Oluyimba 58
Essaala Yange ey’Okwewaayo
Printed Edition
1. Twala omutima gwange,
Gwagalenga amazima.
Twala ’birowoozo byange
Nkuweereze Mukama.
2. Twala ebigere byange;
Bintwale mu makubo go.
Twala eddoboozi lyange
Likutenderezenga.
3. Twala obulamu bwange,
Nkolenga ggwe by’oyagala.
Nneewaddeyo gy’oli nzenna.
Ka nkolenga by’osiima.
(Era laba Zab. 40:8; Yok. 8:29; 2 Kol. 10:5.)