LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Ddesemba lup. 5
  • “Nzuuno! Ntuma!”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Nzuuno! Ntuma!”
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Beefiiriza ku lwa Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Oneefiiriza Ku Lw’obwakabaka?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Okugenda Awali Obwetaavu Obusingako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Oyinza Okuweereza Obwetaavu Gye Businga?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Ddesemba lup. 5

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

“Nzuuno! Ntuma!”

Ow’oluganda William n’ab’omu maka ge baakola enteekateeka ne bagenda okubuulira mu nsi endala

Nnabbi Isaaya yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe yakkiriza Yakuwa okumutuma wadde nga yali tamanyi byonna bizingirwamu. (Is 6:8) Osobola okulowooza ku ky’okugenda okubuulira awali obwetaavu obusingako? (Zb 110:3) Kyo kituufu nti kyetaagisa okusooka ‘okutuula wansi n’obalirira ebyetaagisa’ okusobola okugenda mu kitundu ekirala. (Luk 14:27, 28) Naye beera mwetegefu okwefiiriza osobole okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu bujjuvu. (Mat 8:20; Mak 10:28-30) Nga bwe tugenda okulaba mu vidiyo erina omutwe ogugamba nti Okugenda Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingako, emikisa gye tufuna mu kuweereza Yakuwa gisingira wala ekintu kyonna kye tuyinza okwefiiriza.

OLUVANNYUMA LW’OKULABA VIDIYO, MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Biki ow’Oluganda Williams n’ab’omu maka ge bye beefiiriza okusobola okugenda okubuulira mu Ecuador?

  • Biki bye baalowoozaako nga balonda ekitundu eky’okugendamu?

  • Mikisa ki gye baafuna?

  • Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo ebikwata ku kubuulira awali obwetaavu obusingako, oyinza kubiggya wa?

MU KUSINZA KW’AMAKA OKUDDAKO, MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Tuyinza tutya okugaziya obuweereza bwaffe ng’amaka? (km 8/11 4-6)

  • Bwe tuba tetusobola kugenda kuweereza awali obwetaavu obusingako, tuyinza tutya okuyamba ekibiina kyaffe? (w16.03 23-25)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share