera okukulaakulana mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yeeyongera okutendeka abayigirizwa be. (Luk. 9:1-5; 10:1-11) Era eyo ye nsonga lwaki Akula ne Pulisikira baatwala Apolo ewaabwe ne “bongera okumunnyonnyola obulungi ekkubo lya Katonda.” (Bik. 18:24-26) Ate era n’omutume Pawulo yakubiriza Timoseewo, omubuulizi eyalina obumanyirivu, okwemalira ku bintu bye yali ayigiriza abalala, okukulaakulana kwe kusobole ‘okweyoleka eri abantu bonna.’ (1 Tim. 4:13-15) Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tubuulira amawulire amalungi, tusaanidde okweyongera okufuna obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira.
2. Tuyinza tutya okuyigira ku balala?
2 Yigira ku Balala: Emu ku ngeri gye tuyinza okufunamu obumanyirivu kwe kuyigira ku balala. (Nge. 27:17) N’olwekyo mubuulizi munno bw’aba abuulira, ssaayo mwoyo. Saba ababuulizi abalina obumanyirivu bakuwe ku magezi, era wuliriza bulungi nga balina bye bakugamba. (Nge. 1:5) Oyagala okumanya engeri gy’oyinza okuddira omuntu, okutandika okumuyigiriza Bayibuli, oba okwenyigira mu ngeri endala ez’okubuulira? Saba omulabirizi w’ekibinja kyo oba omubuulizi omulala alina obumanyirivu akuyambe. Ate era kijjukire nti omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu nagwo gusobola okukuyamba. N’olwekyo, gumusabe obutayosa.—Luk. 11:13.
3. Bwe tuweebwa amagezi, ne bwe kiba nti tetusabye gatuweebwe, tusaanidde kukitwala tutya?
3 Bw’oweebwa amagezi ku ngeri gy’oyinza okulongoosaamu, tonyiiga ne bwe kiba nti oyo agakuwadde obadde tomusabye kugakuwa. (Mub. 7:9) Okufaananako Apolo, beera muwombeefu era siima amagezi agaba gakuweereddwa. Bwe tukola tutyo tuba tulaga nti tuli ba magezi.—Nge. 12:15.
4. Nsonga ki enkulu Yesu gye yawa eyandituleetedde okweyongera okukulaakulana mu mulimu gw’okubuulira?
4 Bwe Tukulaakulana Tugulumiza Yakuwa: Ng’akozesa ekyokulabirako, Yesu yakubiriza abagoberezi be okwongera okukulaakulana mu mulimu gw’okubuulira. Yeegeraageranya ku muzabbibu, ate abagoberezi be abaafukibwako amafuta n’abageraageranya ku matabi g’omuzabbibu ogwo. Yagamba nti Kitaawe alongoosa buli ttabi eribala ebirala “lisobole okweyongera okubala.” (Yok. 15:2) Nga nnannyini nnimiro y’emizabbibu bw’ayagala amatabi g’emizabbibu gye geeyongere okubala, ne Yakuwa ayagala tweyongere okubala “ekibala eky’emimwa” gyaffe. (Beb. 13:15) Miganyulo ki egivaamu bwe tweyongera okukulaakulana mu mulimu gw’okubuulira? Yesu yagamba nti: “Kitange agulumizibwa bwe mweyongera okubala ebibala bingi.”—Yok. 15:8.