EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 38-42
Okusabira Abalala Kisanyusa Yakuwa
Yakuwa yagamba Yobu okusabira Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali
Yakuwa yagamba Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali okugenda eri Yobu baweeyo ekiweebwayo ekyokebwa
Yobu yalina okubasabira
Yobu bwe yamala kubasabira, yaweebwa emikisa mingi
Yakuwa yawa Yobu emikisa mingi olw’okukkiriza kwe n’olw’obugumiikiriza bwe
Yakuwa yakomya okubonaabona kwa Yobu, era n’amuwonya
Mikwano gya Yobu n’ab’eŋŋanda ze baamubudaabuda olw’ebyo byonna ebyamutuukako
Yakuwa yaddizaawo Yobu eby’obugagga bye, era nga bikubisaamu emirundi ebiri bye yali afiiriddwa
Yobu ne mukyala we baazaala abaana abalala kkumi
Yobu yawangaala emyaka emirala 140, n’alaba bazzukulu be okutuukira ddala ku bannakasatwe